26-0524 Kiki Ekisikiriza Ku Lusozi?

Obubaka: 65-0725E Kiki Ekisikiriza Ku Lusozi?

BranhamTabernacle.org

Empungu Ezikuŋŋaana Abaagalwa,

Kiki kino ekisikiriza eky’amaanyi ekigenda mu maaso okwetoloola ensi yonna? Abantu okuva mu nsi yonna bakuŋŋaana ku ssaawa 6 ez’emisana mu budde bw’a Jeffersonville, nga batudde mu maka gaabwe ne mu makanisa gaabwe nga balindiridde nnyo n’okwesunga okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera nabo.

Kirabika nga kya njawulo nnyo era tekitegeerekeka eri ensi okuwulira entambi zokka. Bagamba nti tusobola okuwulira entambi ekiseera kyonna. Tebalaba mugaso gw’okuwulira wamu mu kiseera kye kimu. Bagamba nti olina okuwulira buweereza obuliwo obw’olabakko, omubuuliz, so si entambi zokka. Basigadde mu nnono zaabwe.

Tewabangawo kintu ng’ekyo mu byafaayo by’ensi yonna. Kiki ekisikiriza abantu bano okwegatta bonna mu kiseera kye kimu okuwulira Eddoboozi eryo nga liyita Omugole We? Katonda atuukiriza Lukka 17:30. Katonda atuukiriza Okubikkulirwa 10:7. Katonda alabisa Abaebbulaniya 13:8, Melukizeddeeki mu mubiri gw’omuntu, nga bwe Yakola eri Ibulayimu.

Balindiridde era nga bewuunnya nti, “Anaayogera ki?” “Kiki ekinaabaawo bw’atandika okwogera?” Baagala okubeera ku buyungiro bwe simu eyo okusobola okuwulira buli kimu ky’anaayogera. Baagala Ekyo. Baagala okukiwulira bonna mu kiseera kye kimu n’Omugole okwetoloola ensi yonna. Kubanga bakkiriza nti ye lye ddoboozi Katonda lye yalonda okubeera Eddoboozi Lye okuyita n’okukulembera Omugole We.

Wadde nga bawuukana nnyo mu biseera, naye bonna bali wamu ng’EKITOLE KIMU, nga batadeko, nga bawuliriza Eddoboozi eryo nga lyogera nabo okuva mu Kkanisa yaabwe ey’Ewaka. Batudde mu Kubeerawo kw’Omwana, nga bakula era balindiridde Okujja kwa Masiya.

Emitima gyabwe gikuba nnyo. Omwoyo Omutukuvu aba bikkulira ekigenda mu maaso. Katonda alindiridde okutuusa olunaku luno okulabisa Ekigambo Kye n’okukuŋŋaanya Omugole We. Kiri mu baawo kati, era nabo bali kitundu ku Kyo. Obutuufu bw’ekigenda mu maaso butandise okubayingira mu mitima gyabwe. Bakisomye mu Byawandiikibwa okumala ebyasa bingi, naye kati kyafuuse kyabuliwo. Okubikkulirwa kw’Ekigambo kulabisibwa okuyita mu bo. Obunnabbi bwa nnabbi butuukirizibwa.

Nga batudde wansi w’okufukibwako okwo okw’amaanyi okw’Eddoboozi Lye ery’amaanyi, Ababulira okweetegeka; kubanga ekiro kino Agenda kubasabira buli omu ku bo. Atugamba nti bw’anaatandika okusaba, muteeke emikono ku balwadde, kubanga okubeerawo kwa Katonda kuli wonna gye bali, awatali kufaayo oba bali Texas, California, Arizona, South America, oba ne mu busisira obyw’omu nsiko ku luuyi olulala olw’ensi. Wonna gye bayungidwa nga bawuliriza, muteeke emikono ku bannaabwe nga tutandise okusaba era Katonda anaawonya buli omu ku bo bwe banaakkiriza, kubanga kiri BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA.

Kati bategeera nti mu buli mulembe na buli nnabbi eyaliwo oba agenda okubawo, wajja kubeerawo omuwendo gw’abantu abaategekebwa edda okuwulira Obubaka obwo, era banaabugoberera. Tebajja kufaayo ku bungi bw’abantu. Tebajja kufaayo ku kukolokota kw’abatakkiriza abagamba nti kikyamu oba si kkubo Katonda ly’ataddewo. Tebalina mpaka nabo. Balina ekintu kimu kye BATEEKEDDWA okukola, kwe kukkiriza n’okufuna buli katundu kaabwo ke basobola okufuna, ne babunnyikiza mu bo nga Malyamu eyatuula ku Bigere bya Yesu. Tebakwatibwa nsonyi; basanyufu nnyo okugamba nti bo ba “tape boy” oba “tape girl” abanyiga zzannya.

Eddoboozi eryo lyabakuutira dda nti wajja kubaawo abafukibwako amafuta mu nnaku ez’enkomerero abaliba n’okufukibwako okw’amaanyi, Omwoyo Omutukuvu. Banaajuliza nnabbi n’Obubaka bw’essaawa eno; nga beeyita abakkiriza, naye nga bafukibwako amafuta ab’obulimba.

Banaaba befananyiriza nnyo n’okufukibwako okw’amazima okutuusa n’okulimba Abalonde singa kyali kisoboka, naye bamanyi nti tebasobola kulimbibwa, kubanga BO YE KIGAMBO. Bo ye Mugole ow’amazima eyasigala n’Eddoboozi lya Katonda.

Eddoboozi eryo lyabagamba nti mu lunaku luno tekijja kuba niimu oba muzabibu. Ekyo kyandibadde kyangu okwawula. Naye kijja kuba ssecungwa, ekitundu niimu n’ekitundu mucungwa, ekika ekitabuddwa. Kijja kufaananira ddala nga omucungwa, naye tekijja kuba kyo, kubanga ettabi eryo eppya lijja kuba 100% ng’eryasooka. Banjja kusigala n’Eddoboozi eryo nnakabala ely’Ekigambo. Tebajja kugezaako mukisa mulala . Bajja kusigala n’Oyo omu Katonda Yennyini gwe yalangirira okuba EDDOBOOZI LYE, EKIGAMBO KYE, ekyakakasibwa Empagi ey’Omuliro.

Kiki ekigenda mu maaso?

Ensigo ya Katonda eyategekebwa edda tesobola kukola kirala kyonna okuggyako okugoberera n’okuwuliriza Eddoboozi eryo, kubanga Lisinga obulamu gye bali. Osobola okutwala obulamu bwabwe, naye tosobola kutwala Eddoboozi eryo.

Kiki ekisikiriza?

Katonda, nga bulijjo, atuukiriza Ekigambo Kye.

Jjangu wegatte naffe obe kitundu ku bunnabbi bwa nnabbi obutuukirizibwa ku Ssande eno ku ssaawa 6 ez’emisana mu budde bw’a Jeffersonville, nga tuwulira Ebyawandiikibwa nga birabisibwa.

Obubaka:
65-0725E “Kiki ekisikirize ku Lusozi?”

Ebyawandiikibwa:
Matayo Omutukuvu 21:1-4
Zekkaliya 9:9 / 14:4-9
Isaaya 29:6
Okubikkulirwa 16:9
Malaki 3:1 / Essuula ey’Okuna
Yokaana Omutukuvu 14:12 / 15:1-8
Lukka Omutukuvu 17:22-30