Obubaka: 65-0119 Katonda Omugagga mu Kusaasira
Ebikula Bya Katonda Abaagalwa,
Ye mmwe Kigambo kya Katonda ekyoleseddwa ekyasuubizibwa eky’olunaku luno.
Ekyo kyemubaddenga bulijjo. Temugenda bugenzi kukifuuka, wabula kaakano muli batabani era bawala ba Katonda; kubanga Katonda, omugagga mu kusaasira, yabalina mu ndowooza ye okuviira ddala ku lubereberye.
Nga tAnnaba na kufuuka mubiri gukwatibwako wano ku nsi; nga tewannabaawo kintu kyonna, wali omu ku Bikula Bye. Yamanya erinnya lyo ly’oliyitibwa. Yamanya langi y’enviiri z’oliba nazo. Yamanya byonna ebikukwatako.
Awo, bwe wawulira Eddoboozi lye nga liyakaayakana mu maaso go, waaliwo ekintu mu ggwe ekyaleekaanira waggulu; wamanya gyewava era n’ojja gyeLiri. Wamanya nti ago ge Mazima. Wamanya nti eryo lye kkubo lya Katonda lye yateekawo leero kubanga Ensigo eyo bulijjo lyalinga mu ggwe.
Kaakano ali mu kutusitula ng’Atutwalira ku biwaawaatiro by’empungu. Ekigambo kitugamba nti bulijjo ageraageranya bannabbi bE ku mpungu. William Marrion Branham ye mubaka wa Katonda empungu eyakakasibwa obutalekaawo kabuuza kulw’olunaku luno. Ebyo bye biwaawaatiro by’empungu bye tulina okusitulibwako okugenda mu Nsi ensuubize, kubanga ye, nnabbi-mpungu wa Katonda, yeetisse obubaka bwa Katonda, ng’akoowoolayo era ng’ayogera Ekigambo kyE, ng’atuukiriza Omugole wE.
Tugoberera Katonda nga bwe tugoberera William Marrion Branham n’obubaka bwe obw’okununulibwa. Era Baibuli yagamba nti, “…tebaazikirizibwa wamu n’abo abatakkiriza.” Kubanga Katonda yali mugagga mu kusaasira gyebali; kubanga baali mu kugoberera ebiragiro byE.
Katonda ayagala tugoberere ebiragiro bye, era ebiragiro bye byagamba nti: Nze Ddoboozi lya Katonda gy’oli. Yogera ebyo BYOKKA ebiri ku ntambi ezo. Eddoboozi lyaNge lye Ddoboozi lyokka eryogera Ebigambo by’obwa nnantakola-nsobi. Kyogerwa butuukirivu ddala era obifuna butuukirivu ddala okuva mu Ddoboozi lyaNge. N’olw’ekyo, Eddoboozi lya Katonda ku ntambi lye byonna bye weetaaga, kubanga Nze, Katonda omugagga mu kusaasira kwaNge, Ndikugabiridde. Ly’Ekkubo lyaNge lye Ntaddewo olw’olunaku luno.
Katonda omugagga mu kusaasira yakulonda era n’Akuteekateekerawo okuba n’Okubikkulirwa okwo okuwulira Eddoboozi eryo. Katonda omugagga mu kusaasira yamanya mu kiseera kino eky’enkomerero, lwe walibaawo okutegeera okukyamu kungi nnyo, amaloboozi mangi ag’enjawulo n’okuvvuunula ku Bubaka, nti twandyetaaze Eddoboozi Ettuukirivu, n’Ekkubo ettuukirivu lye twandisoboddenga okugendamu tusobole okwewulirira ku lwaffe, Kigambo ku Kigambo ku Kigambo, ekyo kyennyini kye Yayagala okwogera eri Omugole wE.
Toyinza kumala gatwala omuntu omulala bye yayogera. Olina okutwala Katonda bye yayogera. Yagamba nti, “Leka buli kigambo kya muntu kibeere obulimba, naye ekyange mazima.”
N’olw’ekyo, Katonda, omugagga mu kusaasira kwE, ataddewo engeri Omugole wE gy’ayinza Okuwuliramu Eddoboozi lyE 24/7 (essaawa abiri mu nnya mu nnaku musanvu eza sabbiiti), ennaku 365 mu mwaka, ng’anyiga (eppeesa lya) Zannya, era n’aweebwa obulamu ng’awulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera kamwa ku kutu eri emitima gyabwe.
Ye ffe Kigambo kyE ekifuuse omubiri. Tetulina maanyi, wabula Atuwadde obuyinza bwE. Buli omu ku ffe abulina. Bw’oBugaana, ojja kusigala w’oli. Wabula singa tunaaBusembeza, bujja kukola ebisukkiridde obungi, kubanga Katonda mugagga mu kusaasira kwE.
Era bw’oba nga oli omusajja oba omukazi, sifaayo mbeera ki gy’olimu, olina obuyinza bwa Katonda, olw’ekisuubizo ekimu, kubanga Mugagga era Yasuubizibwa okukola ebisukkiridde obungi. “Bw’ogamba olusozi luno nti, ‘sigulwa,’ n’otobuusabuusa mu mutima gwo, wabula n’okkirizza nti ky’oyogedde kijja kutuukirira, osobola okufuna ekyo ky’oyogedde.” Tolina maanyi, wabula olina obuyinza.
Omugole asobola okutuukirizibwa n’okugattibwa awamu ng’ayita mu ngeri emu yokka kwe kuwulira Ekigambo kyE ekituukiridde ekyatugabiririwa leero: Eddoboozi lyE. Lye Ddoboozi lyokka eriyinza okugatta n’okutuukiriza Omugole. Lye Ddoboozi lyokka Katonda lye Yatugamba nti tuteekwa okuwulira era OKUGOBERERA. Okufaananako Musa, Ow’oluganda Branham yakimanya nti ye yalondebwa okututwala ffe abaana mu Nsi ensuubize kubanga ekisuubizo kyaweebwa ye. Era alina okutwetikka atutuuse mu Nsi ensuubize.
Nabbi-mpungu waffe yatuyigiriza nga atugereza. Endagaano Enkadde yali kisiikirize kya Ndagaano Empya. Yatubuulira nga bwe tuteekwa okubeera abeegendereza na biki bye tulina okwekengera mu kiseera kino eky’enkomerero. Yatulabula ku mwoyo gwa Koola, ne ku Dasani, n’ekikoosi kyabwe eky’abantu abatakkiriza, nga bwe baagezaako okugeegeenya. Baagezaako okubaako kye banyigawo mu nteekateeka ya Katonda.
Tebaayagala nteekateeka ya muntu omu. Ekyo tebaakyagala. Baali balina okubaako kye bakola. Koola yagamba nti, “Nga lwaki, eriyo abasajja abatukuvu okukusingako ggwe, Musa. Weeyisa nga gy’oli ggwe lubalama lwokka oluli ku…oba akayinja kokka akali ku lubalama, manya.” Era ne bagamba nti, “Nze—nze…tosaanidde kukola otyo. Era wano waliwo abasajja abalala.”
Ab’oluganda ne bannyinaze, siri mu kugezaako kwawulamu makanisa nga njogera n’okujuliza ebintu bino, Omwoyo Omutukuvu y’Ali mu kukola ogw’okwawulamu. Wuliriza Obubaka buno bwe tunaatera okuwulira. Nabbi y’ali mu kulabula Omugole ku biki by’alina okwekengera. Ali mu kutubuulira omwoyo ogwo kye gwakola luli, era kye gugenda okuddamu okukola mu lunaku lwaffe.
Mazima ddala, siri mu kugezaako kukuŋŋaanyiza bantu ku buweereza obw’emirundi etaano, mu ngeri ennyangungu tebusobola kugatta Mugole. Ndi mu kufuba okubagattira ku Kigambo kya Katonda ekirongoofu, ekitatabikiddwamu birala, Eddoboozi lyokka eriyinza okugatta Omugole.
Tuwulira ebintu bye bimu leero, Ow’oluganda Branham si ye musajja yekka asobola okubuulira Obubaka, naffe twayitibwa okubuulira Obubaka. Mazima bwekiri, baayitibwa, naye olwo, balemererwa okutegeera obukulu bw’okuwulira Eddoboozi eryo n’okukkiriza nti Bubaka bwa muntu omu, nga bayita mu kwekwasa obusonga-songa OBUTAzannya Ddoboozi lya Katonda mu makanisa gaabwe, ne bateeka obuweereza bwabwe nga bwe bwa makulu agasingako.
Era Baibuli yagamba nti, “Ne batambulira mu kkubo lya Balamu, ne babulira mu kuwakana kwa Koola.” Baabulira mu kuwakana! Okuwakana kwa Koola kwali ki? “Nga lwaki, olowooza ggwe musajja omutukuvu wekka? Nga lwaki, Aba Katonda…Ffenna tuli batukuvu. Ekkanisa yonna terina buzibu. Buli…Ffenna tukwatagane, ekyo kye tusaanidde okukola.” Awo we baabulira [Perish – okuva mu bulamu buno n’okufiirwa ebitundu ebikozi ebitwala mu maaso obulamu – Omuvvuunuzi], ekyo. Era mu butuufu twakigwanira. Twali tusaanidde kukolebwa tutyo.
Obubaka buno, Eddoboozi lyE, lye ddoboozi lyokka eryayogerwa butegeerekefu ddala era nga liri mu kufunibwa Omugole butegeerekefu ddala. Obuweereza obwesigwa buliwo kukubiriza abantu okusigala n’Eddoboozi eryo nga babuulira n’okunokola Obubaka. Wabula si kububuulira kwokka n’okoma awo, wabula BATEEKEDDWA OkuBuzannya mu masinzizo gaabwe, n’okugamba abantu baabwe nti LYE DDOBOOZI ERISINGA OBUKULU, bw’atyo Omugole asobole okuwulira Eddoboozi lya Katonda, okuva eri Katonda yennyini.
Tewali kisinga kuwulira Eddoboozi lya Katonda. Tewali kufukibwako mafuta kusinga okufukibwako amafuta okuli ku ntambi. Tewali ngeri ndala yonna ya kugatta Mugole okujjako okuyita mu Ddoboozi lya Katonda ku ntambi. Tewali KKUBO TTUUKIRIVU ddala lyonnA okujjako OKUNYIGA ZANNYA N’OKKKIRIZA BULI KIGAMBO KY’OWULIRA. Mazima lye Katonda, omugagga mu kusaasira kwe eri Omugole wE. Lye kkubo lyE ETTUUKIRIVU ly’Ataddewo kulw’olwaleero.
Mbayita mujje mugattibwe wamu wansi w’okufukibwako amafuta okusinga obunene mu lunaku lwaffe Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essawa 1(emu) ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira Katonda ng’Ayogera n’okuyigiriza abaana be Ekigambo ekituukiridde ng’Aleeta Obubaka: Katonda Omugagga Mu Kusaasira 65-0119
Owol. Joseph Branham
Ekyawandiikibwa eky’okusoma: Abeefeso 2:1-5