Paasika 2024

Omugole wa Kristo Omwagalwa,

Kalvario alina okujjukirwa buli lunaku. Era tumuwuliddeko bingi nnyo, tumusomyeko bingi nnyo. Ababuulizi bamubuuliddeko, okuva ku ntandikwa y’ebiseera. Abayimbi bamuyimbyeko , okuva edda n’edda. Bannabbi baamuwaako obunnabbi, emyaka enkumi nnya nga tannabaawo. Era bannabbi ab’omu kiseera kino basonga emabega ku lunaku olwo lwe yatuukawo. Lunaku lukulu nnyo! Lwe lumu ku nnaku ezisinga obukulu mu nnaku zonna Katonda ze yali akeesezza ku nsi.

Nga kugenda kuba kukuŋŋaana okuva mu nsi yonna kwa njawulo Omugole kw’agenda kuba nakwo ku wiikendi eno eya Paasika. Tujja kuggalawo enzigi zaffe tusibire ensi wabweru. Tuggalewo ebyuma byaffe byonna tuleme kuwugulibwa, era twogere naye olunaku lwonna buli lunaku. Tujja kusitula amaloboozi gaffe gy’ali mu bumu, mu ndowooza emu n’omutima gumu, okuMutendereza, okuMusinza, okuMubuulira bwe tuMwagala.

Tujja kuwulira Eddoboozi lye nga lyogera eri emitima gyaffe nga bwe tuddamu okuwongayo obulamu bwaffe gy’ali. Tewali kijja kuba kikulu nnyo gye tuli nga twetegekera Okujja kwe okunaatera okubaawo. Omugole yeetegese nga bwe kitabangawo .

Njagala ffenna twegattire wamu mu nteekateeka eno wammanga:

OLUNAKU OLW’OKUNA

Lwali Lwakuna ekiro Mukama waffe Yesu lweYaliirako Ekyeggulo Ekyasembayo n’abayigirizwa be, nga kikolebwa okujjukira embaga ey’Okuyitako eyaliwo nga olugendo lw’okuva kw’abaana ba Isirayiri e Misiri terunnatandika. Nga mukisa gwa maanyi gwe tulina okwogera byonna ne Mukama waffe mu maka gaffe, nga wiikendi yaffe entukuvu tennabaawo, n’okuMusaba Atusonyiwe ebibi byaffe, era Atuwe ffenna bye twetaaga mu lugendo lwaffe.

Kituwe, Mukama waffe. Wonya abalwadde. Budaabuda abakooye. Sanyusa abanyigiriziddwa. Obawe emirembe abakooye, obawe emmere abalumwa enjala, obawe eky’okunywa abalina ennyonta, obawe essanyu abanakuwavu, ekkanisa ogiwe amaanyi. Mukama waffe, leeta Yesu mu masekkati gaffe ekiro kyaleero, nga bwe twetegeka okulya ekijjulo ekikiikirira omubiri Gwe ogwamenyebwa. Tusaba, Mukama waffe, Atukyalire mu ngeri ey’enjawulo…

Abalala bawe omukisa, Mukama waffe, okwetoloola ensi yonna, abalindiridde okujja kwa Mukama waffe n’essanyu, nga ettabaaza zaabwe bazirongoosezza, n’emiwaatwa gyabwe omuyita omukka nga gigiddwamu bulungi omunyale, n’Ekitangaala ky’Enjiri nga kyaka mu bifo eby’ekizikiza .

Ffenna tutandike ku ssaawa 6:00 PM mu budde obw’omu kitundu kyo tuwulire Okussa Ekimu 62-0204, olwo nnabbi atuyingize mu lukuŋŋaana lwaffe olw’enjawulo olw’Okussa Ekimu n’Okunaaza Ebigere, olugenda okuba nga luzannyibwa ku apu ya Layifulayini, ekitali ekyo osobola okuwanulayo olukuŋŋaana luno mu lulimi Olungereza oba mu nnimi endala ng’onyiga ku mukutu guno wammanga.

Ekinaddako oluvannyuma lw’Obubaka, tujja kukuŋŋaana n’ab’enju zaffe mu maka gaffe tulye ekyeggulo kya Mukama waffe.

OLUNAKU OLW’OKUTAANO

Leka tugende mu kusaba n’ab’enju zaffe ku ssaawa 3:00 (ssatu) ez’oku makya , n’oluvannyuma nate ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omu ttuntu, nga tuyita Mukama waffe abeere naffe era Ajjuze amaka gaffe n’Omwoyo Omutukuvu nga bwe twewaayo gy’ali.

Ebirowoozo byaffe leka biddeyo ku lunaku olwo e Kalvario, emyaka egisukka mu 2000 egiyise, tulabe Omulokozi waffe ng’Alengajjera ku musaalaba, olwo tweweeyo mu ngeri y’emu bw’etyo okukolanga bulijjo ebyo ebisanyusa Kitaffe:

Era olunaku luno, nga bweluli olukulu ennyo, olumu ku nnaku ezisinga obukulu, leka tutunuulire ebintu bisatu eby’enjawulo olunaku olwo bye lutegeeza gyetuli. Twandifunyeeyo bikumi na bikumi. Naye, enkya ya leero, nnonzeeyo ebintu bisatu eby’enjawulo, ebikulu nnantalekekayo bye twagala okutunuulira, mu kaseera akatonotono akaddako, Kalvario bye yategeeza gye tuli. Era nsaba nti ekyo kinaanenya buli mwonoonyi aliwo; kinaaleetera buli mutuukirivu okugenda ku maviivi ge; kinaaleetera buli mulwadde okuyimusa okukkiriza kwe eri Katonda, yeetambulire agende, ng’awonyezeddwa; buli mwonoonyi, ng’alokoleddwa; buli yaddirira ng’akomezeddwawo, n’akwatibwa ensonyi obulamu bwe; na buli mutukuvu, nga musanyufu, era afune w’anywerera awaggya n’essuubi eppya.

Olwo ku ssaawa 6:30 (mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu, twegatte wamu mu maka gaffe okuwulira, Olunaku Olwo Ku Kalvario 60-0925

Olwo leka twegattire wamu nate mu kusaba ku ssaawa 9:00 (mwenda) ez’omu kawungeezi nga tujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.

OLUNAKU OL’WAMUKAAGA

Tuddemu ffenna okwegatta mu kusaba ku ssaawa 3:00 (ssatu) ez’oku makya ne 6:00 (mukaaga) ez’omu ttuntu , era tutegeke emitima gyaffe olw’ebikulu by’anaatukolera wakati mu ffe.

Nsobola okuMuwulira ng’agamba nti, “Setaani, jjangu wano!” Ye Nnyinimu kati. N’Agolola omukono, n’akwata ekisumuluzo ekyo eky’okufa ne ggeyeena n’akiggya ku ludda lwa Seetaani, n’akiwanika ku ludda olulwe Mwennyini. N’agamba, “Njagala okukulambika. Obadde ekiguumaaza okumala ebbanga ggwanvu ekimala. Nze Mwana wa Katonda omulamu eyazaalibwa embeerera. Omusaayi gwange gukyatonnya ku musaalaba, era ebbanja lyonna lisasuddwa! Tokyalina ddembe lyonna kati. Oyambuddwa. Mpa ebisumuluzo ebyo!”

Olwo ku ssaawa 6:30 (Mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu, ffenna tujja kukwatagana okuwulira EKIGAMBO: Okuziika 57-0420 .

Nga luno lugenda kuba lunaku lwa ssanyu eritaryerabirwa eri Omugole We okwetoloola ensi yonna.

Olwo ka tuddemu okweyungira mu kusaba ku ssaawa 9:00 (mwenda) ez’omu kawungeezi.

SSANDE

Ka tusooke tuzuukuke nga bukyali nga Ow’oluganda Branham bwe yakola ku makya mukwano gwe omuto, kaamukuukulu, bwe yamuzuukusa ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’oku makya . Ka twebaze Mukama olw’okuzuukiza Yesu mu bafu:

Ku ssaawa kkumi n’emu enkya ya leero, mukwano gwange omutono alina ekifuba ekimyufu yabuuse n’agwa ku ddirisa waggulu n’anzuukusa. Kyalabise ng’omutima gwe omutono ogwagala okwabika, nga gugamba nti, “Azuukidde.”

Ku ssaawa 3:00 (ssatu) ez’oku makya ne ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omu ttuntu, tuddemu okwegatta ku lujegere lwaffe olw’okusaba, nga buli omu asabira munne era nga twetegekera okuwulira Eddoboozi lya Katonda.

Ku ssaawa 6:30 (mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu, tujja kujja wamu okuwulira Obubaka bwaffe obwa Paasika: Envumbo ya Paasika Entuufu 61-0402.

Ku ssaawa 9:00 ez’omu kawungeezi, tuddemu okwegatta mu kusaba, nga tuMwebaza olwa WIIKENDI EY’ENJAWULO GY’ATUWADDE OKUBEERA NAYE ERA WAMU N’OMUGOLE WE OKWETOOLOLA ENSI.

Eri baganda bange ne bannyinaze emitala w’amayanja, ng’omwaka oguwedde, njagala okubayita okwegatta naffe mu budde bw’e Jeffersonville olw’ebiseera byonna eby’okusaba ebiri ku nteekateeka eno. Kyokka nkitegeera nti okuzannya Entambi ku Lwokuna, Lwakutaano, n’Olwomukaaga akawungeezi mu budde bw’e Jeffersonville kyandibeera ekizibu nnyo eri abasinga obungi ku mmwe, kale nsaba muwulire nga muli ba baddembe okuzannya Obubaka obwo mu kiseera ekibanguyira. Kyokka nandyagadde ffenna twegatte wamu ku Ssande ku ssaawa 6:30 (mukaaga kitundu)ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville, okuwulira Obubaka bwaffe obwa Ssande nga tuli wamu.

Nnandyagadde n’okubayita wamu n’abaana bammwe okubeera ekitundu ku pulojekiti za Creations, okuwandiika mu journal, n’ebibuuzo bya YF, amaka go gonna bye gasobola okunyumirwa awamu. Tulowooza nti mujja kubyagala anti byonna byesigamiziddwa ku KIGAMBO kye tugenda okuwulira wiikendi eno.

Olw’enteekateeka ya wiikendi, amawulire agakwata ku kutegeka olukuŋŋaana lw’Okussa Ekimu, ebikozesebwa ebineetaagibwa mu pulojekiti za Creations, Ebibuuzo bya Paasika, n’amawulire amalala, laba emikutu gino wammanga.

Ka tujjeko amasimu gaffe ku wiikendi ya Paasika okuggyako okukuba ebifaananyi, okuwulira Okunokola Kw’Olunaku, n’okuzannya entambi okuva ku apu ya Table, apu ya Lifeline, oba omukutu oguwanulibwa okuva ku mutimbagano.

Kiba kitiibwa nnyo gyendi okukuyita ggwe n’ab’omu maka go okujja awamu n’Omugole okwetoloola ensi yonna ku wiikendi ejjudde OKUSINZA, OKUTENDEREZA N’OKUWONYEZEBWA. Nzikiriza nti ddala wiikendi egenda kukyusa obulamu bwo emirembe gyonna.

Ow’oluganda Joseph Branham


Olw’okuna ku ssawa 12 : 00 (kkumi na bbiri) ez’omu kawungeezi  mu budde bw’oku kyalo kyo.

62-0204 Okussa Ekimu. Olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’Okussa Ekimu n’Okunaaza Ebigere.


Olw’okutaano ku ssaawa 6 : 30 (mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu mu budde bw’oku kyalo kyo.

60-0925 Olunaku Olwo Ku Kalvario


Olw’omukaaga ku ssaawa 6 : 30 (mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu mu budde bw’oku kyalo kyo.

57-0420 Okuziika


Ssande ku ssaawa 6 : 30 (mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu mu budde bw’eJeffersonville. Weekkaanye essaawa ku

61-0402 Envumbo ya Paasika Entuufu