21-0822 Okweroboza Omugole

Obubaka: 65-0429E Okweroboza Omugole

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Omugole wa Katonda Omulonde omwagalwa,

Kitaffe yalonda Omugole we nga n’emisingi gy’ensi teginnabawo. Yayagala Omugole anaalabirwamu enneeyisaye yennyini. Yayagala Omugole anaamusikiriza ng’akuuma Ekigambo Kye.

Omugole anaaberanga yeeweereddeyo ddala gyali n’eri Ekigambo Kye ekisuubize, okutuusa nga endowooza yennyini eyali mu Ye eri mu bo. Baali ba kuba Mubiri gwe gwegumu, magumba gegamu, Mwoyo y’omu, buli kimu kyekimu, nga bakoleddwa mu ngeri entereevu obulungi okutuusa nti ababiri abo bakufuuka Omu.

Yayagala okubabumbamu empisa ye yennyini, kubanga Omukyala yali wa kubeera ddala nga Ye Omwami . Alinze okuva lweyateeka Adamu ne Kaawa be abaasooka ku nsi okuzzaawo Omugole We atuukiridde. Abadde amumamirako, ng’amukomyawo eri okwolesebwa kw’Omugole okujjuvu; kubanga bajja kubeera Omugole we ow’Ekigambo Ekyogere.

Bweyamulaba, Yali musanyufu nnyo, Kunkomerero yalina Omugole atalyekkiriranya n’Ekigambo yadde ekimu. Omugole ataakikole yadde n’okuba ng’abuusabuusamu ekimu ku Kyo, naye anaakitwala nga ddala bwekiri. Bajja kugamba ensi tekyetagisa kuvvuunulwa kwonna, kubanga ly’eddoboozi lya Katonda eddoongofu.

Nga bwatunuulira Omugole we swiitimutima omutono omutukirivu, Yamwenyumirizaamu nnyo, Yalina bubeezi kumulabisa wonna. Kale n’ayita malayika we owomusanvu ow’ekitalo, amwerabireko nga bwalifaanana. Yayagala malayika ono alabe Omugole, era amulabise, malayika asobole okugamba Omugole butya bw’ali omubalagavu.Bwatyo asobole okumuzzaamu amaanyi era amutegeeze nti Ye Katonda amanyi ddala kiki Omugole ky’Ali.

Kale yatwala malayika we n’amuteeka ku kifo ekyawaggulu asobole okumulengerako. Nga bw’amulengera, Omwoyo wa Katonda yayogera gyali ng’agamba, “Omugole Wuuyo.” Yatunula, n’akulaba GWE awo. Omutima gwe gwasanyuka.

Buli omu ku MMWE yali ayambaziddwa engoye z’amawanga gammwe gyemuva: Switzerland, Bugirimaani, wonna mu nsi, buli ggwanga. Enviri empanvu ennungi ddala nga zeewuubira ku mugongo, emikono gy’amasaati, ne ssikaati wansi bulungi. Era MMWE mwenna mwali mu mudigido ogukumba, “Mu maaso, abajaasi akakristaayo, tukumba twolekera ng’abagenda mu lutabaalo.” Nga bw’atunula, Twatandika okukumba nga twolekera mu bwengula; Twali Kigambo.

Weebale Kitaffe. Ekyo nga kizzaamu emitima gyaffe amaanyi leero. Tukwagala n’Ekigambo Kyo na buli kimu ekiri muffe. Tukkiriza buli Kigambo. Obubaka buno butujaamu nga gilavuzi ku mukono.

Twagala okubeera Omugole Wo ow’Ekigambo Ekituukiridde. Tetumanyi ngeri ndala yonna ey’okukikolamu okujjako okusigala n’Ekigambo kyo, Emmaanu eno eyaterekebwa gyewalekawo kulw’Omugole Wo asobole okwetegeka.

Tulaba nti ekiseera kiri kumpi. Ensi enyenyegana wansi waayo ne zi Musisi. Bamalayika bo abanoonyereza bali wonna. Ensi esulikidddwa kifuula nnenge. Entalo, okulwana, okutta, obuwuka obutamanyiddwa obuvaako endwadde n’endwadde buli wamu. Omulabe alumba ntakera mu busungu obungi, ng’agezaako okutulugunya Omugole Wo, naye Mukyala wo omulonde swiitimutima munywevu yeekutte ku Kigambo Kyo.

Tuyambe Kitaffe tuleme okukyamyamu ekigere kimu. Leka amaaso gaffe tugakuumire kuggwe era twekwate ku Mukono gwo Ogutakyukakyuka. Yongeza OKUKKIRIZA kwaffe, Otuwe byetwetaaga. Jjangu obeere n’Omugole wo Ssande eno, ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetukuŋŋaanira ku Ddoboozi Lyo ery’olunaku okukuwulira ng’oyogera: Okweroboza Omugole 65-0429E.

Kuno kwe kusaba kwaffe Kitaffe:

Ai Katonda w’Eggulu, saasira ensi ey’eyibi n’abantu ab’ekibi, Mukama, nga bwetuli akawungeezi kaleero. Katonda, ngezaako okuyimirira mu bbanga wakati era nga nsaba ekisa kya Katonda Katonda wa Isiraeri, nti onooyogera eri Ekibiina kino akawungezi kaleero era oyite Omugole Wo okussaayo omwoyo, Mukama, obutatambula nga bagoberera akabonero k’ekikwate kyonna, naye bagoberere eddoboozi ly’Enjiri ya Mukama Yesu Kristo. Leka kibe, Ai Katonda. Ka kimanyibwe, ekiro kyaleero, nti Gwe oli Katonda, era Ekigambo Kyo Mazima. Nga, mu mutima gumu, mu maaso g’abantu bano bonna, tubakoowoola eri okussaayo omwoyo okw’Ekigambo Kyo.

Owol. Joseph Branham

ebyawandiikibwa by’okusoma biri …

Oluberyeberye 24:12-14
12N’ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu.
13Laba, nnyimiridde ku nsulo z’amazzi; n’abaana abawala b’ab’omu kibuga bafuluma okusena amazzi:
14kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti Sena ensuwa yo, nkwegayiridde, nnywe; naye anaagamba nti Nnywa, nange nnaanywesa n’eŋŋamira zo: oyo abeere oyo gwe walagirira omuddu wo Isaaka; era bwe ntyo bwe nnaategeera ng’olaze ekisa mukama wange.

Okubikkulirwa 21: 9
9Ne wajja omu ow’oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abajjula ebibonyoobonyo omusanvu eby’enkomerero; n’ayogera nange, ng’agamba nti Jjangu, nnaakulaga omugole, mukazi w’Omwana gw’endiga.