Obubaka: 59-0510M Olunaku Lwa Maama
Mugole Omwagalwa,
Kaakano, ndowooza nti tewali kitiibwa kimala kye tuyinza kuwa ba maama.
Maama waffe ye asoooka okubeera naffe, era aweereddwa obuvunaanyizibwa obunene ku kye tuliba n’ekkubo lye tulina okutambulIiramu. Katonda yamukwasa omulimu okututeeka mu kkubo ettuufu. Eyo y’ensonga lwaki ba maama baweebwa okukwatako okw’enjawulo okuva eri Katonda.
Nga mukisa gw’anjawulo ogututegekeddwa ku Ssande eno, bwe tunaaba tuwa ekitiibwa eri ba Maama bonna, nga tuwulira malayika wa Katonda ow’omusanvu ng’alaga okwagala n’ekitiibwa ba maama bye balina mu mitima gyaffe.
Tumanyi nti buli lunaku Lunaku lwa Maama, naye ku Ssande eno tujja kuwa ekitiibwa eky’enjawulo eri ba Maama bonna nga tuwulira nnabbi waffe ng’ayoleka ekitiibwa nga bwe yayogera emyaka 67 egiyise ku lunaku lwe lumu olwo, nga May 10, 1959.
Ow’oluganda Joseph Branham
Obubaka: Lunaku lwa Maama 59-0510M
Obudde: 12:00 ez’emisana, obudde bwa Jeffersonville
Ebyawandiikibwa: Abakkolinso Ekisooka 15:1-4