22-1225 OKUKWATIBWA ENSONYI

Obubaka: 65-0711 OKUKWATIBWA ENSONYI

BranhamTabernacle.org

Omugole Lebbeeka Omwagalwa,

Taata atumye omuweereza we omwesigwa, Erieza, okuyiggayo Omugole we Lebbeeka. Tumutegedde, omubaka malayika we ow’omusanvu, William Marrion Branham, gwe yalagira: Okutuyita, Okutukuŋŋaanya, Okutukulembera era ku nkomerero ya byonna okutwanjula, gy’Ali.

Atugonnomoleddeko Amaanyi ge Agazuukiza era Atuleetedde okutegeera ekifo kyaffe, ekifo kyaffe, n’obuvunaanyizibwa bwaffe, nga bwe tuli abantu abayitibwa, abeeyawudde ku nsi, abeewaddeyo eri Katonda. Atuluŋŋamya era Atukulembera mu bintu bye tukola ne bye twogera, okuweesa Erinnya Lye ekitiibwa n’ettendo.

Tewali kintu kyonna, awantu wonna, ekiyinza okutwawula ku Ekyo, MPAAWO. Tukuumiddwa Butaggwawo mu Bwakabaka bwa Katonda. Kitaffe Atukubyeko sitampu ey’Envumbo Ye okutuusa ku nkomerero y’olugendo lwaffe.

Sitaani atukuba ebikonde emisana n’ekiro. Atugamba buli kimu, n’atulumiriza, n’agezaako okutulowoozesa nti si ffe Omugole oyo. Atukasukira buli kimu mu kkubo lyaffe okugezaako okutuwugula, ng’obulwadde n’ennaku, naye tetumuwuliriza. Amaanyi ago agazuukiza KATI gali mu ffe era tussiddwako akabonero ne twesigamizibwa ku Kigambo ekyo. Tubuuka okuva ku ŋŋamiya yaffe, nga tudduka gy’Ali mu lugendo lwaffe olututwala ku Kyeggulo kyaffe eky’Embaga makeke.

Tetuswala mu bye tukkiririzaamu; okwawukana ku ekyo, twagala ensi emanye, TULI BANTU BA NTAMBI ABAKKIRIZA BULI KIGAMBO EKYOGEDDWA NABBI WE ERIEZA Omwesigwa gwe yatuma okukoowoolayo n’okukulembera OMUGOLE WE LEBBEEKA. Tetwongerako oba okutoolako yadde Ekigambo KIMU. Obubaka buno ye Abusoluuti waffe.

Omusajja ajjudde Omwoyo Omutukuvu, ajjudde Amaanyi ga Katonda, n’okwagala kwa Katonda mu mutima gwe, ayinza atya okwogera n’omusajja omu eddakiika entono-tono n’atayogera kintu kyonna ku Bubaka bwe yaakawulira ku Lutambi?

Bw’osisinkana abantu abeeyita abakkiriza mu Bubaka buno obw’ekiseera eky’enkomerero, osobola okwogera nabo eddakiika entono-tono era osobola okumanyira ddala wa we bayimiridde ku kuzannya entambi. Bantu ba Ntambi oba si kye bali.

Tekilowoozeka nti bakitwala nga eky’obuswavu, oba ekikyamu, singa ogamba nti ozannya entambi mu kkanisa yo oba mu maka go. Bawulira nti kikontana n’Ekigambo so si Kkubo Katonda lye Yateekawo. Onyoomebwa lwa kubanga ogamba nti oli “Muntu wa Ntambi”.

Abaweereza abazannya entambi mu masinzizo gaabwe bavumirirwa, ne batuuka n’okubayita abagayaavu. Era bw’owuliriza olutambi lwe lumu mu kiseera kye kimu, kale, toba na muweereza, oba kibiina kya ddiini, oba asinza omuntu.

Ntebereza abantu abo bonna abaatusooka abaabeeranga ku mikutu gy’amasimu mu masinzizo gaabwe n’amaka gaabwe, nga bawuliriza Ow’oluganda Branham bonna mu kiseera kye kimu, nabo bateekwa okuba nga baali kibiina kya ddiini. Bateekwa okuba nga baali bavudde mu Pulogulaamu ya Katonda. Tebaakwatibwa nsonyi ERA NAFFE TETUKWATIBBWA NSONYI.

Mu ddakiika ntonotono ng’oyogera n’abantu, bajja kukutegeerezaawo mbagirawo wa we bayimiridde: Yee, tunyiga Zannya. Yee, tuwuliriza entambi ku Ssande mu kkanisa yaffe oba mu maka gaffe. Yee, olutambi lwe lumu, mu kiseera kye kimu.

Lwaki abalala bagamba nti, “Tugenda mu kkanisa ku Ssande ku makya, Ssande ekiro, ne ku Lwokusatu ekiro. Tulina omusumba ow’ekitalo bw’atyo; akitegeeza bulungi nnyo era mu ngeri etegeerekeka ennyo gye tuyinza okutegeera. Annyonnyola Obubaka nsobole Okubutegeera. Olina okuba n’obuweereza okubeera Omugole. Ow’oluganda Branham teyagambangako kuzannya ntambi mu kkanisa.”

Olwo kiki ky’ogamba nti kye kisinga obukulu? Ababuulizi kye boogera, Ow’oluganda Joseph ky’ayogera, oba Eddoboozi lya Katonda lyennyini kye ligamba ku Lutambi? Abusoluuti wo y’Ani? Ekiri ku Lutambi, oba omuntu omulala ky’ayogera?

Obuweereza bwa kitalo, era buli mu Kigambo. Tubwetaaga. Naye EKISINGA OBUKULU kye kiki, okubuulira oba Entambi?

Bwe kiba nti Entambi si kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu bwo ng’omuntu, mu bulamu bwo obw’ekkanisa, olwo waliwo ekikyamu. Ovudde mu Pulogulaamu ya Katonda ey’Okwagala kwe Okutuukiridde. KOMAWO MU LAYINI.

Omuntu bw’asisinkana Katonda; si mu nneewulira ey’omubiri emu enkolerere, okucamuukirira okumu, oba enjigiriza emu ey’eby’enzikiriza, katekisimu oba ekikwate ekimu, oba ekiyiiye ky’akkirizza olwa- olw’okwebudaabuda, naye bw’atuukira ddala mu kifo nga Musa bwe yakola, emabega w’eddungu, n’atambula okwolekeganya obwenyi ne Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, era n’olaba Eddoboozi eryo nga lyogera naawe, nga likwataganira ddala n’Ekigambo n’ekisuubizo ky’ekiseera, waliwo kye Likukola! Olaba, oba tokyalikwatibwa nsonyi, Lirina kye Likukola.

Mu lunaku lwaffe, olutimbe olwo olw’ennono luyuziddwamu wabiri. Yiino Empagi y’Omuliro Eyimiridde wano, ng’Eyoleka Ekigambo eky’olunaku luno. Obulamba bwa Katonda nga bubikkiddwa mu mubiri gw’omuntu. Ekitiibwa kya Katonda ekirabikako eky’olunaku lwaffe olwaleero. Katonda ng’Ayimiridde era ng’Ayogera mu maaso gaffe, ng’Abikkiddwa mu mubiri gw’omuntu.

Musa yalina Ekigambo. Kati jjukira, oluvannyuma lw’Ekigambo okwolesebwa, Musa yali Musa nate. Okiraba? Naye nga Ekigambo ekyo kikyamulimu nga kirinze okukifulumya, yali Katonda; kale, yali takyali Musa n’akatono. Yalina Ekigambo kya Mukama eky’omulembe ogwo.

Nga KRISTO-MAASI ya njawulo ffe ba Lebbeeka gye tunaaberamu ku Ssande eno. Olunaku lwonna, mu budde obw’enjawulo okuyita mu olunaku lwonna. Tujja kuba tuwulira Erieza waffe ng’Ayitayo Omugole we era tujja kuba tuMugamba nti Tetukwatibwa Nsonyi.

Mukama abawe Ssekukkulu ey’enjawulo, ejjudde “OKUBEERAWO KWE.”

Owol. Joseph Branham

Obubaka: 65-0711 Okukwatibwa Ensonyi

Ekyawandiikibwa: Makko Omutukuvu 8:34-38