21-1010 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

Obubaka: 65-0801e Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Embeerera ya Kristo entonotono, Ekigambo, Ekisibo, Omugole,
Ffe tuli Mugole Kigambo We, nga tulindirira Omugole Kigambo omusajja, n’akaseera kaffe ak’okuwujjaala oluvannyuma lw’embaga (oba hanemmuunu) ak’emyaka olukumi.

Tuwuliriza Eddoboozi limu lyokka.”Endiga zange zimanyi Eddoboozi lyange. Omugwiira tezijja kumugoberera.” Eddoboozi Lye kyekiki? Kaakati ngenda kunokola,

“Eddoboozi ly’omuntu yenna ky’ekigambo kye. Era Kyekino, Baibuli, ekigambo kimu teekigattibwa ku Yo newankubadde okuggibwa ku Yo. Sigala busigazi ddala n’Eddoboozi eryo. “Omulala tezirimugoberera, ” ekibiina ky’eddiini”.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Eddoboozi eryo ly’Eddoboozi Lye nga Lyogerera ku ntambi okuyita mu mutaputa w’omwoyo yekka ow’Ekigambo Kye, nnabbi We William Marrion Branham. Ye Yesu Kristo ng’ayogera okuyita mu mimwa gy’omuntu. Tetufaayo ku bigambo by’omuntu, ebirowoozo by’omuntu, oba okuvvuunula kw’omuntu. Kyetufaako kyokka ly’Eddoboozi eryakakasibwa ery’olunaku lwaffe. Liri “BWATYO BWAYOGERA MUKAMA.” Katonda yatambuzanga emikono gya nnabbi waffe, Katonda yatambuzanga amaaso ge mu kwolesebwa Kwe. Teyayogeranga kintu, okujjako ekyo kyeyali atunuulira. Mpaawo kyeyali ayinza okugamba, kubanga Katonda yali yeddizza ddala olulimi lwe, olugalo lwe, ebitundu bye eby’omubiri byali byewuubira bulambalamba bulungi ne Katonda. Tekyewunyisa, Baibuli egamba nti bannabbi be baali bakatonda. Baali kitundu ku Katonda.

Yali Kigambo Kya Katonda nga kituukirizibwa ku lw’olunaku lwaffe. Baibuli eno eranga, ng’eyita mu bunnabbi, olunaku n’ekiseera kyetulimu. Byakubaawo nabaki ebiribaawo? Ekirangirira okutuukira ddala ku kanukuta era tesubwangako yadde omulembe.

Abo abaayawulibwa edda okukiraba bajja kukiraba. Kigambo nga kiri kwegatta n’Ekigambo. Mu buli mulembe, abantu baaleka abantu okuteeka okuvvuunula kwabwe ku Kigambo, era kibareetera okubeera abazibe eri ekyokubaawo ekiri okuyita.

Kintu kyekimu kyekyakola ku bafalisaayo n’abasaddukaayo. Baagamba abantu, “Tufukibbwako amafuta, Katonda yagatufuseeko. Mutwetaaga okubagamba Ekigambo kyekigamba. Mutwetaaga okukibavvuunulira. Nga bwekyali mu lunaku olwo, bwekityo bwekiri ne leero. Ekitundu ekileetera omuntu okukkiriza obulimba kiri nti bafukiddwako Omwoyo Omutukuvu. Ddala balina okuyitibwa okuva eri Katonda okuweereza Ekigambo, baakugamba abantu kiki nnabbi kyeyagamba naye bangi ku bo BATEEKA OKUVVUUNULA OKWABWE KUKYO okuyita mu kuyitiriza obuweereza bwabwe nebabusukkulumya okusinga ne ku DDOBOOZI LYA KATONDA lyennyini.

Weetegereze, engeri gyebaagala okugezaako okukuŋŋaanyiza abantu okwetooloola obuweereza bwabwe, okwetooloola okuvvuunula kwabwe okw’ekyo nnabbi wa Katonda kyeyagamba. Naye kyo tebayinza buyinza kukikola. Beekweka emabega, NEBATIISA abantu okulaga nti obutazannya ntambi mu makanisa gaabwe ssi kibi, nga bayita mu kugamba nti “Abantu abo basukkulumya nnyo omusajja era bali kumusinza era tebali kusinza Yesu Kristo. Kibiina kya ddiini okuwulira Obubaka ffenna mu kaseera keekamu okuva mu kifo kyekimu. Ow’oluganda Branham teyayogerako nti muzannye Entambi mu kkanisa. Okwo kwebalama nsonga yennyini tebaagala bwagazi kuzannya ntambi mu makanisa gaabwe, kyangu bwe kityo.”

Obuweereza bwabwe, enteegera yaabwe, okuyitibwa kwabwe kwamugaso okusinga okuwuliriza Entambi mu kkanisa. Tebalina buvumu buvaayo kugamba “nedda”, naye ebikolwa byabwe bibogerera. Omuweereza yenna owannamaddala owamazima, agamba nti akkiriza nti Buno bwebubaka obulamba obutuufu, Eddoboozi lya Katonda mu lunaku lwaffe, tasobola kufuna kasongasonga konna akamugaaana okuzannya entambi mu kkanisa ye.

Mukebere Olunyiriri olwo nga mukozesa Ekigambo, Omugole. Ssigambangako, “Buli omu alina okuwuliriza ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville ekitali ekyo toli Mugole.” SSIKIKOLANGA. Sisinzaangako muntu. Yesu Kristo y’afuna ekitiibwa kyonna. Nsinza Katonda mu musajja, NG’EKIGAMBO BWEKYATUGAMBA OKUKOLANGA.

Nga balimba era bazibwa nnyo nnyini ! Soma busomi byawandiikibwa muganda wange. Kiri awo wennyini. Setaani amanyi nti omuweereza yenna oba ekibiina ky’abaweereza TEBALISOBOLA kugatta mugole. N’okukwatagana tebakwatagana, era ddala ng’Abamesodisiti, Ababaputisiti, Abapuleesibeta, n’Abapentekoote. Omu kubo oba omugatte gwa bonna bayinza batya okugatta Omugole ? Tebayinza buyinza. EKINTU KYOKKA, ekiyinza okugatta Omugole, LY’EDDOBOOZI LYA KATONDA ku ntambi, era Liri kukikola.

Omulabe akikyawa, kale ali kugezaako okukizikiriza naye tekijja kuyinzika okukola ekyo. KITIIBWA !

Ow’oluganda Branham yagamba,
“Nga bwekibaddenga, bo bulijjo, ku nkomerero y’omulembe, bazze mu katogo akalinga ekiki olwa bannassiyologiya ne bakabona baabwe okutuusa nga bulikiseera kabeera kavuyo. Bulijjo okuvvuunula kwabwe kubeera kukyamu, tekiremangako yadde omulundi ogumu okubeera ekikyamu. Era Ekigambo Kya Katonda tekiremangako yadde omulundi ogumu okubeera ekituufu. Eyo y’enjawulo.”

Waliwo engeri emu ennyangungu okubeeramu omukakafu, Sigala n’Ekigambo, Eddoboozi lya Katonda ku Ntambi. Soma Baibuli yo, Ejja kukugamba byakubaawo ki eby’okubaawo mu lunaku luno. Ejja kukugamba ku malayika We owamaanyi ow’okujja mu lunaku luno. Ejja kukugamba okusigala n’Eddoboozi eryo, okusigala n’omubaka We omulonde.

Setaani bw’aba ng’akyawa Ekitabo kyonna Ekya Baibuli, ky’ekitabo ky’okubikkulirwa. Kyawandiikibwa Kristo Mwene. Olwo nno okusinziira ku Mwoyo oyo, Kristo Mwene ateekwa okuba ng’ataddemu kingi nnyo bwekiba nga kino kiri ku mubaka w’omusanvu. Era ow’oluganda Branham agamba, nnokola,

“Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye.”

Kristo Mwene agamba ensi yonna yamulisibwa ekitiibwa kye. Teyagamba nti ensi yonna yamulisibwa ekitiibwa kyange. Kati okusinziira ku kuteegera kwo oli mu kulumiriza Kristo Mwene olw’okusimba ennyo essira ku malayika We ow’omusanvu.

Malayika oyo owokunsi yali kumpi nnyo ne Kristo Mwene. Yokaana yagezaako okumusinza emirundi ebiri. Naye yagamba, “Nedda, sinza Katonda.” Ekyo kyennyini kyetukola, kusinza Katonda. Tetusukkulumya muntu, tugamba bugambi Kristo , Kigambo, kyeyayogera.

Ensi yamulisibwa ekitiibwa kye. Ekyo kituwa okukoleera olw’okubikkulirwa. Ow’oluganda Branham agamba,

“Katonda Akola okulonda kwe Ye kennyini, okuyita mu kwawula edda, yalonda bannabbi kulwa buli mulembe. Kyetegeereze. Akola enneeyisa y’oyo nnabbi okuja mu mulembe ogwo. Olaba, Akola sitayilo ye n’emujaamu, buli kimu ky’akola. Amuleetera okujaawo oba yasoma oba teyasoma. Akola ebirabo, engeri gy’anaabuulira, ebirabo by’alibeera nabyo, byonna nebimujaamu. Era Obubaka bw’Omulembe ogwo gwennyini, Katonda yayawula dda ekintu ekyo nti kijja kutuukawo era tewali kintu kirala ekiyinza okutwala ekifo ky’ekyo.”

Zannya olutambi, olutambi lwonna lw’osobodde, ku Sande, tewali kiyinza kutwala kifo kyalwo. Bw’oba ng’oyagala kwegatta ku Branham Tabanako nga bwetuwuliriza olutambi, oyanirizibwa, era oyitibwa okutwegattako Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira, “Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi” 65-0801E.

Owol Joseph Branham.

Kati, ebyawandiikibwa byokusoma ku lw’olukuŋŋaana lwa Sande biri,

Olubereberye 22 : 17 – 18
Zabbuli 16 : 10
Zabbuli 22 yonna
Zabbuli 35 : 11
Zabbuli 41 : 9
Zakaliya 11 : 12
Zakaliya 13 : 7
Isaaya 9 : 6
Isaaya 40 : 3 – 5
Isaaya 50 : 6
Isaaya 53 : 7 – 12
Malaki 3 : 1
Malaki 4 yonna
Yokaana 15 : 26
Lukka 17 : 30
Lukka 24 : 12 – 35
Abaruumi 8 : 5 – 13
Abaebbulaniya 1 : 1
Abaebbulaniya 13 : 8
Okubikkulirwa 1 : 1 – 3
Okubikkulirwa 10 yonna