23-0312 Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Ggulu N’Omugole Omukazi Ow’Oku Nsi

Obubaka: 64-0802 Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Ggulu N’Omugole Omukazi Ow’Oku Nsi

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Omukazi ow’okunsi Omwagalwa,

Malaki 4 Kigambo kya Katonda, era Kizadde ebikifaanana, FFE, Omugole we. Ye Mwoyo Omutukuvu, Omuntu Yesu Kristo, mu bikolwa, nga Anywezeddwa mu mitima gyaffe. Tuzuukizibbwa eri BULI Kigambo kye yayogera, kubanga “Endiga zange ziwulira Eddoboozi lyange; omugenyi tezimugoberera.”

Nga emyezi gino egisembyeyo gibadde gya kitalo, nga tugoberera nnabbi mu Jeffersonville. Katonda abadde ayogera ng’ayita mu malayika we ow’amaanyi era ng’atuliisa Emmere ye gye yatereka okuva mu TTEREKERERO LYE ETTONO ERIMU bweriti mu ggwanga lyonna. Ye Maanu Enkusike, ya Mugole We yekka.

Na buli Bubaka bwe tuwulira, tussa kimu era ne tusanyuka ne bannaffe; “Nkimanyi nti Obubaka buno mbuwulidde emirundi mingi nnyo emabegako, naye SIBUWULIRANGAKO nga kati”. Mazima ddala nsulo ya Mazzi Amalamu ebululira munda mu ffe. Kumpi tetusobola kwefuga. Kye kyokka kye twagala okwogerako. Tetubangako bakakafu okusingawo mu bulamu bwaffe, ku kiki kye tuli na wa gye tulaga.

Tewakyali kwebuuza nti:
“Simanyi na kumanya. Nkoze ebintu bingi nnyo eby’ettabbu mu bulamu bwange. Mukama muremeredde emirundi mingi nnyo. Kirabika bu kiseera nvuya.”

Tewakyali kusuubira:
“Nsuubira ddala nti ndi mwana wa Katonda. NJAGALA okubeera. Nsaba mbe nga ndi.”

Ennaku ezo ZONNA ziweddeko. Kati TUMANYI. Ekitiibwa kya Katonda!!

Tumanya tutya? Katonda abadde ayogera naffe butereevu n’Eddoboozi lye ku ntambi, ng’atugamba emirundi n’emirundi nti, “Ndi mu mmwe, muli mu Nze. Tuli muntu omu. Nabalonda nga ensi tennatandikibwawo. Muli nnyama ya Nnyama Yange, eggumba ly’Eggumba lyange”.

Nga Bubaka butuukirivu nnyo Katonda bwe yatuwadde ku Ssande okutubuulira byonna ku ngeri ensi eno gye tulimu gy’etali yaffe, lusuku Adeni olwa Setaani. Engeri gye yalimbalimba Kaawa ku lubereberye okussa obubuuza n’okubuusabuusa EKIGAMBO KIMU kyokka. Yeeyambulako olutimbe lwa Katonda olutukuvu, n’ayambala olutimbe lw’okumanya, olwo amaaso ge ne gazibuka n’amanya nti yali bukunya.

Sitaani yakyamya Ekigambo nnakabala, era kati amuzibye amaaso okutuusa nti akyali bukunya so takimanyi. Afuuse nnaabakyala wa Sitaani era ensi eno bwe bwakabaka Adeni bwe.

Ssande, Omugole omusajja waffe ow’omu Ggulu ayagala okujjukiza Omugole omukazi we ow’oku nsi Amaka gaffe agajja gye gali ne bwe bwegalifaanana. “Swiitimutima omwagalwa, kati nga bwe nkubuulidde byonna ebikwata ku nsi eno n’engeri gyeri Olusuku Adeni olwa Sitaani, njagala okukubuulira OMULUNDI GUMU NATE ku Maka GO Agajja wamu nange.

Njagala nkubuulire mu bulambulukufu ennyo. Nkimanyi nti ompulidde nga nkikubuulirako emirundi mingi, naye lindako, ku mulundi guno kigenda kuba nga atampulirangako nga nkubuulira.

Njagala nkigende mu buziba. Njagala nkubikkulire nti oli mu Kwagala kwange okutuukiridde nga osigala n’Ekigambo kyange ne nnabbi Wange. Njagala nkuwe eky’okulabirako eky’ekyo ky’oli mu kukola leero nga eky’okulabirako ekituukiridde eky’Ekibuga ekiggya ky’ogenda okubeeramu.

Ddala tugenda kubaako kyetuyingiramu. Nja kubaako ne kyembasuulirayo ekitonotono; Nkimanyi nti mujja Kukikwata. Mujja kubeeranga mu Kibuga ekyo nange. Nabbi wange ajja kubabeeranga awo ku muliraano. Ajja kuba muliraanwa wammwe. Mujja kutambulira mu nguudo ezo eza zaabu munywe ne ku Nsulo Yange. Mulitambulanga okuyingira ensuku za Katonda, nga Bamalayika babawambatidde waggulu nga bayimba ennyimba ez’okutendereza.

Mmwe mujja okuba amayinja ag’omuwendo mu ngule ya nnabbi Wange. Mulitangaalijja okukira buli kimu mu nsi, ku lunaku olwo. Nnina bingi nnyo bye njagala okubabikkulira ku Ssande. Nga lunaaba lunaku lwa kitalo nnyo lwe tunaabeeramu nga tuli wamu”.

Alina bingi nnyo by’atutegekedde mu sabbiiti ezijja entonotono, bw’atajje kutujjawo nga tetunnatuukayo. Sabbiiti ku sabbiiti, nga Atubuulira, ki kye tuli, wa gye tugenda, na ngeri ki gyewanaafaananamu ebusukka eyo. Ajja kuba atukulembera okutuuka mu sabbiiti ya Paasika esinga okuba ey’ekitiibwa gye twali tubadde nayo, ng’ejjudde si kirala kirala kyonna wabula okumutendereza n’okumusinza.

Nga kiseera kya ssanyu. Tulaba obunnabbi nga butuukirira mu maaso gaffe. Tulaba Ekigambo nga kyolesebwa MU FFE. Okujja kwe kwandibaawo akaseera konna. Tuyimiridde ku mulyango nga n’ekimuli kituli mu ngalo. Embalaasi tuziwulira nga zitolontoka emisinde n’omusenyu nga gwekulukuunyiza wansi w’empanka.

Ekigaali ki magulu ana kiri ekikadde ekivugibwa embalaasi kigenda kuyimirizibwa mu bbanga mpaawo kaaga. Tugenda kubuuka tufulumire mu mulyango gw’omubiri guno omukadde tubuukire mu bbanga tugwe mu mikono gye. Ajja kututunuulira Agambe nti, “Byonna biwedde kati, mubissi gwanjuki wange, ka nkutwale kati mu Maka go Amajja.”

Oyanirizibwa okubeera ekitundu ku nnaku ezisinga obukulu ensi zeyali erabye. Obuwungu obuto bugenda kukuŋŋaana okuva mu nsi yonna okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera n’Omugole We okumubuulira byonna ebikwata ku: Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Gggulu N’Omugole Omukazi Ow’okunsi 64-0802, ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwe Jeffersonville. (Y’essaawa 1:00 (emu) ey’akawungeezi e Uganda).

Owol. Joseph Branham

Jjukira kino: Temwerabira nti Obudde bw’emisana mu Amerika bwesazeeko essaawa emu.

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Omut. Matayo 19:28
Omut. Yokaana 14: 1-3
Abeefeso 1:10
2 Peetero 2:5-6 / Essuula eyokusatu
Okubikkulirwa 2:7 / 6:14 / 21:1-14
Eby’Abaleevi 23:36
Isaaya Essuula ey’okuna / 28:10 / 65:17-25
Malaki 3:6