All posts by admin5

Paasika 2022

Omugole Omugatte Ayogera EKIGAMBO Omwagalwa,

Kino kye’ekiseera ekisinga obukulu eky’obulamu bwange mikwano! Tulaba Ekigambo nga kituukirizibwa butereevu mu maaso gaffe nga bwekitabangawo. Nga kicamula okutegeera Kiki ky’Ali, kiki omubaka gweYatuma ky’ali, olwo N’OKUMANYA KYETULI! Weebale Kitaffe. Tetwakirowoozaako nti ebintu bino binaabaawo bwebiti, naye kiikino kibaawo butereevu mu maaso gaffe, mu ngeri yennyini ddala nga nnabbi Wo bweyakyogera ku lutambi.

Ndi wansi wa okusuubira okw’amaanyi okulaba Omwoyo We Omutukuvu nga Atusembeza kumpi naYe nga bwekitabangawo emabega mu wiikendi ya Paasika eno. Nnandyagadde okwaniriza buli kinnoomu mu mmwe okussa ekimu naffe ku Bubaka buno, wamu n’Omugole We wonna mu nsi.

“Olwo, akantu akatono konna bwekayimukawo, lwaki weeyisa nga omuwere? Olina okubeera omusajja. Yogera eri abantu,” amiina, “olwo ogende mu maaso!” Amiina. Ky’ekyo. “Tokaaba. Yogera!” Amiina. O, ekyo nkyagala. Onkaabirira ku ki? Yogera bwogezi eri abantu era ogende mu maaso eri ekiruubirirwa kyo. Kyonna kyekiri, bwebuba bulwadde, oba kyonna kyekiri, okuzuukiza abafu, oba kyonna kyekiri, yogera! Nkikakasizza. Yogera eri abantu.”

Nga mukisa gwa maanyi gwetulina okucamula okukkiriza kwaffe, bwetutyo naffe tusobole okwogera EKIGAMBO. Jjangu oku??aane n’Omugole mu wiikendi ya Paasika eno, nga bwe twetegekera Okuva okusembayo. Obulamu bwaffe buteekwa kuba nga busaanira Enjiri, kubanga Omulembe guno gulina Omusango ogugulumirizibwako. Naye KAAKANO tewali nsonga ya Mugole We okukaaba, WABULA OKWOGERA! Genda mu maaso eri ekiruubirirwa kyo. Erinnya lya Mukama lyebazibwe!

Nga bwetukola bulijjo kulwa wiikendi ya Paasika, lekka tweggalire wala n’ensi nga bwetusobola nga tujjako amasimu gaffe okujjako okugakozesa mu kukuba ebifaananyi, okuwulira Okunokola kw’Olunaku, n’okuzannya entambi ku apu ya Layifulayini oba okuva ku mukutu oguwanurikika okuva ku mutimbagano. Leka tuweeyo wiikendi eno entukuvu mu bujjuvu eri Mukama, era tuleme kufuula Paasika eno nsonga ya kulabaganirako na bannaffe;, naye okwewaayo eri EKigambo, mu maka gaffe.Nnandyagadde ffena okwegattira awamu mu nnyanjulabudde eno, mu budde bwa Eastern Daylight Time (EDT) mpozzi nga tutegeezeddwa ekirala.

OLW’OKUNA

Lwali Lwakuna ekiro Mukama waffe Yesu lweyaliirako Ekyeggulo Ekisembayo n’abayigirizwa Be nga okujjukira n’okussaamu ekitiibwa Ekiro ky’Okuyitako nga okuva kw’abaana ba Isiraeli mu Misiri tekunnabaawo. Nga mukisa okussa ekimu ne Mukama waffe mu maka gaffe, nga wiikendi yaffe entukuvu tennatandika, era tumusabe okutuwa omukisa n’ab’amaka gaffe, n’okutuwa byonna byetwetaaga mu lugendo lwaffe.

Kitaffe ow’omuggulu, tweyanzeege olwa kino, akaseera akalala okuku??aana awamu, oludda luno olw’obutaggwaawo. Era tunoonya amakya galeero okuzzibwamu amaanyi okuva Gy’oli, okutuwa obuvumu kulw’olugendo olutuli mu maaso. Tuku??aanye nga abaana abaebbulaniya bwebaakolanga buli nkya, okufuna emmaanu eyali ebagabiriddwa mu kiro, okubabeezaawo mu lunaku olujja. Tuku??aanye olw’Emmaanu ey’omwoyo, amakya galeero,okutuwa amaanyi kulw’olugendo.

Lekka ffenna tutandike ku ssaawa 12 ez’akawungeezi. mu budde bw’ewammwe, era tuMuwulire nga Atugamba nti tuli mu kuva okuvannyuma, nga bwetuku??aana okwetooloola Nnamulondo Ye okuwulira Obubaka: Okuva Okw’okusatu 63-0630M.

Nga Obubaka buwedde, tujja kuku??aana n’ab’enju zaffe mu maka gaffe tube n’Ekyeggulo kya Mukama.

Mangu tujja kuba n’omukutu okuwanulayo olutambi n’oluku??aana lw’okussa ekimu byombiriri, oba, lujja kubaawo mu budde obwanjuddwa ku Voice Radio, ku apu ya Layifulayini.

OLW’OKUTAANO

Leka tugende mu kusaba n’ab’enju yaffe ku ssaawa 3 ez’okumakya, era nate ku ssaawa 6 ez’omuttuntu, nga twaniriza Mukama okuba naffe era wamu n’Omugole We wonna mu nsi ku wiikendi eno ey’enjawulo; n’okujjuza amaka gaffe n’Omwoyo We Omutukuvu nga bwetwewaayo Gy’ali okuMusinza.

Leka ebirowoozo byaffe biddeyo ku Lunaku olwo e Kaluvaariyo, emyaka gisukka mu 2000 emabega , era tulabe Omulokozi waffe nga Alengejjera ku musaalaba, olwo tweweeyo naffe bwetutyo okukolanga bulijjo ebyo ebisanyusa Kitaffe:

Kati wekkaanye. BweYajja mu nsi, nga waaliwo, obutakkiriza bungi ddala mu nsi mu biseera ebyo n’okusingawo nga bwebwali bubaddewo, n’okukendeeza tebwaMukendeeza bwangu. Yagenda bugenzi mu maaso nga Abuulira kyekimu, era nga Awonya kyekimu. TekyaMutawaanya na kumutawaanya. Waaliwo abeekennenyi b’ensobi. Omusajja oyo yakubwamu ebituli kuva nga akyali muwere okutuusa lweYafa ku musaalaba. Kyamuyimiriza? Nedda, ssebo. Ekiruubirirwa Kye kyali kiki? “Bulijjo okukola ekyo Kitaffe ky’Awandiise. Bulijjo okukola ekyo ekiMusanyusa Kitaffe. “?

Olwo ku ssaawa 6.30 ez’omuttuntu. leka tulowooreze ddala ku kubuuzo ekikulu ennyo mu bulamu bwaffe, nga bwetuku??aana okwetooloola Nnamulondo Ye okuwulira Obubaka: Obulamu Bwo Busaanira Enjiri? 63-0630E.

Olwo lekka nate twegattire wamu mu kusaba ku ssaawa 9 : 00 ez’akawungeezi mu kujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.

OLW’OMUKAAGA

Nate leka tukuŋŋaanire wamu mu kusaba ku ssaawa 3 ez’okumakya, n’essaawa 6 ez’omuttuntu, era tutegeke emitima gyaffe kulw’ebintu eby’ekitalo by’Anaatukolera mu masekkati gaffe,

“Oluvannyuma lw’okuleeta Omusango Ogulumiriza eri mi-mikwano gyange bannaddiini ebweru eyo, era nga ebintu bino ebikalubo nnina okubyogera, naye, Mukama, nkikoze na kulu??amizibwa Kwo. Mpulira nti Ggwe wa??ambye okukikola. Kati kinvudde ku bibegabega, Mukama. Ndi-ndi musanyufu nti ntowolokose. Leka bakikozese kyonna kyebaagala, Kitaffe. Nsaba nti banaakikkiriza. Nsaba nti on’Olokola buli omu, Mukama. Leka wabeewo okudda obuggya okw’abaggyibwako omusango, n’Amaanyi Ag’ekitalo gakke ku kkanisa nga tennagenda. Nze… Ssi kizibu okusaba ekyo, kubanga wakisuubiza. Era nga tunoonya, Mukama, okusika okwo okw’okusatu kwetumanyi nti kujja kutukolera ebintu eby’ekitalo mu masekkati gaffe.”

Olwo ku ssaawa 6.30 ez’omuttuntu, ffenna tujja kujja wamu okuwulira EKIGAMBO: Omusango Ogulumiriza 63-0707M. Luno nga lwa kuba Lunaku lwa Bbaluwa Myufu kulw’Omugole We mu nsi yonna.

Olwo lekka ffenna twegattire wamu nate mu kusaba ku ssaawa 9 : 00 ez’akawungeezi mu kujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.

SANDE

Nga lunaku lwa kitalo obutaddamu kukaaba, wabula OKWOGERA! Nga makya ga mazuukira! Lekka tuzuukuke nga bukyali nga Ow’oluganda Branham bweyakola ku makya ago mukwano gwe omutono, kaamukuukulu, bweyamuzuukusa ku ssaawa 11 ez’okumakya.. Leka twebaze bwebaza Mukama olw’okuzuukiza Yesu okuva mu bafu:

“Ku ssaawa 11:00 enkya yaleero, mukwano gwange omutono n’ekifuba kye ekimyufu yabuuse n’ajja ku ddirisa n’anzuukusa. Kyalabise nga otutima twe otutono twagala kwabika, tugambe, “Azuukidde.”

Ku ssaawa 3 ez’okumakya. nate leka twegattire wamu mu bwesimbu mu kusaba kwaffe okw’akajegere, nga tusabiragana era nga twetegekera okuwulira Eddoboozi lya Katonda.

Ku ssaawa 6.30 ez’omuttuntu, tujja kujja wamu okuwulira Obubaka bwaffe obwa Paasika: Lwaki Okaaba? Yogera! 63-0714M.

Oluku??aana luno nga luwedde, lekka nate twegattire wamu mu kusaba, nga tuMwebaza olwa WIIKENDI EY’ENJAWULO GY’ATUWADDE OKUBA NAYE N’OMUGOLE WE WONNA MU NSI.

Eri baganda bange ne bannyinange ebusukka gassemayanju, nnandyagadde okubaaniriza okwegattira wamu naffe olw’eby’okubaawo bino mu budde bwa Jeffersonville, olw’emirundi gyonna gyetujja okuba nga tusaba Katonda ku nnyanjulabudde eno n’olw’olutambi olunaaba luzannyibwa ku makya ga Sande. Nkitegeera, naye, nti okuzannya entambi ku lw’okuna, olw’okutaano, n’olw’omukaaga akawungeezimu budde bwe Jeffersonville kyandibadde kizubu nnyo kulw’abasinga obungi mu mmwe, kale nno muwulire eddembe okuzannya Obubaka obwo mu budde bwonna obw’olunaku obukwanguyira. Nnandyagadde, naye, twegattire wamu Sande ku ssaawa 6 : 30 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (y’essaawa emu n’eddakiika asatu ez’ekiro e uganda) ,okuwulira Obubaka bwaffe obwa Sande wamu.

Era nnandyagadde okubaaniriza n’abaana bammwe okubeera ekitundu ku mirimu gy’okuyigirizibwa okukuba ebifaananyi n’okuwandiika ebinyuma egiyitibwa Creations, n’obubbinkano bw’Entambi obwa Young Foundations (ekivvuunulwa nti Emisingi Emito), ab’amaka go bonna byebasobola okunyumirwa awamu. Tulowooza nti munaabyagala ngeri byonna gyebyesigamiziddwa ku KIGAMBO kyetunaaba tuwulira ku Wiikendi eno.

Okufuna ennyanjulabudde ya Wiikendi eno, okutegeezebwa ku ngeri y’okwetegekeramu oluku?aana l’okussa ekimu, ebintu ebineetagisibwa okukola emirumu gya Creations, Obubbinkano bwa Paasika, n’okutegeezebwa okulala, laba emikutu gino wammanga.

Mpulira ekitiibwa kingi nnyo okubaaaniriza n’ab’enju yammwe okujja awamu n’Omugole wonna mu nsi olwa wiikendi ejjudde OKUSINZA, OKUTENDEREZA N’OKUWONYEZEBWA. Nzikiriza nti mu butuufu egenda kuba wiikendi enaakyusa obulamu bwo lubeerera.

Ow’oluganda Joseph Branham

22-0410 Omuluŋŋamya

Obubaka: 62-1014E Omuluŋŋamya

PDF

BranhamTabernacle.org

Endiga Eziruŋŋamizibwa Abaagalwa,

Olutalo olw’enkomerero lutuuse. Tugenda awo wetutalabangako. Tuyita mu ddungu, era tuli mu lugendo lwaffe nga tuliko gyetugenda, era nga tetusobola kumalako awatali muluŋŋamya. Temweraliikirira ekisibo ekitono, Katonda alina omuluŋŋamya gweyatuteerawo okutukulembera.

Omuluŋŋamya ono ajja kutubikkulira ebintu, era ajja kwogera ebintu by’awulidde; Asobola okuddamu ebigambo byaffe bulungi n’agamba kyetwogedde. Tuteekwa okugoberera Omuluŋŋamya ono, kubanga Ye yekka amanyi ekkubo.

Yesu weyali kunsi, Yagamba abayigirizwa Be nti Yalina ebintu bingi ebinsingawo eby’okwogera n’okutubikkulira, n’olwekyo Yali waakututumira Omwoyo w’Amazima, era oyo yali waakutuluŋŋamya mu mazima gano gonna. Yagamba Omugole We waakuMutegeera kubanga Yali waakwebikkula era Yeekakase ddala nga bweYakola bweYajja mu mubiri omulundi ogwasooka.

Alimanya buli kirowoozo ekiri mu mutima gwaffe. Alimanya kyetuli ne kyetukoze. Alimanya byonna ebitukwatako. Ye Muluŋŋamya wa Katonda, Omwoyo Omutukuvu nga Abeera era nga Yeebikkulira mu mubiri gw’omuntu w’okunsi.

Ddala nga Yesu Mwene bweYagamba, Sinze akola emirimu; Kitange Atuula munze y’Agikola. Mazima mbagamba nti, Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw’atalabira ku Kitaawe ng’akola: kubanga ye by’akola byonna, n’Omwana by’akola bw’atyo. Kitange Akola, nange nkola okutuusa kaakano.

Bw’atyo ne Malayika We taayogerenga ku bubwe yekka, naye byonna by’anaawuliranga by’anaayogeranga. Alifuna ebintu byonna nga Abijja wa Kitaffe, era olwo ajja kubitulaga. Alibikkula ebyama byonna ebyali bikwekeddwa mu Kigambo.

Kitaffe Yatugamba nti Alibaako n’OMUNTU OMU aliMuciikirira wano kunsi, Omuluŋŋamya, era nti Omugole We aliMutegeera mu butaangavu ddala era Amugoberere.

Aligulumiza Katonda yekka. Aligambanga mu bulambulukufu nti, ssi Ye, malayika ow’omusanvu, Kw’okwolesebwa kw’Omwana w’Omuntu. Ky’ekyama kya Katonda nga kyanjuluzibbwa. Ssi muntu, Katonda. Ssi ye Mwana w’omuntu; ye mubaka okuva eri Omwana w’Omuntu. Omwana w’OMuntu ye Kristo, Oyo gwetuli mu kulyako kati.

Bangi bajja kugamba nti bo beebakufiddwako amafuta okukulembera Omugole, naye Katonda tayagala ggwe kwesigama ku kuteegera kwo ggwe oba ebirowoozo byo, oba ebirowoozo byonna ebyakolebwa abantu. Katonda Atuma Omuluŋŋamya, era Katonda Akwetaaga ggwe okujjukira nti oyo ye Muluŋŋamya We Omulonde.

Omuluŋŋamya waffe tagenda kuzza omu ku luuyi lw’eno, n’omu ku luuyi lw’eyo agambe: oteekwa kuwulira mubuulizi ono, ate oteekwa kuwulira mubuulizi oyo; n’okukkiriziganya tebakkiriziganyiza wamu. Ekyo kiyinza kitya okukutuukiriza?

Waliwo EKIGAMBO EKITUUKIRIDDE KIMU kyokka ekigenda okutuleeta n’okutukuumira awamu, EKIGAMBO KYE EKY’EDDOBOOZI EKIKAKASIBBWA EKITUUKIRIDDE KU LUTAMBI.

Bagamba leero Omwoyo Omutukuvu Atukulembera buli omu nga ba ssekinnoomu, ekituufu. Olwo lwaki oba n’omubuulizi oba nga Omwoyo Omutukuvu Akukulembera? Weewulirize: Nnandibaako n’omubuulizi nga ankulembera n’okunjiriza okusinga okusinga okubeera ne nnabbi wa Katonda akakasibbwa? Nnandibaako n’okuvvuunulwa kuno okw’Ekigambo okusinga okukuwulira butereevu okuva mu Ddoboozi lya Katonda Yennyini nga bwekiri nti ye asobola okukinnyonnyola mu ngeri esingirawo ddala?

Ssiri kugezaako kunenya buweereza, oba okugamba nti baabulimba, oba nti tolina kuwuliriza buweereza. Bambi nsonyiwa bwemba nga ssiri mu kukyogera mu ngeri entuufu. Ngezaako bugeza kugamba nti tebasobola kubeera kyankomeredde kyo, ekigambo ekisembayo, Omuluŋŋamya wo. Abantu tebalisobola kukkiriziganya. Buli muntu alina endowooza yanjawulo, okukulemberwa okwenjawulo. Ekyo kiyinza kitya okutuukiriza Omugole? bw’obawuliriza bonna, n’omanya nti bonna tebasobola kukkiriziganya nti kyeboogera kye Kigambo kya Katonda ekituukiridde, Ekyo kiyinza kitya okutuukiriza Omugole? Ekyo kiyinza kitya okubeera Omuluŋŋamya wo?

Singa tunaaleka bulesi Omwoyo Omutukuvu okutukuumira awamu ng’Akozesa Ekigambo kye, tujja kubeera mutima gumu, kutegeera kumu, mu bumu, na Mwoyo Omu; Omwoyo Omutukuvu , Omuluŋŋamya wa Katonda Anaatuluŋŋamya mu Mazima gonna. Naye olina okugoberera Omuluŋŋamya wo.

Togezanga n’oba n’obutakkaanya n’Ekigambo ky’Omuluŋŋamya wo. Mugoberere. Bw’ot’okikole, ojja kwesanga nga obuze. Era. jjukira, bw’oMuleka, oli ku bubwo, kale twagala kwekuumira kumpi n’Omuluŋŋamya.

Omwoyo Omutukuvu Atukulembera okugoberera Omuluŋŋamya We, nga ye Mwoyo Mutukuvu nga Ayogera okuyita mu mubaka malayika We ow’omusanvu. Ssi Kigambo kya muntu, Ddoboozi lya Katonda eri Omugole We era KY’EKINTU KYOKKA EKISOBOLA OKUTUUKIRIZA OMUGOLE.

Jjangu otwegatteko Sande ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e uganda) , nga bwetutandika sabbiiti yaffe eya Paasika nga tuwulira Omuluŋŋamya waffe. Agenda kutuluŋŋamya wetutatuukangako.

62-1014E Omuluŋŋamya

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira obubaka tekunnatandika:

Omut. Makko 16:15-18
Omut. Yokaana 1:1 / 16:7-15
Ebikolwa by’Abatume 2:38
Abaefeso 4:11-13 / 4: 30
Abaebbulaniya 4:12
2 Peetero 1:21
Okuva 13:21

22-0403 Ekimyanso Ekimyufu Eky’Akabonero Ak’okujja Kwe

Bonna abasaabadde,

Ekitiibwa kya Mukama, nga lunaku lwetulimu leero. Tuli mu kuwuliriza Obubaka obukakasibbwa, okuyita mu buli kikolwa, okubeera Yesu Kristo aba obumu jjo, leero n’emirembe gyonna. Kikoze ebintu byebimu ddala byeYakola bweYali wano kunsi; Kiwonyezza abalwadde, kitegeddenga ebirowoozo by’omutima, ne kiragirawo ebintu ebinaatukawo,kizukizza abafu, era buli kiseera, Kibadde kituukiridde.

Amazzi ganaazizzaako ettaka okuva ku ntikko y’olusozi. Tewaali kyali kisigadde okuleka olwazi. Waaliwo Obuwandiike obw’ekikula eky’ekyama oba ekitategeerekeka, kale Katonda Yatusindikira nnabbi We ow’ekitalo; okubikkulira Omugole We Obuwandiike obwo. Kaakano Baibuli evvuunuddwa mu bujjuvu.

Yatwala malayika We ow’amaanyi ku lusozi n’ateeka EKITALA KYA MUKAMA mu mukono gwe. Malayika We olwo n’asalako akasolya k’olusozi n’akamaamulako. Munda mu lwo mwalimu olwazi olweeru, ekintu ekiri mu ttuluba ly’ejjinja eriyitibwa gulanayiti eryali teriwandiikiddwa nako.

Yatugamba tutunuulire Kino ye nga bw’agenda ebugwanjuba. Olwo n’asitulibwa mu masekkati ga bamalayika musanvu n’akomawo n’atubikkulira BYONNA EBYALI TEBIWANDIIKIDDWA NA KUWANDIIKIBWA MU LWAZI.

¡°Ono ye Muweereza waNge. Mmuyise okubeera nnabbi eri omulembe, okukulembera abantu ddala nga Musa bweyakola. Era aweereddwa obuyinza, yali asobola okwogera ekintu nekibaawo nga tekibaddeewo.¡± Oba ekintu bwekityo, nga Musa bweyakola, nga okwogera ensowera ne zibaawo. Era tumanyi ku zi kaamuje, n’ebiringa ebyo, n’ebintu ebyatuukawo edda. Hattie Wright omutono emabega eyo, kansuubire nti mumanyi ekyatuukawo mu nnyumba ye.

W-I-L-L-I-A-M M-A-R-R-I-O-N B-R-A-N-H-A-M ye musajja wa Katonda gweYalonda okukulembera Omugole We kulw’olwaleero. Ye ye mubiri gweYalonda okwogera gyetuli nga bweYakola bweyajja mu mubiri emyaka 2000 egiyise. Buli kwawandiikibwa kikikakasa. Omwoyo Omutukuvu Akibikkudde. Kaakano waliwo okukakasibwa nnyo nate nti tulina OKUBIKKULIRWA OKWANNAMADDALA okw’ekyo kyeYALI, ekyo KY’ALI n’ekyo KYETULI: Omugole We Swiitimutima Omulonde.

Tumanyi nti tuli mu kwagala Kwe okutuukiridde nga tusigala n’Ekigambo Kye.Kireeta essanyu n’okusanyuka bitya. Tekisoboka okutegeeza mu bigambo obugambo kyekitegeeza gyetuli.

Bulijjo tubadde nga tukimanyi mu buziba bw’emitima gyaffe n’emmeeme nti waaliwo ekintu ekimu eky’enjawulo eyo. Twakimanya, ne bwetwali mu kibi, waaliyo ekintu eyo kyetutaasobolanga kunnyonnyola, naye nga kyaliyo bubeezi. Kaakano TUMANYI. Tetuwulirangako bwetuti emabega, tewakyali kubuusabuusa, mpaawo kwewuunya, mpaawo kubuuza bibuuzo, Kyooleddwa era kiwandiikiddwa mu mmeeme yaffe. EKITIIBWA KYA MUKAMA!!

Ye ffe mulembe ogutaliggwaawo okutuusa ebyo byonna lwe birikolebwa. Ye ffe mulembe oguli mu kulaba okusuulawo Enzikiriza nga kugenda mumaaso. Ekiseera kiri kumpi. Ekimyanso ekimyufu eky’Okujja Kwe kiri wano. Okulabula Kwe okusemba kugenda mumaaso.

Okufa n’okuzikirira bitwetoolodde wonna. Tutambulira mu Sodoma ne Ggomola. Empitambi, ekibi, omutima g’omusajja nga gulemwa olw’okutya, bbomu nnamuzisa, okunakuwala wakati mu mawanga, era nga ebbanga lyonna tugattiddwa awamu era nga tutudde mu bifo eby’omuggulu Katonda Mwene nga bw’Atugamba,TEMUTYA, YEMMWE BA SWIITIMUTIMA BANGE. Tewali kiyinza kuba tuukako. Muleke bulesi emitima gyammwe gibe nga gibatyemuka munda yammwe nga bweNjogera nammwe mu kkubo era nga Mbagamba, YEMMWE MUGOLE WANGE.

Jjangu weegatte naffe Sande ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e uganda) , nga bwewali okuleekaana okugenda mumaaso. Omukono guli mu kugenda wansi. Ekimyanso ekimyufu kitandise okumyansa.Oba nga osuubira okuvaawo wamu naffe, wandisuula wansi akasawo k’ebinyeebwa ako, okomye okunyumya kwo, ositule ssanduuko zo, era weetegeke ekitali ekyo ojja kulekebwa emabega, ¡¯kubanga Waakuyimirirawo-kko ku ssiteegi okumala akabanga katono nnyo. Ye ajja okwogera: Ekimyanso Ekimyufu Eky’Akabonero Ak’okujja Kwe 63-0623E.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira Obubaka tekunnatandika:

Omut. Matayo 5:28 / 22:20 / Essuula 24 yonna

2 Timoseewo Essuula 4 yonna

Juda 1: 7

Olubereberye Essuula 6 yonna

22-0327 Okuyimirira Mu Kituli

Abeesigwa abaagalwa,

Sabbiiti zino eziyise by’ebiseera ebisinga okuba eby’ekitalo mu bulamu bwaffe bwonna. Kibadde kimu ku bituukaawo ebisinga obukulu mu bulamu bwaffe okugattibwa n’Omugole We wonna mu nsi, nga tuwulira Katonda nga Abikkula Obubonero Omusanvu.

Ffena nga tugattiddwa awamu twabadde tuwuliriza ki?

“Munda mwa piramiidi eyo, mwalimu ejjinja eryeru eryali teriwandiikiddwako.” Eyo y’ensonga nnalina okugenda ebugwanjuba, okuyunga ku Bubaka bwa Bamalayika bano, okukomawo wano okuKibikkulira ekkanisa.

Yayina okugenda ebugwanjuba okuyunga ne Bamalayika abo omusanvu, okukomawo okutubikkulira ebyali tebibwandiikiddwa n’okuba; naye kati, okuyita mu kubikkulirwa, nga bibikuddwa gyetuli nga biri mu kutuwa Kukkiriza kw’Okukwakkulibwa.

Tuwulidde Obubaka buno obulamu bwaffe bwonna, naye kaakano bubikkuddwa nga bwekitabangawo emabega; luno lwe lunaku, kino ky’ekiseera. Tuli mu kulaba n’okuwulira kyeyatugamba nti kiribaawo, mu nsi ne mu Bubaka wombiriri, era nga kaakano kiri mu kwolesebwa mu maaso gaffe gennyini.

Omubaka malayika waffe ow’omusanvu yali bubeezi nnabbi nga bannabbi ab’edda? Nedda, yayitibwa eri woofiisi eya waggulu ennyo okusingako ku bannabbi bonna abaamusooka. Kubanga yali Mwana w’Omuntu nga Yeebikulira mu mubiri gw’omuntu w’okunsi ddala nga bweyakola emyaka 2000 emabega. Nnabbi waffe yayitibwa OKUKULEMBERA OMUGOLE olugendo lwonna okutuuka mu Maka gaffe amaggya, olwo aggya kutwanjula eri Mukama.

Yatugamba nti Obuweereza bwe bwali bulabira ku bulamu bwa Musa mu ngeri etuukiridde ddala. Musa nga bw’ali mu lugendo lwe nga agoberera Empagi y’Omuliro, abasajja baayimirira ne bamuziyiza. Abantu bano baali bayitiddayo era nga baali mu lugendo lwabwe nga badda mu nsi ensuubize. Baasoomooza Musa nga bagamba nti yeesukkulumwya nnyo; ssi yeeyali omutukuvu yekka eyayitibwa, nabo baali batukuvu era nga nabo beetaaga okubaako kyebabuulira.

Yagamba baali basajja batukuvu, era nga mu butuufu baalina eky’okukola, naye Katonda Yali Ayise YE, MUSA, OMUSAJJA OMU, okukulembera abantu.

Baalina ekifo kyabwe. Baali bafukiddwako amafuta. Baali bakola kyebaali baayitibb wa era nebaawulibwa okukola nga bagamba abantu, “muwulirize Musa”, naye baayagala okwogera EKISINGAWO KKO, OBA OKUNNYONNYOLA EKYO MUSA KYEYALI AYOGERA. Tebaali bamativu okusonga obusonzi abantu okuwulira Musa. Baayagala okukulembera abantu. Baayagala okukola ekintu ekimu ekingiko, oba ekyenjawulo-ko, kw’ekyo kyebaali baatumibwa okukola.

Bw’obuusabuusangako mu magezi go ki nnabbi waffe ky’ali, oba ekyo kyeyayitibwa okukola, nkwaniriza okugenda ebugwanjuba okutunuulira obusozi obwekutte Katonda Yennyini bweYakola nga akabonero ak’olubeerera ku nsi, nga abuteekako erinnya lya nnabbi waffe, B-R-A-N-H-A-M, ku lusozi olwo.

Yemmwe Mugole Wa Kristo. Yabalonda n’abaawula edda. Ekigambo Kye Kibeera era Kituula mu mmwe. Yemmwe Kigambo ekiramu nga kifuuse omubiri. Yabawa Okubikkulirwa kw’Ekigambo Kye. Setaani tabalinaako maanyi. Okukkiriza okwo okw’okukwakkulibwa kubeera era kutuula mu mmwe.

Omwoyo Omutukuvu Ali mu kukulembera Omugole We nga Akozesa engeri Ye yokka gy’Agabiridde kulw’olwaleero, Ekigambo Kye Ekyayogerwa nnabi malayika we ow’omusanvu. Nnabbi oyo ye musumba waffe.

Omusumba waffe yatusuubiza nti obubaka obw’entambi bwonna obupya bwali bwakujjiranga okuva mu Ggwanika ly’emmere, okutuusa nga Mukama Akikyusizza. Kubanga awo entambi ezaakumibwa wezaali zijja okubeeranga.

Era yakubiriza n’omusumba we amuyambako Ow’oluganda Neville, era kaakano olw’Ekisa Kye, nga yenze nzennyini, kyetulina okukola ku kkanisa.

Nsaba nti Onooyamba omusumba waffe omwagalwa, Ow’oluganda Neville. Mufuule, Mukama, ajjudde ekisa era ajjudde amaanyi, era nga alina okutegeera, bw’atyo asobole okutwala Emmere eno Eterekeddwa aliise abaana obuliga bwa Katonda obuto.

Entambi zino z’abo nnabbi beyayitibwa okusumba. Bw’oba nga oyagala okuwulira BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA, jjangu owulirize wamu naffe Sande ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (ze ssaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), owulire: Okuyimirira Mu Kituli 63-0623M, nga bwetuwulira Emmere Eyaterekebwa Egabiriddwa kulw’Omugole.

Tujja kutandikira Obubaka ku katundu nnamba 27.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa
Okubala 16: 3-4

22-0320 Akabonero Ak’omusavu

Obubaka: 60-0324E Akabonero Ak’omusanvu

BranhamTabernacle.org

Omugole Omwesigwa abaagalwa,

Bwe Yabembula akabonero ak’omusanvu, ne waba akasiriikiriro mu ggulu nga kitundu kya ssaawa.

  • Biibino Ebibwatuka Musanvu Ebitereevu, butereevu mu lunyiriri: kimu, bibiri, bisatu, bina, bitaano, mukaaga, musanvu, ennamba eyo entuukirivu. Ebibwatuka omusanvu mu lunyiriri, byayogera, ssi…okukola obukozi—obukozi kimu, bibiri, bisatu, bina, bitaano, mukaaga, musanvu, butereevu. Olwo, Eggulu lyali terisobola kukiwandiika ekyo. Eggulu terisobola kuKimanyako, mpawo kirala, kubanga tewali kya kugenda mumaaso. Kyali kiseera kya kuwujjaalamu. Kyali kya kitalo nnyo, okutuusa, Kyakuumibwa nga kyama eri bamalayika.
  • Ebibwatuka omusanvu bwe byayogera amaloboozi gaabyo, nnali nga ŋŋenda okuwandiika:…
    Waaliwo ekyayogerwa. Tekyali bubeezi kuleekaana. Ekintu ekimu kyayogerwa. Yali anaatera okuwandiika.
    …ne mpulira eddoboozi eriva mu ggulu, nga lyogera nti ,…
    Tunuulira amaloboozi wegaali, Ebibwatuka. Ssi mu ggulu; ku nsi! Ebibwatuka tebyabwatukira mu ggulu. Byabwatukira ku nsi.
  • Musanvu, Ennamba ya Katonda etuukiridde. Musanvu butereevu bulungi wansi mu lunyiriri. Ebibwatuka Omusanvu Byabwatukira butereevu wamu, nga ebyali birina kyebisoma nnyingo ku nnyingo.

Okuyaayana kw’emitima gyaffe kwe kubeera mutabani ne muwala wa Katonda ow’amazima; kwe kubeera omwetegefu kulw’okukwakkulibwa kwe okujja amangu. Kale tuteekwa okubuuza Mukama: “Kiki ekinaawa Omugole okugonnomolerwako kw’okukkiriza okw’omuyiika kweyeetaaga??

  • Nzikiriza nti, okuyita mu Bibwatuka ebyo Omusanvu, binaabikkulwa mu nnaku ezisemba okusobola okukuŋŋaanya Omugole awamu kulw’okukkiriza kw’okukwakkulibwa.
  • Era Ebibwatuka Omusanvu, butereevu mu kubikkulirwa wano okwa Yesu Kristo, Kyama ekimu. Baibuli ssi yeegamba nti Kuno Kwe “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo”? Lwaki, eriyo ekyama ekimu ekikusifu olwo, eky’ekyo. Hum! Kyeki? Ebibwatuka Omusanvu BiKirina. Kubanga, Yokaana yali anaatera butezi okuwandiika, olwo eddoboozi ne liva butereevu mu ggulu, ne ligamba, “ToKiwandiika. Naye, Kiteekeko Akabonero. Kiteekeko Akabonero kyonna. Kateeke kungulu kw’ekitabo.? Kirina okuvvuunulwa. By’ebyama.

Omwoyo Omutukuvu, okuyita mu buweereza, agenda kubikkulira Omugole We Okubikkulirwa kw’Ebibwatuka Omusanvu okunaabawa okugonnomolerwako kw’okukkiriza okw’omuyiika?

  • Kaakati omubaka ono owa Malaki 4 ne Okubikkulirwa 10:7 agenda kukola ebintu bibiri. Ekisooka: Okusinziira ku Malaki 4 alikyusa emitima gy’abaana eri bakitaabwe. Eky’okubiri: Alibikkula ebyama by’ebibwatuka omusanvu mu Okubikkulirwa 10 ebyo nga kwe kubikkulira okukuumiddwa mu bubonero omusanvu.
  • Obubonero buno buli kungulu kw’ekitabo. “Era mu kaseera malayika ow’owomusanvu nga afuuwa ekondeere, ebyama byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo bimalirizibwa.? Era mbagirawo Ekitabo, ekyabadde ekibikkule era nga kiwandiikiddwamu munda, kibikkibwa, “Ebyama bya Katonda bimalirizibwa.? Era bino by’ebyama bya Katonda: okugenda kw’Ekkanisa, n’ebintu ebirala bino byonna. “Ebyama biweddewo.? Malayika w’omusavu oyo b’afuuwa ekondeere lya buli kyama, kiwedde. Leka abeere kyonna kyayinza okuba, kyonna kyekiyinza okuba. Ekigambo Kya Katonda tekiyinza kulemererwa.

KYANGU NNYO BWEKITI:

Ebyama okuyita mu Bibwatuka ebyo Omusanvu bijja kuwa Omugole okugonnomolerwako kw’okukkiriza okw’omuyiika. Katonda YEKKA, okuyita mu mubaka We Malayika owomusanvu, y’anaabikkula EBIBWATUKA OMUSANVU eri Omugole.

Oba nga oyagala Ebibwatuka Omusanvu okukubikkulirwa, okukuwa okugonnomolerwako kw’okukkiriza okw’omuyiika, teriiyo ngeri ndala ey’okufunamu okubikkukirwa okwo wabula okukujja ku Ddoboozi lya Katonda erikakasibbwa lyokka kulw’olunaku lwaffe; ssi kuva ku nze, ssi kuva ku musumba wo owokukyalo, omubuulizi w’enjiri, oba omuyigiriza, naye okuva eri omusumba wa Katonda gw’Asindikira ensi, okuyita mu KUNYIGA ZANNYA.

Jjangu owulire ebyama byonna eby’okubikulibwa; ofune okukkiriza kw’okukwakkulibwa era ojjuze Tabaaza yo n’Amafuta, Sande ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bwe jeffersonville (ze ssaawa bbiri ez’ekiro e uganda), nga bwetuwulira Katonda nga Ayogera era nga Yeebikkulira mu binyoomebwa nga Atuleetera: Akabonero Ak’omusavu 63-0324E.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira Obubaka tekunnatandika:
Ekyamateeka 29:16-19
I Bassekabaka 12:25-30
Ezekyeri 48:1-7, 23-29
Matayo 24:31-32
Okubikkulirwa 7
Okubikkulirwa 8:1
Okubikkulirwa 10:1-7
Okubikkulirwa 14

22-0313 Ebibuuzo n’Okuddamu ku Bubonero

Obubaka: 63-0324M Ebibuuzo N’okwanukula Ebikwata Ku Bubonero

BranhamTabernacle.org

Omugole Awummudde Abaagalwa,

Leero, ensi esoma emitwe emikulu okuwulira kiki ekyabaddewo mu nsi jjo: Okutya, Okutenguka, Ebikompola, Bbomu za nnuukiliya, Okuzikirira, Obulimba, Obukuusa, Eby’obufuzi, Okufa.

Naye Omugole ali mu kunyiga zannya, era nga Awulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera naBo nga Ligamba: Ebyambalo Ebyeru, Okuggyibwako Omusango, Okwawulibwa edda, Okucamuka, Okubikkulirwa, Amazima, Okukwakkulibwa, Obulamu Obutaggwawo.

Tofaayo swiitimutima, Nze ndi naawe, buli katikitiki ka buli lunaku. Kino kyonna nteekateeka yaNge gyeNkugambyeko. Kati, girabe nga eyanjuluzibwa mu maaso go gennyini.

Bo: Zino z’ennaku ezisinga obubi ez’obulamu bwaffe; buli kimu kyandiggwa enkya.
Ffe: Zino z’ennaku ezisinga okuba ez’ekitalo ez’obulamu bwaffe; buli kimu kyandiggwa enkya.

Katonda Alina ekkubo ly’Atadddewo, EKIGAMBO KYE. Yatuma nnabbi malayika We n’Ekigambo Kye okuyitayo Omugole We n’okubakulembera okubatwala mu maka gaabwe Amaggya g’Abategekedde.

Bw’oba nga wandyagadde okubudabudibwa kuno kwekumu, emirembe, Okukakasibwa n’okuzzibwamu obuvumu kuno kwetulina; bw’oba nga wandyagadde okujja okubeera mu Maka ago g’Abategekedde Omugole We; jjangu otwegatteko Sande ku ssaawa 6 ezoomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda), era owulire Ekkubo lya Katonda ly’Atadddewo lyokka kulw’olwaleero, owulire Eddoboozi lye Eryakakasibwa nga litubwatukira: Ebibuuzo n’Okuddamu ku Bubonero 63-0324M.

Okulengera okutonotono okw’emitwe emikulu gy’onoowulira ku Sande.
Kiki ekinaagatta Omugole: Ekigambo.
Ekigambo kijja eri ani: Nnabbi.
Ani muvvuunuzi wa Katonda ow’Ekigambo Ekyo: Nnabbi.
Eddoboozi lya Katonda eri ggwe y’ani: Nnabbi.
Tuliramulwa Bigambo by’ani: Ekigambo Kya Katonda Ekyayogerwa: NNABBI.

Owol. Joseph Branham

22-0306 Akabonero Akoomukaaga

Obubaka: 63-0323 Akabonero Ak’omukaaga

BranhamTabernacle.org

Endiga za Katonda abaagalwa,

Kintu ki ekisinga ko obukulu, twandisinzewo tutya okubeera abantu bannamukisa, okusinga okubeera ne Kabaka wa bakabaka mu masekkati gaffe,Mukama w’abakama?

Kirowoozeeko bulowooza. Okubeerawo kwa Kabaka wa bakabaka, Mukama w’abakama kuli naffe. Atubikkulidde nti TUTUUSE. Tuli wano! Okubikkulirwa kw’Atuwadde kuva eri Katonda. Ge Mazima. Yeffe Mugole We, Endiga Ennonde.

Tuwulira amabaluwa Ge ag’omukwano buli sabbiiti nga Atugamba: “Abaana b’endiga ba swiitimutima bange, nkoze okuyita-endiga kwange . Embuzi teziKumanyi, naye mmwe muKutegedde. Musigadde beesigwa, kubanga Endiga zange ziMmanyi era omugwiira teziimugoberere. Lirina kubeera Ddoboozi lyange ery’akabonero ak’omwoyo ekikakasibbwa LYOKKA.”

Temwogeraganyizza byakikaba wonna newankubadde okutunuulira eddoboozi eddala; MUsigadde nga muli BEESIMBU eri Eddoboozi lyange. Yemmwe bembadde nnindiridde. Nkimanyi nti musekererwa nnyo era mutegerwa bubi, naye Nnabagamba Nze nja kubakomerawo kasita MUSIGALA N’EKIGAMBO KYANGE, era ekyo kyemukoze. KAAKANO MBAJJIRA nga bwennabasuubiza nti bwendikola. Ekigambo kyemubadde mufukirira kiri mukujja kubatwala mu Maka Gaffe Amaggya.

Abalala bayinza obutaba na kubikkulirwa kwetulina era ne bagamba mbu tuli mu kusosola mu bantu; oba mbu tuli mu kusinza muntu mu kifo kya Mukama waffe . Nga bazibe bitya. Bwekiba nga ddala ekyo bwekiri, olwo Omugole Wa Kristo abaali ebusukka lutimbe lw’ebiseera nabo baali bakyamu.

Nnabbi bweyalaba Omugole nga ajja adduka gyali nga agamba, “muganda waffe omwagalwa”, baamubaka nebamuwanika mu kifo ekimu ekigulumivu. Kiki…OMUGOLE wa Kristo yali alaga obusosoze mu bantu ku nnabbi bwebaamuwanika mu kifo ekigulumivu? Kyogamba tebandikikoze ekyo?

Olwo oluvannyuma lw’ekyo, Omugole yenna yali ayimiridde awo mu byambalo byabwe ebyeru ne batandika okuleekaana, “Singa wali togenze mu maaso n’Enjiri, tetwandibadde wano.” Singa yali tagenze mu maaso tebandibaddeyo?

Olwo Eddoboozi okuva waggulu ne ligamba tuliramulwa okusinziira ku KIGAMBO kyeyatubuulira, era olwo alitwanjulayo eri OYO.
Eddoboozi teryagamba mbu tuliramulwa ekyo omuntu omu kyeyagamba oba omuntu omu kyeyannyonnyola nti kyeyagamba, naye ye kyeyagamba. Olwo alitwanjulayo eri OYO.

Ka nkozese eddembe lino okwogera kulw’ekitundu ky’Omugole ekirina Okubikkulirwa kwekumu nga nze kwennina, njogere ekyo kyetuwulira. Bwetuba nga tugenda KULAMULWA, era nga ENKOMEKKERERO YAFFE EY’OBUTAGGWAWO yeesigamizibbwa ku Kigambo Katonda kyeYayogera okuyita mu nnabbi We, olwo tulina KUWULIRA kyokka Ekigambo ekyo okuva eri Eddoboozi lya Katonda kulw’olunaku lwaffe. Tetuyinza, era teturyesigamya nkomekkerero yaffe ey’obutaggwawo ku ekyo omuntu omu ky’annyonnyola, oba ky’agamba, naye ekyo YE KYEYAYOGERA. TUSOBOLA KUWULIRA DDOBOOZI LYA KATONDA, era William Marrion Branham LY’EDDOBOOZI LYA KATONDA LYOKKA…KATONDA BWATYO BWEYAGAMBA.

Nkwesittazza bwenjogedde ekyo, nsonyiwa, naye, ndowoozezza nti ekyo kaayuukirwa oba okunyiigirwa, naye, Ndi Ddoboozi lya Katonda Gyemuli.

Kale tuli basanyufu era abeeyanzeege eri Mukama nti tuli kukola bukozi nga Omugole bweyali akola kuluuyi luli. Ekitiibwa kyonna, Ekitiibwa n’Ettendo bigenda eri MUKAMA WAFFE YESU KRISTO Omu bwati yekka. Nga nnabbi wa Kubikkulirwa 22:9 bweyatugamba, sinza Katonda…EKYO KYETUKOLA era tuMwagala nnyo nnyini.

Essaawa ya kamalirizo. Ebyawandiikibwa biri mu kutuukirizibwa mu bwangu n’okusinga bwetusobola okusoma ebigenda mu maaso byonna. Ajja okucima Omugole We mangu. Ensi eri mu kwegatta. Omugole ali mu kwegatta. Ssiteegi eri mu kutegekebwa kulw’okukwakkulibwa.

Twebaza Mukama kulw’abasajja abaayitibwa Mukama ababuulira Ekigambo, naye abaweereza, musooose Eddoboozi eryo erigenda okubalamula mmwe n’abantu bammwe. Mukuŋŋane mu makanisa gammwe era muwulire Eddoboozi lya Katonda erikakasibbwa lyokka nga lyogera. Munyige Zannya.

Twaniriza bonna abandisobodde okuyingira Eryato bwebatyo balokorebwe wamu naffe nga bwetwegatta okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera Ebigambo ebiritulamula, ku ssaawa 6 ezoomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (z’essaawa 2 ez’ekiro e Uganda), era tuwulire Akabonero Akoomukaaga 63-0323.

Mmere ya Ndiga kulw’Endiga za Katonda. Mpawo kigattiddwako, mpawo kitooleddwako era mpawo kinnyonnyoddwa, MMERE Y’ENDIGA etatabikiddwamu birala ennoongoofu kyokka.

Owol. Joseph Branham.

Okuva 10:21-23
Isaaya 13:6-11
Danyeri 12:1-3
Matayo 24:1-30
Matayo 27:45
Omut. Yokaana 10:27
Okubikkulirwa 6
Okubikkulirwa 11:3-6

22-0227 Akabonero Akookutaano

Obubaka: 63-0322 Akabonero Ak’okutaano

BranhamTabernacle.org

Omubiri Gwa Kristo Ogumu Ogw’ekitalo Abaagalwa,
Kiki ekigenda mu maaso leero? Ekigambo kya Katonda kiri mu kutuukirizibwa. Ennaku Omugole z’Alindiridde okumala ebbanga gganvu kaakano ziri mu kwolesebwa mu maaso gaffe gennyini. Ennaku nnabbi wa Katonda ze yatulabulako nti zijja kaakano ziri wano.

Akabonero kabikkuddwa. Kiki ekyo? Ekyama kyanjuluzibbwa. Olaba? Era ekyama bwekyanjuluzibwa, olwo ekkondeere livuga. Lirangirira olutalo. Kawumpuli agwa era omulembe gw’ekkanisa guggulwawo.

  • Russia
  • Olutalo
  • Obwa nnakalyakani
  • Amafuta
  • Kawumpuli

Russia bw’ekkirira eyo okufuna amafuta ago, mwekalirize amaaso. Russia, enkola y’obwa nnakalyakani, tebulina kyebuwangula. Ekigambo kya Katonda tekiyinza kulemererwa. Enkola y’ekirooma y’egenda okuwangula ensi. Malayika w’okuzikiriza akyakwatiridde omukono gwa Russia ne zi bbomu nnamuzisa; OKUTUUSA NGA EKKANISA EZZE AWAMU, ERA OMUBIRI GWA KRISTO OGUMU OGW’EKITALO. “Siyinza kukola kintu kyonna, nga tonnatuuka omwo.” O ekyo bwekiba nga ssi kukakasibwa okw’omukisa!

Ekkanisa, Omugole We, ejja awamu. okuva wonna mu nsi nga Omubiri Gwa Kristo Ogumu Ogw’ekitalo, nga bawuliriza Katonda nga Ayogera era nga Avvuunula Ekigambo Kye. Tulaba Ekigambo nga kituukirizibwa munsi okutwetooloola, naye era tulaba Ekigambo nga kituukirizibwa n’okwolesebwa mu ffe.

Tuli mu kufuna kucamuka olw’okubikkulirwa nga bwekitabaangawo emabega nga obunnabbi buno butuukirira.

Ensi eri mu kukankana n’okutya. Balindiridde, nga batunula n’okwewuunya kiki ekigenda okuddako? olw’enkya lukwatiridde ki?

Bino byonna bitegeeza ki? Russia egenda kutwala amatwale? Ate eby’enfuna biri bitya?

Ebiro nga biri bityo, Omugole ali MIREMBE. TUWUMUDDE, nga tujjuzibbwa Omwoyo We Omutukuvu, nga tumuwulira nga Ayogera okuyita mu malayika We ow’ekitalo nga bw’Atugamba:
Temutya kintu kyonna ekisibo kyange ekitono, yemmwe ba swiitimutima bange abalonde. Yemmwe:

Abalonde nga emisingi gy’ensi tegginnabawo. Amiina! Era beesimbu eri Ekigambo. Amiina! Owaaye! Ekyo nkyagala. “Baayitibwa, baalondebwa nga emisingi gy’ensi tegginnabawo.” Era olwo, beesigwa eri Ekigambo, okuyita mu kusalawo kwabwe, bonna nga bacamusibbwa Omwenge omuggya n’Amafuta, nga bavugira kuli kwennyini, nga baserengeta okumusisinkana. Bamanyi nti Ebibwatuka bijja kutuyingirizaawo ekintu, mangu nnyo.

Akitegeera nti tuli beesimbu eri Ekigambo Kye. Tukikoze n’okusalawo kwaffe. Kati tuli mu kuvugira kuli kwennyini, nga tumanyi nti Ebibwatuka bijja kutuyingirizaawo ekintu mangu nnyo, era ajja kujja Atutwale mu maka Gaffe Amaggya.

N’okuba waliwo bingiko by’Ayagala tumanye. Ekintu ekimu kiri mu kubumbujjirira ddala mu mutima gwe ky’Ayagala okutugamba. Kumpi tayinza kulinda engeri gy’Amanyi nti kijja kutuwa Okucamuka. Olw’Ekisa kya Katonda, Yakkiriza nnabbi We okutulaba, abantu be, ku ludda luli nga tuli naye. Yagamba, “Bwennabalaba, mwenna mwali mu BYAMBALO EBYERU.”

Twali tukuŋŋaanyizibbwa wamu naye. Twamusitula netumuwanika waggulu nnyo eyo ku kintu ekigulumivu. Twamugamba, “ku nsi, wali mukulembeze waffe”.

Waaliyo bukadde na bukadde obwaffe nga tudduka gy’ali n’okum ugwa mu kifuba n’okumuyita, “ow’oluganda”. Mbagirawo Eddoboozi okuva waggulu lyayogera ne ligamba, “Abantu bano beebo bewakyusa b’okulembedde. Ojja kulamulwa ekyo ky’obagambye”.

Nnabbi yayogerera waggulu n’agamba, “Ekibiina kya Pawulo bwekiba nga kinaayingira, bwekityo n’ekyange kijja kuyingira, kubanga mbuulidde Ekigambo kyekimu kyennyini.” Era ffenna ne tuleekaanira waggulu FFENNA OMULUNDI GUMU N’EDDOBOOZI LIMU:

“Ekyo Kwetuwumulidde!”

Erinnya lya Mukama lyebazibwe, tuwummulidde ku buli Kigambo kyeYayogera okuyita mu nnabbi We. Tuliramulwa Kigambo ekyo. Ye ffe abaali abantu ba nnabbi. Yeeyali omukulembeze waffe eyatukulembera okutuleeta eri Kristo. Ffenna twali tutaddeko Ebyambalo Ebyeru. Twali tetuwummulidde ku ekyo omuntu omu kyeyagamba nti kyeyagamba, oba omuntu omu kyeyagamba nti kyekyategeeza, twali tuwummulidde ku buli Kigambo kyeyagamba.

Nga lunaku era kiseera eky’okubeeramu, Omugole. Bw’owulira amawulire leero, ojja kutegeera ekyabaddewo jjo. Nyiga Zannya, era ojja kuwulira ekinaabawo enkya, n’olunaku oluddako, n’olunaku oluddako, n’olunaku oluddako.

Jjangu okuŋŋaanire wamu n’Omubiri Gwa Kristo Ogumu Ogw’ekitalo ku ssaawa 6 ezoomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 2 ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira: Akabonero Akookutaano 63-0322. Tewali kwewuunya, tewali kusuubira, naye OKUMANYA nga owulira BWATYO BW’AYOGERA MUKAMA omulongoofu okuva mu Ddoboozi lya Katonda ku lw’olunaku lwaffe.

Owol. Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira Obubaka tekunnatandika:

Danyeri 9:20-27
Ebikolwa by'Abatume 15:13-14
Abaruumi 11:25-26
Okubikkulirwa 6:9-11 / 11:7-8 / 22:8-9