23-0205 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

Obubaka: 65-0801e Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

BranhamTabernacle.org

Abantu b’Ekiseera kino Abaagalwa,

Kitaffe, tuKwagala nnyo. Tuyinza tutya okutandika okulaga ebyo bye tuwulira? Watulonda, Watwawula edda, n’ofuuka Omuntu omulamu okuwaayo Obulamu Bwo ku lwaffe.

Watuwandiikira ebirowoozo byo byennyini nga Oyita mu bannabbi bo, tusobole okuba n’Ekigambo Kyo. Olwo, nga bwewasuubiza, n’Ojja omulundi omulala, nga weebikkula mu mubiri gw’omuntu nga okozesa ebyatuukawo nga obunnabbi bwabilambulula, okuvvuunula n’okubikkula Ekigambo Kyo.

Olw’okulonda Kwo Ggwe, Walonda William Marrion Branham okubeera omusajja w’ekiseera kino. Ggwe wamulonda okutukwatako tusseeyo omwoyo ku by’agamba. Watambuzanga emikono gye. Watambuzanga amaaso ge mu kwolesebwa. Teyasobolanga kubaako ky’ayogera okuggyako ebyo bye Wali omulaze.
Teyasobolanga kwogeranga kintu kirala okuggyako ebyo bye Wateeka mu kamwa ke. Walina obuyinza obujjuvu ku lulimi lwe, engalo ze, na buli kitundu ky’omubiri gwe. Yali abulidde ddala mu ggwe.

Olwo, olw’okulonda Kwo ggwe era nate, Watulonda tubeere abantu ab’ekiseera kino. Akabinja ko akatono akakuŋŋaanyizibbwa olw’okuluŋŋamizibwa kw’Ekigambo Kyo, nga kaddamu okufulumya, Obulamu bwa Yesu Kristo. Ffe Kigambo Kyo nga twegatta ku Kigambo. Tetulina kirala kye tusobola kukola.

Kitaffe, twagala okubeera mu Kwagala Kwo ekutuukiridde; tewali kirala kikulu gye tuli. Tetwagala ndowooza yaffe, ebirowoozo byaffe, oba omusajja omulala yenna by’ayogera, okwagala Kwo kwokka.

Tugenze mu Kigambo Kyo okulaba byeWagamba nti tulina okukola okusobola okubeera Omugole Wo. Wagamba nti Ogenda kusalira ensi omusango olunaku lumu olw’Ekigambo Kyo. Watugamba nti Ekigambo Kyo kijja eri bannabbi bo BOKKA, abaamanyibwa edda era ne bayawulibwa Ggwe.

Watugamba Tekijja eri munnaddiini oba ekibinja ky’abasajja abamu, wabula okuyita mu nnabbi Wo. Y’ajja kuba Omuvvuunuzi Wo ow’Ekigambo ow’obwakatonda yekka. Si birowoozo bye, ebirowoozo bye, okuvvuunula kwe, wabula Ggwe nga Oyogera okuyita mu ye, ng’Ovvuunula Ekigambo Kyo.

Mu buli mulembe, abantu baleka abasajja okuteeka enzivuunula yaabwe ku Kigambo Kyo, era kibaleetera okuzibwa amaaso. Kikola ekintu kye kimu kye yakola ku Bafalisaayo n’Abasaddukaayo. Eyo y’ensonga lwaki abantu balemererwa okuKifuna leero. Bawuliriza omuntu omulala by’ayogera ku Kyo, mu kifo ky’okuwuliriza Ekigambo nga nnabbi Wo bwe yabagamba okukola.

Wagamba nti, nsooka kusindika Kigambo kyange, olwo abantu bwe batajja kukkiriza Kigambo kyange, olwo ne mbaweereza obuweereza. Era wagamba nti mu buli mulembe obuweereza bubula; si bonna, wabula abasinga obungi, ne bakulembera abantu nga babazza eri bo bennyini. Twagala kubeera mu Nteekateeka Yo nnakabala.

Kibuzaabuza nnyo, abaweereza tebasobola kukkiriziganya bokka na bokka. Ow’oluganda M tayinza kukkiriziganya na Waaluganda Y; Ow’oluganda Y takkiriziganya na Waaluganda Z. Tebasobola kukkiriziganya na bannaabwe. Balabika nga abakkiriziganyiza ku kintu kimu kyokka, tetulina kuzannya ntambi mu kkanisa.
Ye Babulooni omulundi omulala nate, nga kitabula nnyo. Tukkiriza nti waliwo Enkola y’omuddiriŋŋanwa egoberekeka emu yokka era tulina okwebajja tuje mu nkola y’omuddiriŋŋanwa egoberekeka eyo, so si kugezaako kubajja Nkola eyo okutujaamu.

Wabaddewo obuweereza bungi nnyo obusituse n’ebirowoozo byabwo, okuvvuunula kwabwo n’enjigiriza zaabwo. Bwonna bugudde butaka. Wabaddewo abaweereza abaayawulibwa abakulu abasitusenga nga bagamba mbu babuulira era mbu bajuliza Obubaka bw’ekiseera, era obuweereza bwabwe lye Kkubo Katonda lyeYateekawo leero, so si ntambi.

Balina abantu abeesimbu abagenda mu masinzizo gaabwe, ababawulirizza okumala emyaka. Balina abaweereza bangi ababakyalira, enkuŋŋaana, okudda obuggya, okubuulira, nga bagamba nti bye boogera lye Kkubo Lyo lye Watuteerawo, so si ntambi. Awo oluusi ne bagamba mbu, Obubaka si ge mazima.

Baali tebakebera by’ayogera n’entambi? Baali batwala butwazi kye yagamba nti kye Kigambo, lye Kkubo Katonda lye Yateekawo leero? Singa yali azannye buzannya ntambi, Eddoboozi Lyo eryakakasibwa olw’abantu, mu kifo ky’okwessaawo ng’eddoboozi erisinga obukulu, bandibadde bamanya nti kye baali bawulira kwali kuyigiriza kw’eyafukibwako amafuta ow’obulimba mu kiseera eky’enkomerero.

Ekyo tekitegeeza nti teweetaaga musumba. Tekitegeeza nti abasumba bonna baafukibwako amafuta ba bulimba. Tekitegeeza nti waliwo bangi ababuulira ekyo kyennyini Ow’oluganda Branham kye yayogera. Kitegeeza nti ekintu ekisinga obukulu ky’olina okuwulira bwe Bubaka obuli ku ntambi; Obwo bwe BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA BWOKKA.

Obwo Ye ndagiriro. Obwo Ye Abusoluuti. Kye Kigambo eky’enkomeredde. Kye Kigambo kyokka ekituukiridde. Okujjako nga omusumba wo, omukulembeze wo ow’omwoyo, nga awuliriza Ekigambo ekyo ekirongoofu n’abantu be, wajja kubangawo ekikyama.

Lwaki obuweereza tebujja kuzannya Eddoboozi Lyo eryakakasibbwa mu masinzizo gaabwe? Bayinza batya okugamba nti kikyamu ate nga bagamba nti bakkiriza Kye Kigambo? Lwaki bakola eby’okwekwasa ebya buli ngeri ne bagamba nti obuweereza bwabwe lye Kkubo Lyo ly’owadde leero, so si Eddoboozi lyo eryakakasibwa ku lutambi?

Lwaki batiisa abantu nga bagamba nti kubanga tugamba nti “NYIGA ZANNYA” okuwulira Eddoboozi Lyo, tusinza musajja so si Ggwe Ayogera ng’Oyita mu musajja oyo?

Tusinza GGWE WEKKA KITAFFE. Tukikebera n’Ekigambo Kyo emirundi n’emirundi. Otubuulira ng’Oyita mu nnabbi wo mu buli Bubaka bwe tuwulira ku ntambi nti: Ye Kkubo lyo lyokka lye Wateekawo olwaleero.

Walala wa Omugole Wo w’ayinza okugenda okuggyako butereevu eri Ekigambo Kyo. Ffe Mugole Kigambo Wo Embeerera. Tulina okusigala n’Empagi Yo ey’Omuliro. Kye kifo kyokka we tusobola okumatira n’okugamba amiina eri buli Kigambo kye tuwulira.

Kitaffe, tuKulaba wabweru w’ekkanisa Yo ng’Ogezaako okuyingira, era kitumenya omutima. Ekinyolo kiri munda era tukugguliddewo oluggi Oyingire. Tetulina kirala kye tumanyi. Tetwagala kintu kirala kyonna. Tetusobola kutwala kintu kirala kyonna. Tulina olubuto lw’Ekigambo Kyo.

Tweyanzizza Kitaffe olw’Okubikkulirwa kw’Ekigambo kyo. Tetuwakanya muntu yenna, tuli bubeezi ba Kigambo Kyo obunnabbi bweKyalambulula. Tujja kuyimirira mu maaso go olunaku lumu mu musango. N’emitima gyaffe gyonna twagala okugamba nti, “Kitaffe, tusigadde n’Ekigambo Kyo.”

Kubiriza omusumba wo, omukulembeze wo ow’omwoyo, Okunyiga Zanya ku Ssande eno owulire Eddoboozi lya Katonda. Ojja kusalirwa omusango olunaku lumu okusinziira ku ekyo Ekigambo kya Katonda kye kyogera ku ntambi. Oyinza otya okukozesa omukisa gwo ku kintu ekirala kyonna?

Oyanirizibwa okujja okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda), era owulire: Ebigenda Mu Maaso Nga Obunnabbi Bwabirambulula 65-0801e, nga Katonda ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omusajja gwe Yeelondera. Oyo gwe yawa eri ekibiina kye, ekirabo kye. Yamuwa obutonde bwe, sitayiro ye, ne kyonna kye kiri, engeri gy’ayogeramu, ne kyonna ky’akola. Yafuula William Marrion Branham omusajja w’ekiseera kino okufunayo abantu b’ekiseera kino, era ffe BANTU B’EKISEERA KINO.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa:
Olubereberye: 22:17-18
Zabbuli: 16:10 / Essuula 22 / 35:11 / 41:9
Zekkaliya 11:12 / 13:7
Isaaya: 9:6 / 40: 3-5 / 50:6 / 53:7-12
Malaki: 3:1 / Essuula ey’okuna yonna
Omut. Yokaana 15:26
Omut. Lukka 17:30 / 24:12-35
Abaruumi: 8:5-13
Abebbulaniya: 1:1 / 13:8
Okubikkulirwa: 1:1-3 / Essuula 10 yonna