OKWOGERA OKUGAANA KU KUVVUUNULA OKUKOLEBWA BRANHAM TABANAKO

Okuvvuunula kw’enkuŋŋaana kukolebwa mu kaseera ako kennyini(layivu) era ssi kwa kukozesebwa mu kukopperera kw’amaloboozi, okugawandiika, oba okuzikubyamu ebika ebirala mu ngeri yonna. Abavvuunuzi balina ebiruubiriwa ebisinga obulungi eby’okuleeta ekyogerwa mu buli lukuŋŋaana mu ngeri etuukiridde ddala, naye wajja kubaawo ebigambo ebibulamu n’ensobi eziteewalika mu buntu ng’okuvvuunula kw’obuliwo kugenda mu maaso. Enkuŋŋaana ezivvuunuddwa tezigendererwa kubeera za bwa nnamunigina, era ziyinza OBUTATUKAGANA na mutindo gwa bulijjo ogwa Voice Of God Recordings.
Ekiruubirirwa kyaffe mu mikutu gy’amaloboozi agavvuunuddwa kwe kuwa abo abatoogera lungereza omukisa okusinza naffe mu nkuŋŋaana. Branham Tabanako kkanisa etambulira ennyo kukilowoozo ky’okubuulira enjiri ebunaayira (oba tukiyite obumiisoni) era ng’erina omugugu ku lw’Omugole wa Kulisto mu bisaawe by’obumiisoni wonna mu nsi. Tusiima nnyo omukisa Mukama gw’atuwadde okubatuukako nga tuyita mu ssaala zaffe, ebiweebwayo by’okwagala, era kati, okussa ekimu ku Kigambo okuyita mu kuwuliriza amaloboozi ku mikutu. Twesiga nti enkuŋŋaana zino zinaaba za mukisa gy’oli n’eri ab’amakago.
-Ekirango kino kyakolebwa wakati mu kukwataganira awamu ne Branham Tabanako.

An Independent Church of the WORD