21-1003 Katonda W’omulembe Guno Omubi

Obubaka: 65-0801m

PDF

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Omugole akoleezebbwa okubikkulirwa abaagalwa,

Kiki ekibadde kigenda mu maaso wonna mu nsi wiikendi eno eyise? Kiki ekibaddewo ? Enduulu ezo ezawaggulu zibadde zaaki? Omugole okuva wonna mu nsi yabadde yeegasse wamu, ng’akola ensozi okuva mu pulaasita, ebbumba, omusenyu n’obuti, ng’akuŋŋaanira ku byoto by’omuliro, ng’ayimba ennyimba z’okusinza n’okutendereza Mukama.

Abakulu n’abato nga bafaanagana, bambadde amasaati agawaandikiddwako nti “Okukoleera olw’okubikkulirwa”. Baavudde e Michigan okutuuka e Florida, e Maine n’e California, okuva mu Amerika y’omumambuka okutuuka mu Amerika yomumaserengeta, Bulaaya, Afirika, Asiya, Awusutulariya, buli kasonda konna ak’ensi. Babadde bawuliriza nga bakozesa emikutu gyebateze eyo mu maka gaabwe, nga bawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera butereevu eri bo.

Ekisikiriza kyabadde kiki? Ensigo ya Katonda eyayawulibwa edda etasobola kukola kintu kyonna ekirala okujjako okugoberera Obubaka Bwekiseera, ekkiriza buli Kigambo ekyayogerwa akamwa ka Katonda, yabadde ekuŋŋaanye wamu mukutendereza, n’okusinza, n’okujaguza kw’ekintu eky’ekitalo ekyabaawo mu lunaku lwaffe lu lusozi Sunset.

Yabadde Katonda ng’akakasa Ekigambo Kye. Ekyo Oluyoogaano lwonna kwelwabadde luva. Weetegereze, Ye Katonda ng’atuukiriza Ekigambo Kye Ekisuubize nate, ekya Kubikkulirwa 10 : 1 – 7, “… naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba ng’agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira…” Yabadde Katonda nga akola ebyafaayo, yabadde Katonda nga atuukiriza obunnabbi. Ky’ekyabadde eky’okuddamu ky’obunnabbi bwa nnabbi, era twayadde okubeerayo era tufune era tuwulire ekintu kyonna kyeyali akoledde okuyita mu nnabbi We.

Twagaanye okulabawo okulamula kw’okwekenneenya ensobi ebiva mu batakkiriza n’abeefuula abakkiriza. Tetulina nkaayana yonna nabo. Tulina ekintu kimu koykka eky’okukola, ekyo kwekukkiriza n’okufuna buli katundu kukyo ketusobola okufuna.Tukuŋŋaanira wamu buli sabbiiti ng’ekibiina ekiri awamu okuwulira eddoboozi lya Katonda, nga bwetulindirira okujja kwa Masiya. Nga ssaawa yakitalo gye tulimu, okulaba Ebyawandiikibwa nga bituukirizibwa mu bulamu bwaffe bwennyini.

Naye yatulabula mu Kigambo Kye nti okufukibwako amafuta okw’obulimba kujja kubeera kumpi nnyo, kujja kukyamy a abalonde ba Katonda bennyini oba nga kiyinzika. Naye ettendo liddire Mukama tekijja kusoboka kukyamya Mugole We, kubanga bajja kusigala n’Eddoobozi lya Katonda eryo erikakasibbwa, erirabisibbwa, eryoresebbwa, nnakabala, era tekijja kukyusa yadde ennukuta emu newakudde oba akatonnyeze akamu. Tebajja kwongerako kuvvuunula kwabwe kukyo naye mungeri ennyangungu bajja kukkiriza bukkiriza BULI KIGAMBO. Nga tulina kubeera beegendereza nnyo bwekiba nga kiteekwa kuba nga KISEMBEREGANYE NNYO BWEKITYO. Twewunya, kinaabeera makanisa g’amadiini? Balabika nga abali ewala ennyo era nga tebali nakumpi wadde nakatono. Kinaabeera ani? Ow’oluganda Branham yagamba,

“Kaakati, amakanisa ag’ekibuguumirize, ag’enneeyisa y’ekikungu, amannyogovu obunnyogovu, n’ebiringa ebyo, aga siyologiya w’abantu, ago tegandibadde; Omugole tali gassaako mwoyo wadde n’akatono. Naye gali eyo waggulu ddala nga kiri ekyannamaddala. Kulekayo bulesi Kigambo kimu kyokka ekyo kyokka ky’olina okukola. Yagamba, “Kaawa teyafuluma bufulumi mubwangungu n’ayogera ng’akitegeeza nti takkiriza Katonda. Yakkiriza ensobi, ky’ekyo kyeyakola. Setaani yakkiriza nti kyali Kigambo kya Katonda. Naye obuzibu bwali nti yateeka okuvvuunula kwe nga ye kukyo, era n’amuleetera okukkiriza obulimba, era n’agwa buzibu kulw’ekyo.”

Ekibikkako kijjiddwako. Piramiidi ebikuddwa. Ebyawandiikibwa bijibbwako ekibikkako. Okubikkulirwa kuweereddwa eri Omugole. Ye Yesu Kristo, aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Ekyo kireetera Setaani okubeera omunyiivu ennyo gyetuli. Akimanyi nti alina okutuuka ku nkomerero ye. Ayagala ffe okuba nga tulina akabuuza ku kiki kyetuli. Tuyita mubigezo, n’okugezesebwa, ebikalubo okusinga kubyetwali tuyiseemu. Oluusi twewuunya, Lwaki bino byonna biri mukututuukako? Ow’oluganda Branham agamba,

“Ensonga eri nti, Kumugezesa, Omugole We. Kumu… Bw’ayolesebwa, ng’agezesebbwa, n’akakasibwa, okukakasibwa eri Setaani.”

Kitiibwa! Ebigezo byaffe n’okugezesebwa ye Ye nga akakasa eri Setaani nti tuli Mugole We Ayolesebbwa.

Ow’oluganda Branham agamba, “Tukizuula kati, omulembe guno omubi gwakukakasa, eri Setaani, Omukyala tali nga Kaawa, nti ssi mukazi wa kika ng’ekyo. Era ajja kugezesebwa Ekigambo Kye, Omugole, ng’omugole wa Adamu bweyagezesebwa Ekigambo. Era omugole wa Adamu yakkiriza buli katundu konna ak’Ekigambo, kyonna, naye n’abuzabuuzibwa ku kisuubizo kimu.”

Ow’oluganda Yusufu agenda mumaaso,
Naye tetujja kubuzabuuzibwa ku Kigambo yadde ekimu, newankubadde okugoberera obulombolombo bwabwe, enzivuunula zaabwe ez’Ekigambo. Tujja kusigala N’EKIGAMBO NNAKABALA.

Bwetuba n’ekyuma ekizannya entambi, tujja kukuŋŋaanya ekibiina ky’abantu era tuluzannye, era tuwuliririze kumpi, nga ddala bweyatugamba okukola.

Ow’oluganda Branham agamba
“Ddala ng’obulamu bwo n’ebikula byo ggwe ng’omuntu bwe byongezebwayo okuyita mu kitaawo okuzaala ng’obutonde bwebuli, bwegutyo bweguli Omwoyo Gwa Katonda, ogwayawulibwa edda ng’ensi tennatondebwa.”

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Nga tweyanzege nnyo, nti Omwoyo Gwa Katonda, ezzadde lyaffe, lyayawulibwa ng’ensi tennatondebwa okubeera n’okubikkulirwa okwannamaddala okw’obubaka buno.

Oyanirizibwa okujja ofune OKUKOLEERA OLW’OKUBIKKULIRWA okwo kwekumu wamu naffe Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira 65-0801M “Katonda W’omulembe Guno Omubi.”

Ow’oluganda Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma,

Omut Matayo 24 yonna
Omut Matayo 27 : 15 – 23
Omut Lukka 17: 30
Omut Yokaana 1 : 1
Omut Yokaana 14 : 12
Ebikolwa by’Abatume 10 : 49
1 Abakkolinso 4 : 1 – 5
1 Abakkolinso 14 yonna
2 Abakkolinso 4 : 1 – 6
Abaggalatiya 1 : 1 – 4
Abaefeso 2 : 1 ne 2
Abaefeso 4 : 30
2 Abassesalonika 2 : 2 – 4
2 Abassesalonika 2 : 11
Abaebbulaniya 7 yonna
1 Yokaana 1, 3 : 10
1 Yokaana 4 : 4 – 5
Okubikkulirwa 3 : 14
Okubikkulirwa 13 : 4
Okubikkulirwa essuula 6 – 8, 11 – 12, 18 : 1 – 5
Engero 3 : 5
Isaaya 14 : 12 – 14