Omugole Wa Kristo Omwagalwa, leka tujje wamu ku Sande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essawa 1(emu) ey’omu kawungeezi e Uganda), okuwulira 60-1205 Omulembe Gw’Ekkanisa Y’Efeso.
Omugole Wa Kristo Omwagalwa, leka tujje wamu ku Sande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essawa 1(emu) ey’omu kawungeezi e Uganda), okuwulira 60-1204E Okwolesebwa Okw’e Patumo.
Nga twagala nnyo ekigambo, OKUBIKKULIRWA! Obukulu bw’Okubikkulirwa KWONNA okw’amazima okuweebwa Omwoyo Omutukuvu eri omukkiriza ow’amazima tebuyinza kuggumizibwa kussukkawo. Okubikkulirwa kwa makulu nnyo eri Omugole n’okusinga obulamu; kubanga ku LWAZI LUNO, OKUBIKKULIRWA, ndizimba Ekkanisa yange, era olw’ekisa n’okusaasira kwa Katonda, ffe Ekkanisa ye erina Okubikkulirwa kwe okw’amazima.
Ekitabo ky’Okubikkulirwa tekigendereddwa kubeera kya buli muntu. Teri asobola kuKitegeera. Kitabo kya bunnabbi ekyawandiikibwa kulw’ekibiina ky’abantu abamu ab’obunnabbi, era nga kiyinza kutegeerwa bo bokka: FFE, Omugole wa Yesu Kristo.
Kye Kitabo kyokka Kristo kye Yeewandiikira Mwennyini mu bitabo by’omu Baibuli yonna, wabula Yakiweereza era n’Akimanyisa nga Akozesa malayika wE gwe Yatuma eri omuddu wE Yokaana. Abayigirizwa baali tebamanya mazima gano agawandiikiddwa. Gaali tegababikkulirwangako ke batuukira awo. Ne Yesu yali tasobola kubabuulira ku kifo kyE mu Go; kubanga Kitaffe yali tannakiMubikkulira.
Naye kati, oluvannyuma lw’okufa kwE n’okuzuukira kwE, era mu kigero ky’ekiseera kino kyennyini, Asobola okusoosootola Okubikkulirwa kuno okwa Ye Mwene eri Yokaana, ekitiibwa kye n’okubeerawo kwe mu kkanisa kye bitegeeza era kye bikola.
Naye ne kaakano, oluvannyuma lw’emyaka enkumi bbiri, ensi efumiitirizzanga, abasomi b’ebya Katonda beekkaanyizzanga era ne bawaddenga endowooza zaabwe ensengejje, wabula tewali alina nzivuunula ntuufu na Kubikkulirwa kutuufu okw’ebyama bino ebyawandiikibwa mu Kitabo ky’Okubikkulirwa n’okutuusa leero, okutuusa ku kiseera kino, Katonda lwe Yasindika malayika oyo yennyini ku nsi okuKitubikkulira FFE, Omugole wE gwe Yeeroboza.
Okugezaako okutegeera obunene bwakyo nti Katonda Yannonda nze, era Yakulonda ggwe; okubeera n’Okubikkulirwa okw’amazima okw’Ekigambo kyE kisukkiridde okunnyonnyolwa kw’omuntu. Wadde nga waliwo bangi abagamba nti bagoberera Obubaka era nga bagamba nti bakkiriza nti Katonda Yatuma nnabbi, tebalina Kubikkulirwa kujjuvu mu kumanya ekiva mu butafuula Ddoboozi lye eddoboozi erisinga obukulu lye BATEEKEDDWA OKUWULIRA. Okubeera n’Okubikkulirwa kuno okw’Eddoboozi lyE mu lunaku luno ddala ye Luulu eri ey’omuwendo omunene.
Katonda alonze ffe nga ab’okubikkula OKUBIKKULIRWA okwo OKW’AMAZIMA eri bo. N’olwekyo, ffe KKANISA Ye EYA NNAMADDALA, eggye lye li Mutawangulwa Sitaani ly’atabeerera wa maanyi mu maaso gaalyo, era ebigendererwa bye we biyingibwa mu ngeri emalamu amaanyi. Nga tulina Okubikkulirwa kwE okw’amazima mu bulamu bwaffe, emiryango gy’emagombe tegirina ngeri gye gituyinza, wabula tuligiyinza. TEWALI KINTU kiyinza kutwesimba mu maaso.
Okubikkulirwa okw’amazima era okujjuvu okw’olwaleero kwe kutegeera obukulu bw’Eddoboozi lya Katonda ery’olunaku lwaffe. Bwe kiba nti okugenda mu kkanisa, okubeera ow’ekkanisa, okwewaayo, okusaba, n’okusinza Katonda bye byonna Katonda by’Atwetaaza, olwo Katonda aba teyali mwenkanya okusingisa Kayini omusango olw’okukola ekyo kyennyini kye Yamugamba okukola.
Kino Eddoboozi eriri ku ntambi kye litegeeza gye tuli:
Okubikkulirwa kw’ekintu kyonna nga kuteekeddwa emabega wano nga kujjirako n’omukisa eri oyo aKusoma n’aKuwulira, era nga kujjirako n’ekikolimo eri abo abanaakwongerako oba okukitoolako. Ye ssemateeka mu bulambirira, oh, abusoluuti oyo. Mpaawo kiyinza kwongerwa ku Kwo. Era omuntu bw’agezaako okuKisonjolamu ekintu kyonna, oba okuKinyigamu ekintu kyonna, Katonda Yagamba nti oyo yennyini alimuggyako omugabo gwe mu Kitabo ky’Obulamu. Okiraba? Wa kuggya omugabo gwe mu Kitabo, singa aba akyongeddeko.
Nga bwe kitabangawo, Katonda ataddewo ENGERI ENTUUKIRIVU ey’obutongerako yadde okutoola ku Kigambo kye. Atuwadde omukisa okuwulira Eddoboozi lyE nga bw’Ayogera n’okutubikkulira ekigambo kyE. Mu ngeri ennyangungu tewayinza kubaawo kintu kyonna kisinga ekyo.
Kuno kwe KUBIKKULIRWA OKUTUUFU okw’olunaku luno.
Ndi musanyufu nnyo era nga ndi wansi wa kusuubira okw’amaanyi olwa byonna Mukama by’Atutegekedde nga bwe tuwuliriza, nga tusoma, era nga tuyiga n’okwetegereza Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu. Katonda Yakiwandiika, n’Atuma malayika wE okuKimanyisa eri Yokaana, olwo n’Atulinda okubeera wano ku nsi mu kaseera kano kennyini asobole okututumira malayika oyo yennyini okuKibikkula!
Tewabangawo kiseera kya kitiibwa mu byafaayo by’ensi okusinga leero. Tewabangawo kussibwamu kitiibwa kwa waggulu mu muntu okusinga okufuna omukisa okwewulirira Eddoboozi lya Katonda ku bwabwe. Tewabangawo kiseera Omugole wE lwe yali asobodde okugattibwa awamu nga akozesa Eddoboozi lyE bonna mu kiseera kye kimu.
Mubeere beetegefu, Katonda agenda kutuwa Okubikkulirwa okusingawo ku Ye n’ekyo kye tuli: Eggye lye li Mutawangulwa, Omukyala wE Omulonde gwe Yeeroboza, ow’oku mutima gw’alindiridde okuva ku ntandikwa y’ebiseera.
Ekyo tewali kiyinza kukituggyako. Kisudde ennanga mu mitima gyaffe ne mu mmeeme zaffe nga bwe kitabangawo. Kati kifuuse ekya nnamaddala ekiri mu kutuwa Okuyimusibwa okw’amaanyi ennyo mu Kukkiriza.
Tugenda kutandika olugendo lwaffe olw’amaanyi ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essawa 1(emu) ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira Obubaka obusooka: 60-1204M Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo.
Nnandyagadde okukukubiriza okufuna ekitabo kyo eky’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu, okisomere mu mbeera ensirifu mu kisenge kyo era oyige nga weetegereza, ssuula ku ssuula, buli wiiki. Tugenda kuba tugattiddwa mu bumu nga tuwuliriza Eddoboozi lyE, awo ne tusoma Ekigambo kyE.
Naye bw’olaba obulimba bw’omulabe leero, tetubangako na kiseera kyenkana na kino kye tulimu kaakati. Lwe lunaku olukyasinzeeyo mu bukalabakalaba, n’obulimba. Kale bwe ndaba ebyo, bireeta kino, nti, Omukristaayo alina okwongera okubeera bulindaala leero okusinga bwe yali abadde mu mulembe omulala gwonna.
Ow’oluganda Branham ebigambo bino yabyogera eri Omugole kumpi emyaka 61 egiyise okutuusa kati. Obulimba bw’omulabe emyaka 61 egiyise bwali butya bw’ogeraageranya ne kati? Okukiteeka mu ngeri ey’enjawulo, tekinologiya w’ensi yali atya emyaka 61 egiyise bw’ogeraageranya ne bw’ali leero?
1961 ye yali entandikwa y’empaka wakati w’Amerika n’amawanga amasoviyeeti okwefuga obwengula bw’ensi, kompyuta gaali guuma ga mujjula-bisenge agaakolenga ku bipiira ebisikemu omukka n’agapapula agawummulemu ebituli okuterekamu amagezi gaazo nga zino zeetaagisanga bannassaayansi abakugu okuziruŋŋamyanga ku ky’okukola. Amasimu gaatindirwanga ku bisenge era nga geeyambisanga waya za kkopa enjokyereko ate eza analoogo, ebibyuma ebinene ebyongezaayo amaloboozi, ebyuma ebiwandiika ennukuta nga bya kunyigisa maanyi, ebitereka amabaluwa n’empapula nga bya mukono-mukono n’obuuma obubala ennamba nga si bwa masannyalaze.
Naye leero tulina Omutimbagano, sisitiimu ezitegeerera kompyuta (E Ayii) ezisobola okutondawo ebifaananyi, okuwandiika, n’okuyambako mu mirimu nga eno okola ebirala. Ebizungirizi eby’abantu ba ssekinnoomu nga gigenda ku mmunyeenye Maazi wabweru w’ensi, amasimu ga kalimagezi agaja mu nsawo y’olugoye lwo, essaawa zi kalimagezi, n’ebyuma eby’abantu nga ba sekinnoomu ebijja amaanyi ku bitimba bi mibuna-nsi awatali waya ebiyungirawo obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu nga bitambuza eddoboozi, obubaka obuwandiike n’ebifaananyi ebitambula. Ebyuma bi Loboti ebiyambi.
Obukalabakalaba n’obulimba bw’omulabe buli nga bwebutabangako emabega. Ensigo embi eya Sitaani ekuze mu bujjuvu era etonzeewo olusuku Adeni olwa Sitaani. Wabula mu kiseera kye kimu, Katonda alina Omugole akuze mu bujjuvu, Ezzadde lye eddangira eryeteeseteese nga Lituula mu maaso g’Omwana wE, Ekigambo kyE, Eddoboozi lyE.
Katonda Yakimanya nti Yalina okuteekawo engeri y’okuyimirizaawo Omugole wE mu mulembe guno ogw’obulimba, omubi. Engeri etuukiridde gye batandyetaaze kwebuuza, kuteebereza, oba okutwala ekigambo ky’omusajja yenna nti ky’Ekigambo ekituufu ekitatabikiddwamu birala. Yamanya nti bajja kwetaaga okwewulirira Eddoboozi lya Katonda nga bo, kubanga Yatulabula nti kijja kuba kisembereganye nnyo kiririmba abalonde bennyini oba nga kiyinzika.
Abantu bayinza okuba nga bafukibbwako amafuta, nga bajjuziddwa Omwoyo Omutukuvu, ne baba nga ba bulimba. Yalina okuteekawo ekkubo. Bw’Atyo, Yakolera Omugole wE EKKUBO ETTUUKIRIVU, eryandirabise ng’eritasoboka bwe Yatandika okukwata Eddoboozi lyE ku lutambi mu 1947; kisoboke okuba nti nga bakwatako bukwasi n’olunwe lw’olugalo lwabwe, ensi erisobola okwewulirira bo buli Kigambo kye Yayogera, ne mu lulimi lwabwe bo. Waali tewajja kubaawo BIBUUZO, MPAAWO KYEWUUNYA. BAJJA KUSOBOLA OKUWULIRA BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA KU BWABWE.
Atuuse n’okukola engeri gy’Ayinza okugatta Omugole wE okwetoloola ensi yonna okuwulira Eddoboozi lyE, bonna mu kiseera kye kimu, basobole okuba mu ndowooza emu, mu kukkaanya kumu, nga baMuwulira ng’Ayogera.
Yalina okutwala omubaka wE, wabula Yalekawo Eddoboozi lyE, Ekigambo kyE ekituukiridde eri Omugole wE Atuukiridde. Nga bawulira era ne basigala n’Eddoboozi lyE, banditegedde nti tebasobola kulimbibwa.
Era kiikino wano: Bw’atyo Katonda bw’ateekawo Ekkanisa Ye, buli Kigambo kyonna n’embala y’akyo! “Omuntu taabenga mulamu na mmere yokka, naye na buli Kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.”
Tukimanyi kino kwe kukkiriza buli Kigambo Omwoyo Omutukuvu ky’Ayogera, naye gyendi, mpeereddwa ekitiibwa ekisinga obunene ekyali kiweereddwa omuntu. Nsobola okuwulira, n’amatu gange, EDDOBOOZI erya nnamaddala nga LYOGERA buli Kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.
Tewali ngeri ndala ku lwange. Katonda ataddewo engeri nnyingi ez’okulokolamu abaana bE, wabula ku lwange, Katonda ataddewo ENGERI ETUUKIRIDDE EY’OKUTUUKIRIZAAMU OMUGOLE WE.
Leero, Sitaani ali mu kunyoola ekitundu ekyo eky’Ekyawandiikibwa ekikwata ku mulembe guno gwennyini. Ajja kukuleka otegeere nti byonna Yesu bye yakola tebyaliko nsobi yonna. Ajja kukuleka otegeere nti byonna ow’oluganda Branham bye yakola tebyaliko nsobi yonna, era yali nnabbi wa Katonda. Naye bwekituuka ku kuzannya Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza lyennyini mu kkanisa yaabwe, bajja kugamba nti ekyo tekikola leero, buweereza bwe buliko.
Omukulembeze wo ow’omwoyo atumbula ki mu kkanisa yo? Ddoboozi ki erisinga obukulu Omugole ly’alina okuwulira leero? Osobola okuba ne Major emu yokka. [Major – eky’essira erisingako ku birala].
A: Eddoboozi ly’obuweereza? B: Eddoboozi lya Katonda ku ntambi?