22-0731 Okubikkula Katonda

Obubaka: Okubikkula Katonda 64-0614M

BranhamTabernacle.org

Ekigambo Ekiwandiike Abaagalwa,

Buli sabbiiti yeeyongera okubeera ey’ekitalo. Ku Ssande, twafuna omukisa okutunula, n’okusalawo, KIKI KYE TWAALABA? Twalaba muweereza, NEDDA! Twalabye musumba waffe, NEDDA! Bwe twatunudde okusukka ekibikkako eky’omubiri gw’omuntu twalabye Yesu Kristo nga Yeebikkula era nga Yeeyoleka.

Nga bwetubadde tuwuliriza entambi nga bwe zizze zibaako, Kyeyongeredde ddala okufuuka eky’olwatu, bw’oba ​​olina amatu okuwulira n’amaaso okulaba. Kati tulaba Katonda mu lwatu. Ekibikkako kiyuziddwa, era tulaba Katonda ng’ayimiridde mu lwatu mu maaso gaffe, Empagi y’Omuliro nga yeeyolekera mu lwatu.

Abamu kibazibye amaaso, naye gye tuli, Kitubikkulidde Amazima. Katonda agulumizza omubaka we mu maaso gaffe, nga bwe yakola ku Musa.

Temukyali mabega w’eggigi eryo Abato, Katonda azze mu maaso gammwe mu bujjuvu.

Kiki ekyo? Obulamba bwa Katonda nga bubikkiddwa mu mubiri gw’omuntu. Katonda, mu kifaananyi ky’omuntu, nga yekweka baleme okumulaba. Basobola okulaba omusajja yekka ne bagamba nti nnabbi wa Katonda akola ensobi, yatuuka n’okukyogera ye kennyini, ng’agezaako okuyigiriza abantu nti waliwo ensobi ku ntambi. Naye eri ffe Omugole We Eyayawulibwa edda, tulaba era ne tuwulira Katonda nga temuli nsobi.

Omu yalaba omuntu, omulala n’alaba Katonda. Okiraba? Era yali Katonda nga Abikkiddwako mu muntu, ekifuula abalabi bombi okubeera abatuufu, naye okukkiriza kwo mu ekyo ky’otolaba.

Ku lwaffe, tujja kukkiriza era tugoberera ensobi za nnabbi wa Katonda eyakakasibwa, bwe ziba zaaliwo, nga tetunnatwala na kukkiriza Bw’atyo bw’Ayogera Mukama we.

Musa teyalina kukuba Lwazi mulundi gwakubiri. Omwoyo ogwo gwe gumu gwandigambye ku lunaku olwo nti, “Laba, Musa akola ensobi.” Naye amazzi era gajja mu ngeri yonna, era bw’otonywanga ku kye baayita ensobi ya Musa, wafanga. Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ebirumiriza biyitirivu nnyo.

Musa yalina Ekigambo. Kati jjukira, oluvannyuma lw’Ekigambo okwolesebwa, Musa yafuuka Musa nate. Olaba? Naye Ekigambo ekyo bwe kyali kikyali mu ye okukifulumya, ye yali Katonda; bulungi, yali takyali Musa.

Ow’oluganda Branham yalina Ekigambo. Ekigambo bwe kyamala okweyoleka, Ow’oluganda Branham yali Ow’oluganda Branham nate, naye ng’Ekigambo ekyo kikyali mu ye okuweebwa abantu ku lutambi, yali Katonda; teyali waluganda Branham. Bwetutyo tuyiga, ebiri ku ntambi bye bigambo bya Katonda, era tewali nsobi mu bigambo bya Katonda.

Tetukoma ku kukikkiriza kyokka, wabula tukibeera. Abasigadde bonna bwe batambula okukivaako, tusigala nakyo! Tukikkiriza! Si nsonga omuntu omulala yenna ky’akola oba ky’ayogera, tukikkiriza era ne tukikolerako. Bw’otokikola, olwo tokikkiriza.

Bwentyo nange bwengamba, mu Linya lya Yesu Kristo: Togattako kintu kimu, totwala, oteekemu ebirowoozo byo, Yogera bwogezi kiri ku ntambi ezo, kola bukozi ekyo kyennyini Mukama Katonda ky’Alagidde okukola; toyongerako ku Kyo!

Nyiga zannya era okkirize BULI KIGAMBO nga Katonda bwe yatulagira okukola. Ye Katonda nga Ayogera kamwa ku kutu eri Omugole we.

Katonda yaddamu okubikkibwako n’akakasa Musa, nga Akozesa ekibikka, nga yebikka n’Omuliro gwe gumu, Empagi y’Omuliro y’emu n’ekka. Okuva —okuva olwo…Okuva mu bo, bwe batyo basobolenga okuwulira Ekigambo kya Katonda kyokka. Okifuna? Ekigambo kyokka, baawulira Eddoboozi lye. Kubanga, Musa yali, gye bali, Kigambo ekiramu.

Katonda takyusa, era tasobola, kukyusa pulogulaamu ye. Ye Yesu Kristo aba obumu jjo, leero n’emirembe gyonna. Bwe kityo, ku lwaffe, nnabbi we eyakakasibwa, William Marrion Branham ly’ Eddoboozi lya Katonda eryaffe, era Ekigambo Ekiramu eri olunaku lwaffe.

Kati si Kigambo kyokka ekiwandiikiddwa gye tuli, wabula mazima. Tuli mu Ye. Kati tunyumirwa. Kati tumulaba. Kati tulaba Ye, Ekigambo, nga Yeeyoleka. Kikwekeddwa, ebweru awo, kubanga (lwaki?) Kibikkiddwa mu mubiri gw’omuntu. Okiraba?

Ne bwe kiba ki, tebakiraba. Lwaaki? Tekyabaweerezebwa.

Olw’okuba okiraba, oli mwetegefu okuwulira ng’akugamba omulundi omulala KIKI KY’OLI? Bw’atunula wansi okuva ku bbugwe w’Ekitiibwa n’akulaba, ani gw’alaba?

*Ndaba Ekigambo nga kyolesebbwa. Kye yagamba nti agenda kukola mu nnaku zino ez’enkomerero, ndaba nga kikula. Ndaba abaana nga balya Omugaati ogwo ogwa Amaanyi Agawulikika nga guva mu kwengera kw’Ekigambo ekyo, abo abakikkiriza. Amiina!

*Olwo ne tufuuka ekitundu kye, engeri gyetubeera ekibikkako ekimubikka. Muli kitundu ku Ye, kasita Kristo abeera mu mmwe, nga Kristo bwe yali ekitundu ku Katonda. Kubanga Katonda yali mu ye, yamufuula Katonda. Era nga Kristo bw’Ali mu mmwe, essuubi ery’Ekitiibwa, mufuuka ekitundu ku Kristo.

*“Mmwe,” Kyagamba, “muli bbaluwa empandiike,” oba, “mmwe Kigambo, ekyawandiikibwa, nga kyayolesebbwa,” tewali kiyinza kwongerwako ku Kyo. Toyinza kugamba nti, “Ndi bbaluwa empandiike,” n’owangaalira mu kika ky’ekintu ekirala ekitali Kino kyekyawandiika edda, kubanga tewali kiyinza kwongerwako oba okuggyibwako.

Erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo lyebazibwe. ATULABA. TUMULABA. Ffe Kigambo kye ekyolesebbwa leero.

Jjangu otwegatteko ku Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga Katonda bw’ayimirira mu maaso gaffe; Empagi ey’Omuliro ebikkiddwa mu mubiri gw’omuntu, n’eyogera gyetuli Ekigambo kye tulina okubeerako ku lunaku luno. Ky’ Ekitiibwa ekiwulikika n’obusimu bw’omubiri nga kitukuza. Omugaati ogw’okulaga eri omukkiriza.

Okubikkula Katonda 64-0614M

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira Obubaka tekunnatandika:
Matayo 24:24
Omut. Lukka 17: 28-29
Omut. Yokaana 14:14
1 Abakkolinso 12:13
2 Abakkolinso 3:6 – 2 Abakkolinso 4:3
Abafiripi 2:1-8
1 Timoseewo 3:16
Abebbulaniya 13:8
Okubikkulirwa 10:7 & 19:13
Okuva essuula 19 & 20
Yoweeri 2:28
Malaki 4:5