22-1231 Okumeggana

Obubaka: 62-1231 Okumeggana

BranhamTabernacle.org

Ekisibo Eky’okukyalo Abaagalwa,

Njagala tube n’Okusembera nate mu maka gaffe mu Kiro Ekikeesa Olusooka, Ddeesemba nga 31. Ebiragiro ku ngeri ey’okufunamu Omwenge, n’engeri ey’okufumbamu omugaati gw’okusembera osobola okubisanga mu mikutu gino wammanga. Omukutu gw’olutambi lw’eddoboozi olw’olukuŋŋaaana oluwanulibwa ku mutimbagano gujja kubateerwayo ku kibanja kyaffe. Oba, oyinza okuzannya olutambi lw’eddoboozi mu apu ya Lifeline.

Ku lw’ab’okukyalo e Jeffersonville, muyinza okukima Omwenge gw’Okusembera ku Lw’okutaano, Ddeesemba nga 30, okuva ku ssaawa 7:00 (musanvu) ez’omuttuntu – 10:00 (kkumi) ez’akawungeezi, wansi w’olusiisira lwa VGR.

Tujja kuwuliriza 62-1231 Okumeggana, okuva ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’akawungeezi EST ku Lw’omukaaga (z’essaawa 7 (musanvu) ogw’ekiro e Uganda), Ddeesemba nga 31. Ow’oluganda Branham nga amaze okuleeta Obubaka bw’Ekiro Ekikeesa Olusooka, tujja kuyimirizaamu ku lutambi tube n’eddakiika nga 10 ez’ennyimba ez’okusinza nga bwetwetegekera Ekyeggulo kya Mukama waffe. Tujja kugenda mu maaso n’olutambi awo ow’oluganda Branham w’atandikira olukuŋŋaana lw’Okusembera. Ku lutambi luno, alekayo ekitundu eky’okunaaza ebigere, kyetujja okukola nakyo.

Nga bwetuyingira mu mwaka omuggya mu kuMuweereza, leka tuddemu tuweeyo obulamu bwaffe bupya gy’Ali okuyita mu kusooka okuwulira Ekigambo, olwo ne tulyoka tulya ku Kyeggulo Kye. Nga mukisa gwa muwendo gwetulina nate okufuula amaka gaffe Awatukuvu okwaniriza Kabaka wa Bakabaka okuyingirawo Atweyungeko.

Katonda Abawe omukisa,

Ow’oluganda Joseph