21-0829 Okukwatibwa Ensonyi

Obubaka: 65-0711 Okukwatibwa Ensonyi

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Branham Tabanako abaagalwa,

Tweyanzeege nnyo nti yatwawula edda okulonda ekkanisa entuufu ey’okuteekamu ab’amaka gaffe.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Singa mbadde nneeroboza ekkanisa, Nnandilonze ekkanisa ya Baibuli, ey’Enjiri Enzijuvu, ekwata ebiragiro ebyasooka, eyannamaddala, singa mbadde nnonda eyo ey’okuteekamu ab’amaka gange.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Tweyanzeege nnyo nti tugamba ensi omusumba waffe y’ani, era nti tweyisiza ddala nga ye.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Singa on’onekkaanya enneeyisa y’ekkanisa eyo, wekkaanye bwekkaanya nneeyisa ya musumba okumala akabanga, era nga bulijjo ojja kuzuula nti ekkanisa yeeyisa nga musumba.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Tweyanzeege nnyo nti ssi nsonga wa wetuli mu nsi, Asisinkana naffe.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Yasuubiza okusisinkana wonna wonna babiri oba basatu webakuŋŋaanira awamu. Kya mazima. Awo omukkiriza owa nnamaddala w’awummuliza essuubi lye, kiri ku Kigambo kya Katonda ekyo ekiri okulabisibwa.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Tweyanzeege nnyo nti tukkiriza nnabbi We, na buli Kigambo ekyayogerwa.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
B’oba ng’onzikiriza okubeera nnabbi wa Katonda, gwe wuliriza ekyo kye nkugambye.

    
(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Nnabbi we yali wa kubuulira ki?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Obubaka obutuukiridde, okudda eri Ekigambo.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Yatumibwa lwa nsonga ki?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
“Okufuna Omugole oyo!”Ogwo mulimu. Ekyo y’ensonga embeesezza wano. Ekyo kye ngezaako okukola, kwe kuyitayo Omugole.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Watya nga tukyamizzaamu ekigere kimu mu nkumba yaffe?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Era ekyo kyennali nnina okukola, okukuumira Omugole oyo ng’akumba buteerevu.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Kaakati Kitaffe kiki kyaterese mu ggwanika kulw’Omugole we?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Nzirayo eka, okuzza obujja ebirayiro byange, era ntandike buggya.
Kale ekyo kye tuteekateeka okukola, eyo y’ensonga embeesezza wano.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Mukama atenderezebwe, tutandika ddi enkuŋŋaana zaffe ez’okuzza obujja?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Era olwo, Mukama ng’Ayagadde, amakya ga Sande eggya tujja kutandika olukuŋŋaana. Era mwenna munnyambe, era tujja kusaba, kubanga kyabadde mu mutima gwange okugezaako…Baagambye, “Kale, tuyinza okugenda e Louisville oba tuyinza okuserengeta e New Albany.” Naye olukuŋŋaana lwabadde lulina kuba lwa Jeffersonville. Nja kugenda e Louisville n’e New Albany, mu biseera eby’enjawulo, naye kino kirina kubeera wano e Jeffersonville.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Tuli beetegefu Kitaffe. Empugu zo zijja kuba zikuŋŋaana era nga ziwuliriza. Kiki ekigenda okubaawo mu kaseera kano?

(Ow’oluganda Branham yagamba)
“…Nneetaga okukkiriza okusingako.” Ekyo y’ensonga lwaki ndi waka kati kwe kufuna e—ekibwatukira ekiggya eky’okukkiriza.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Mukama atenderezebwe, naffe ekyo kyetwagala Kitaffe, ekibwatukira ekiggya eky’OKUKKIRIZA.
Tumanyi okukkiriza kujja na kuwulira, kuwulira Kigambo Kyo, era Ekigambo Kyo kijja eri nnabbi.

Obubaka buno, amaanyi ga Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, gabunye wonna mu nsi, naye kati ekiseera ky’okwawukana kigenda mu maaso. Katonda ayita Omugole, ne Setaani ayita ekkanisa. Tuli kitundu ku Bubaka Buno, Ekigambo Kye, Omugole We!

Tulina obukakafu bwebumu era tumanyi kyetwogerako. Tetukwatibwa nsonyi nti tukkiriza Obubaka Buno n’Omubaka We, kubanga bebamu. Tetukwatibwa nsonyi okugamba: “tukkiriza buli Kigambo”. Tetukwatibwa nsonyi kugamba: “Tuzannya entambi mu kkanisa yaffe”. Tetukwatibwa nsonyi okugamba: “Tuli bantu ba ntambi.”
Kituzibuwalira okutegeera nti omukkiriza yenna, oba omuweereza w’obuweereza bw’emirundi etaano, agamba nti akkiriza Obuweereza buno, era n’agamba nti ow’oluganda Branham nnabbi era mubaka wa Katonda, olwo n’akkiriza era n’agamba abantu kikyamu era tekisinziira ku Kigambo okuzannya Eddoboozi lya Katonda erilabisiddwa ddala mu Kkanisa yabwe.

(Ow’oluganda Branham yagamba)
Leka tukubiririzenga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; tunenyenga, era tunenye, era…n’okugumiikiriza kwonna n’enjigiriza.
Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; ng’okwegomba kwabwe bo bwe kuli…balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, amatu nga gabasiiwa;
era balikyama okuva ku mazima okugobereranga enfumo obufumo.

(Ow’oluganda Joseph agenda mu maaso)
Bwek ituuka ku Kigambo kya Katonda ekitatabikiddwamu kintu, ekyannamaddala, ekikakasibbwa Katonda, Ekigambo kya Katonda ekirabisiddwa, Kirabika nga n’okuswaza ekiswaza ekibiina kiri ekirala. Kibaswaza era bakkiriza nti kiwakanya Ekigambo okubeera Ekkanisa y’Entambi.

Naye eri ffe, Kyannamaddala. Tekukwatibwa nsonyi. Bwetwasembeza nnabbi oyo, waliwo Ekintu ekimu ekyatuula munda muffe, era kati tewali kiyinza kutwala kifo kyakyo.Tukyenyumirizaamu okuyitibwa omu ku bo, Ekkanisa y’Entambi, Ekibiina ky’Entambi, abantu b’Entambi.

Tukwaniriza okujja owulirize Obuweereza bwa Katonda obw’Etambi wamu ne Branham Tabanako , Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetukkuŋŋaana n’okusuubira okw’ekitalo; nga tuzza bujja ebirayiro byaffe, era tuddeyo bupya, okuyita mu kuwuliriza: Okukwatibwa Ensonyi 65-0711.

Owol. Joseph Branham

Kaakati Ebyawandiikibwa by’enkya,

Makko essuula 8:
“34N’ayita ebibiina n’abayigirizwa be, n’abagamba nti Omuntu bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.

35Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n’olw’enjiri alibulokola.

36Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n’okufiirwa obulamu bwe?

37Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?

38Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n’ebigambo byange mu mirembe gino egy’obwenzi era emibi, n’Omwana w’omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw’alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.