Obubaka: 65-0801M Katonda W’Omulembe Guno Omubi
- 26-0531 Katonda W’Omulembe Guno Omubi
- 24-0818 Katonda W’Omulembe Guno Omubi
- 23-0129 Katonda W’Omulembe Guno Omubi
- 21-1003 Katonda W’omulembe Guno Omubi
- 20-0216 Katonda W’Omulembe Guno Omubi
Embeerera entono eya Kristo, Ekigambo Ekisibo, Omugole, omwagalwa:
Emitima gyaffe gyajaguza nnyo bwe twawulira Malayika We ow’amaanyi ng’alangirira nti tuli Nsigo ya Katonda eyategekebwa edda etasobola kukola kirala kyonna okuggyako okugoberera Eddoboozi Lye. Kino gye tuli kisinga obulamu bwennyini. Basobola okutwala obulamu bwaffe, naye tebasobola kutwala Ddoboozi Lye. Tuli Omu n’Ekigambo Kye. Tuli Omu n’Eddoboozi Lye. Tuli Omu Naye.
Kirabika kyewuunyisa nnyo gye tuli nti tetutegeerwa bulungi era tusekerebwa kubanga twogera nti tukkiriza okuzannya entambi; nti eryo lye Ddoboozi lya Katonda eryogera n’Omugole We. Sitaani alimbye nnyo abantu okutuusa lwe balowooza nti olw’okulangirira nti tuli kkanisa ey’entambi, kiba kintu ekiri ebweru w’Ekigambo, ekikyamu, era nti tukulembedwa bubi, ate nga mu butuufu elyo lye kkubo lya Katonda erituukiridde ryawadde Omugole We.
Kiyinza kitya okuba mu ngeri endala? Bw’ovvuunula obubi Ekigambo kimu ekyayogerwa, obuze. Bayinza okuba n’ekigendererwa ekituufu n’omulamwa omutuufu, naye nga bakyamu. Omuntu ayinza okuba ng’afukiddwako Omwoyo Omutukuvu naye nga akyali mukyamu.
Singa Katonda teyawa Omugole We ekkubo mw’asobolera okuwulira buli Kigambo nga ye, olwo waandibaddewo engeri endala. Naye Yateekawo ekkubo buli muntu ku nsi okufuna omukisa okuwulira Ekigambo kyogera gy’ali butereevu nga tekyetaagisa kuvvuunulwa, kunnyonnyolwa, oba kutereezebwa. Byonna biri BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA…KISEERA!
Ffenna tukkiriza nti tulina okusigala n’Ekigambo okusobola okuba Omugole We.
Nzikiriza nti buli kintu kye twetaaga kiwandiikiddwa wano, kyetaagisa bwetaagisa kuvvuunulwa Omwoyo Omutukuvu. Ssikkiriza nti waliwo omuntu yenna ku nsi alina olukusa okuteeka okuvvuunula kwe ku Kigambo. Katonda teyeetaaga muntu yenna kuvvuunula Kigambo Kye. Ye yeyevvuunulira. Yagamba nti Ajja kukikola, era Akikola.
Mu bulaabbulukuffu, Mukama ayogedde era n’abikkulira Omugole We nti tewali kkubo ddala lyonna ery’okuba Omugole We omulonde okuggyako okusigala n’Ekigambo Kye. Katonda yennyini avvuunula Ekigambo Kye, era tewali muntu alina ddembe kwongerako kuvvuunula kwe ku Kyo.
Ekigambo era kigamba nti Nnabbi We ye muvvuunuzi w’Ekigambo Kye. Ye lye Ddoboozi lya Katonda eri abantu. Ky’ayogera kye Kigambo eky’omulembe gwaffe.
Nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ku ntambi, ffe bunnabbi Obutuukiriziddwa.Tewali kintu kya maanyi nnyo, kya butukuvu nnyo, kituukiriza nnyo, kituukirifdde nnyo ng’okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa nga lyogera naawe.
Abalala bayinza okwogera nti tewali kintu kyonna mu kino, empungu zikuŋŋaana ne zisanyuka ne ssanyu eringi nnyo, nga zirina obukakafu nti zikuuma Kigambo kya Katonda. Yatugamba nti bw’oba n’ekyuma ekikwaata entambi, kuŋŋaanya kuŋŋaanya ekibiina ky’abantu, ozannya olutambi, era owulirize bulungi. Olw’ekisa Kye n’okusaasira Kwe, ekyo ddala kye tukola.
Katonda yatuyita okuva mu mulembe guno omubi olw’Erinnya Lye. Tuyita mu kugezesebwa n’ebikemo bingi nnyo nga tebibangawo. Sitaani ali ku lutalo kubanga amanyi nti obudde bwe buli kumpi okuggwaako. Oyinza okwebuuza nti, nnyinza ntya okuyita mu bintu bino byonna ate nga ndi Mugole We?
Oli mu kulabisibwa, okugezesebwa, era ng’okakasa eri Sitaani nti, FFE TULI MUGOLE WE. Ffe tuli Kigambo mu mubiri. Tusobola okwogera Ekigambo era ne kituukirira. KIRI BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA.
Tulina Eddoboozi lya Katonda nga lyogera butereevu eri Sitaani nga limugamba nti:
“Sitaani, owanguddwa. Oli mulimba. Era ng’omuweereza wa Katonda, era ng’abaweereza, tukulagira mu Linnya lya Yesu Kristo, nti ogondere Ekigambo kya Katonda, era ove mu bantu, kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Mu Linnya Lyange baligoba emizimu.’”
Buli kye twetaaga…BULI kye twetaaga, twetaaga bwetaazi kusaba, okukkiriza era n’okusigala wo. Kiyinza okulabisibwa amangu ago; kiyinza okutwala wiiki, omwezi, oba omwaka. Tetufaayo kye tulaba oba kye tuwulira, KYAKOLEBWA MU KISEERA EKYO KYENNYINI.
Buli lukuŋŋaana lwe tukuŋŋaanamu lweyongera obukulu n’obulungi eri Empungu za Katonda. Tukuŋŋaanye mu ndowoozo emu ne mu mwoyo gumu, nga tutudde awamu mu bifo eby’omu Ggulu, nga tuwuliriza Eddoboozi nga lyogera naffe era nga litutuukiriza n’Ekigambo Kye.
Twandyagadde nnyo mwegatte naffe ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 ez’emisana, mu budde bwa , Jeffersonville nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe nate era nga lituleetera okuvvuunula kw’Ekigambo Kye Yennyini.
Ow’oluganda Joseph Branham
Obubaka: 65-0801M Katonda W’omulembe guno omubi
Ebyawandiikibwa byolina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Matayo essuula ey’oku 24 / 27:15-23
Lukka 17:30
Yokaana 1:1 / 14:12
Ebikolwa 10:47-48
1 Abakkolinso 4:1-5 / essuula ey’oku 14
2 Abakkolinso 4:1-6
Abaggalatiya 1:1-4
Abaefeso 2:1-2 / 4:30
2 Abassessalonika 2:2-4 / 2:11
Abaebbulaniya essuula ey’oku 7
1 Yokaana essuula 1 / 3:10 / 4:4-5
Okubikkulirwa 3:14 / 13:4 / essuula 6-8 ne 11-12 / 18:1-5
Engero 3:5
Isaaya 14:12-14