26-1025 Okutongozebwa #1

Obubaka: 60-0515E Okutongozebwa #1

PDF

BranhamTabernacle.org

Abeesigwa mu Kristo Yesu abaagalwa,

Nga kiseera kya kitiibwa nnyo kyetulimu. Tuli mu kusuubira okw’amaanyi buli sabbiiti nga bwe twegatta awamu okwetoloola Eddoboozi lyE. Ebirowoozo byaffe eby’omwoyo byonna tebiriimu  kutabulwatabulwa. TuMANYI ddala y’Ani. TuMANYI ddala Ye ki. TuMANYI ddala ffe b’ani; ab’enju emu ennene WAMU NAYE!

“Yawa omuntu eky’okubeera katonda omutono.” Kubanga Ye Katonda Kitaffe, era Yafuula omuntu katonda omutono, n’olwekyo tAkyali Abeerawo Yekka, abeerawo n’ab’enju yE. Ela , Ela , Elohim. Kati, kati Ye Yakuwa. Yakuwa, ekitegeeza, “Oyo abeerawo wamu n’ab’enju yE.”

Ab’enju Omugole wE bali mu kutuukirizibwa Eddoboozi lya Yakuwa yennyini. Atuyigirizza engeri y’okulwanyisaamu buli mulabe atulumba; engeri gye tuyinza okumuwangula n’okumuvvuunuka n’Ekigambo, kubanga Ekigambo kibeera era kitudde munda mu ffe. Yatugumya nti, “FFE KIGAMBO”. N’olw’ekyo ekintu kyonna kye tusaba mu Linnya lye, tusobola okukifuna singa tukkiriza….ERA TUKKIRIZA!

Ayogedde era n’Atubikkulira engeri y’okufuuka ebikula by’abasajja n’abakazi abatuukiridde tusobole okubeera ekifo mw’Abeera. Yakookolima mu ddobooze ly’Empngu era N’Akookolima  okukuŋŋaanya Omugole wE omwagalwa awamu okututegeeza nti Ye Muluŋŋamya waffe, era nti Abadde Atukulembera era ng’Atuluŋŋamya nga Akozesa omuluŋŋamya malayika wE ow’oku nsi, William Marrion Branham.

Kati alinayo essomo eddala ery’enjawulo ly’Ayagala okutuyigiriza n’okutubikkulira. Ayagala okulangirira nti tuli baana bE abatongozeddwa. Erinnya lyaffe likola ng’Erinnya lyE. Tufulumye Kanani, ensi, era KAAKANO tutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu, nga tulya Emmaanu eyaterekebwa, eyakwekebwa.

Kati Agenda kutubuulira kye tulina okukola okusobola okwetegekera Obubaka bwE obuddako, na kiki ekiyinza okubaawo singa tukikola.

Tuteekwa okuba nga tumaze okusaba era nga tweetegekedde Obubaka; Tukuŋŋaane wamu ng’abatukuvu okuwulira Eddoboozi lyE, nga tubatizibbwa n’Omwoyo Omutukuvu, nga tujjudde emikisa gya Katonda; Nga tewali birowoozo bibi; Nga tewali kintu kyonna ky’olina eky’obutakkaanya ku munno; Nga twogerera mu kwagala n’okukwatagana; Mubeere mu ndowooza emu, mu kifo kimu wamu mu bifo eby’omu Ggulu wansi w’embeera ey’omu Ggulu; Ebibi byaffe byonna nga biri wansi w’Omusaayi, mu kusinza okutuukiridde; Emikono n’omutima gwaffe nga biyimusiddwa waggulu eri Katonda, nga tusinza wamu mu bifo eby’omu Ggulu.

Singa tukola ebintu bino, bino bye bigenda okubaawo ku Ssande eno:

  • Okuwonyezebwa okw’obwakatonda
  • Okumanyirwawo
  • Okubikkulirwa
  • Okwolesebwa
  • Amaanyi ag’enjawulo
  • Ennimi
  • Okuvvuunula kw’Ennimi
  • Amagezi
  • Okumanya
  • Emikisa egy’omu ggulu
  • Essanyu eritoogerekeka era lijjudde Ekitiibwa

Buli mutima gujja kujjuzibwa Omwoyo. Olwo amangu ago wajja kuva mu Ggulu okuwuuma ng’empewo ekunta ey’amaanyi era Ajja kutuwa omukisa n’emikisa gyonna egy’omwoyo.

Ekyo kye kigenda okubaawo ku Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essawa 1(emu) ey’omu kawungeezi e Uganda), Katonda gy’Atadde ekifo eky’enjawulo Omugole w’asobola okukuŋŋaanira awamu okuwulira Eddoboozi lyE mu mwoyo omu, mu kifo kimu, ng’emikono gyaffe n’emitima gyaffe giyimusiddwa waggulu eri Katonda, nga tusinza wamu mu mbeera ey’omu Ggulu.

Owol. Joseph Branham

Obubaka:    Okutongozebwa #1 60-0515E 
    

Ekyawandiikibwa:

Yoweri 2:28
Abaefeso 1:1-5

I Abakkolinso 12:13

I Peetero 1:20

Okubikkulirwa 17:8

Okubikkulirwa 13