26-0517 Abafukeko Amafuta Mu Kiseera Eky’Enkomerero

Obubaka: 65-0725M Abafukeko Amafuta Mu Kiseera Eky’Enkomerero

PDF

BranhamTabernacle.org

Empungu Ezikuŋŋaana abaagalwa,

Omutwe gwokka ogw’Obubaka bwa wiiki eno gw’oleka okutegeera kw’Omwoyo Omutukuvu ng’okwo eri Omugole. Okulowooza nti wajja kubaawo abasajja abaafukibwako amafuta abatuufu okuyimuka mu lunaku luno, n’okufukibwako amafuta okwa nnamaddala okw’Omwoyo Omutukuvu y’omu eyali ku nnabbi waffe, naye nga ba bulimba.

Ekigambo kitugamba nti bajja kukola obubonero n’ebyewuunyo, nga bafuna enkuba y’emu, emikisa gye gimu nga nnabbi ow’amazima. Abantu bakyuka okuva ku Kigambo ekituufu eky’omu kiseera ekyo ekyakakasibwa ne badda mu kwegomba kwabwe, nga beetuumira abasomesa, nga balina amatu agasiiwa. Kijja kuba kumpi nnyo n’Ekigambo ekituufu okutuusa kumpi lwe kinaalimbalimba Abalonde.

Okufukibwako amafuta okwo kujja kuba kufanagana kwenkana wa? Kinaaba kyangu okutegeera amazima n’eky’obulimba? Nabbi yatugamba nti Kabaka Dawudi, omusajja eyalina omutima gwa Katonda yennyini, ng’afukiddwako amafuta, yafuna okubikkulirwa okwa nnamaddala; naye kw’ali kukyamu.

KIKI!! Ekyo leka kinnyikire mu kaseera katono. Kabaka Katonda gwe yalonda yalina okufukibwako amafuta aga nnamaddala n’okubikkulirwa okwa nnamaddala, naye yali mukyamu! Abaana b’endiga ba Katonda bajja kuba balina okuba bulindaala nnyo okumanya kye bawulira kwe kufukibwako amafuta okwa nnamaddala oba okw’obulimba; kubanga ekifo kyabwe eky’olubeerera kiwummulidde ku kusalawo kuno.

Tukimanyi nti Katonda ataddewo abaweereza bangi ab’amazima abaafukibwako amafuta okuyamba okuluŋŋamya n’okukuuma Omugole we mu Kigambo. Ekigambo kye bwe kityo bwe kigamba, era twebaza nnyo Mukama ku lwa buli omu ku bo. Baayitibwa okuba abasumba be bisibo byabwe. Balina okuzikuuma mu Kigambo. Mu kukola ekyo, tebalina kulemererwa kuzannya Eddoboozi lya Katonda LYOKKA erikakasibwa eri ebisibo byabwe.

Nga bwe twaakawulira engeri buli musajja gy’ayinza okugenda mu nsobi, ne bwaba yafukibwako amafuta aga mazima n’okubikkulirwa okwa nnamaddala. Naye Omugole asobola okuwummula, kubanga Katonda ataddewo ekkubo erituukiridde nti bulijjo basobola okuwulira OKUFUKIRWAKO AMAFUKA OKW’AMAZIMA, OKUBIKKURILWA OKW’AMAZIMA, BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA; NNYIGA BUNNYIZZI ZANNYA.

“Ennyama ensu w’eli,” Emaanu w’eli, Ekigambo wekiri, “awo empungu we zinaakuŋŋaanyizibwa.”

Ennyama nsu w’eli, awo ffe Empungu gye tugenda okukuŋŋaanira. Ennyama ensu gyeri, Ekigambo kya sizoni, Obubaka bw’essaawa. Era tewali kifo kipya eky’okuliiramu Emaanu eyo okusinga okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyeyogera.

Ekyo kye Kigambo kye. “Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula buli kigambo.” Okilaba? Abategekebwa edda kino bakimanyi. “Ekigambo eky’enjawulo, oba eddoboozi ery’njawulo, tebajja kubigoberera.”

Ensonga lwaki tetujja, era tetusobola kulimbibwa, eri nti tuli Kigambo ekirina Okubikkulirwa kuno. Tetusobola kuba kintu kirala kyonna. Tetusobola kuwulira kintu kirala kyonna. Tetulina kirala kye tumanyi.

“NZE NDI!” Si “Nze nnali, oba nja kubeera.” “NZE,” ekiseera ekiriwo, Ekigambo kati. Si Kigambo ekyaliwo, Ekigambo ekigenda okujja; Ekigambo ekyakati. Okilaba? Okifuna? “NZE NDI!” “NZE” kye Kigambo. “Ku lubereberye waaliwo Ekigambo, n’Ekigambo yali wamu ne Katonda.” Ekyo kituufu? “NZE NDI.” “Katonda yansindika nga nnabbi we, okukakasa kino okuba ekituufu.Nze eky’okuddamu eri Ekigambo kino, yang’amba okujja wano okole kino.”

Era bwe yakikola, Falaawo n’agamba nti, “Kale, twafuna abalenzi bangi mu kibinja kyaffe nabo basobola okukola ekyo,” abagegenyi.

Yesu yagamba nti, “Kati, ekyo kigenda kuddamu mu nnaku ez’oluvannyuma,” laba, nga yogera ekintu kye kimu.

Mukama atenderezebwa. Yogera ku kukakasa eri Omugole. Bw’oba n’Okubikkulirwa kuno, olwo ojja kumanya nti oli Mugole we eyalondebwa, eyategekebwa, omwagalwa.

Nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ku ntambi, tuba tuwuliriza Omwana w’Omuntu, nga ye Kristo. Y’oyo gwe tulyaako. Tetulya ku muntu; omusajja, ebigambo bye bijja kulemererwa. Naye tulya ku Kigambo Omubiri ekitalemererwa eky’Omwana w’Omuntu.

Bw’oba oyagala okukakasa 100% nti owuliriza Bw’ati bw’ayogera Mukama, jangu weegatte ku kitundu ky’Omugole ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 P.M., obudde bwa Jeffersonville, nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litubikkulira byonna ebikwata ku baafukibwako amafuta mu kiseera eky’enkomerero.

Ow’oluganda Joseph Branham.

Obubaka: Abaafukibwako amafuta mu Kiseera Eky’enkomerero 65-0725M

Ebyawandiikibwa:
Matayo Omutukuvu 5:44-45 / 7:21 / 24:15-28
Lukka Omutukuvu 17:30 / 18:1-8
Yokaana Omutukuvu 14:12
Abeefeso 1:5
II Timoseewo 3:1-8
Abebbulaniya 6:1-8 / 11:4
Okubikkulirwa 10:1-7 / 16:13-14
Malaki 4:5
I Bassekabaka 22:1-28
Yeremiya: Essuula 27 & 28