23-0129 Katonda W’Omulembe Guno Omubi

Obubaka: 65-0801M Katonda W’Omulembe Guno Omubi

BranhamTabernacle.org

Embeerera za Kristo Entono, Ekigambo, Ekisibo Abaagalwa,

Tetusobola kuba kintu kirala kyonna. Tetusobola kuwulira kintu kirala kyonna. Tetulina kirala kye tumanyi. Tetwagala kintu kirala kyonna. Awali Ennyama ensu, NYIGA ZANNYA, ekyo nga kye Kigambo ky’entuuko zino, awo empungu wezinaakuŋŋaaniranga. Ekigambo nga kifuuka Obulamu muffe.

Tetuli beebamu n’abantu abalala bonna! Muli bantu abaayawulibwa, abatukuvu eri Mukama, abeewaddeyo eri Ekigambo n’Omwoyo wa Katonda, okubala ebibala by’ekisuubizo kye olw’olunaku luno. Bulijjo tukula era nga twengera nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda.

Nabbi yatugamba tuddengayo tujulize entambi zino. Bw’oba olina ekyuma ekizannya entambi, kuŋŋaanyaayo ekibinja ky’abantu oluzannye, era muwulirize bulungi. Wuliriza Eddoboozi lye, by’Atugamba. Ekigambo kya Katonda tekyetaaga kuvvuunula; Akola okuvvuunula kwe Ye. “Nze Ddoboozi lya Katonda gyemuli.”

Era kye kino, Baibuli, si kigambo kimu okugattibwa ku Yo oba okuggyibwamu. Sigala busigazi butuufu n’Eddoboozi eryo. “Omulala tezirimugoberera,”

Omuntu yenna ayinza atya obutalaba Kkubo lya Katonda ly’Attaddewo ku lw’olwaleero? Naye ekitiibwa kibe eri Katonda, tusobola okuKiraba, kubanga twalondebwa okuKiraba. Tetujja, era tetusobola kulimbibwa, kubanga tuli Kigambo kye ekyolesebbwa.

Ab’oluganda ne bannyize, ekyo leka kitunnyikiremukko akadakiika kamu kokka, FFE EKIGAMBO EKYOLESEDDWA!! Katonda Mwene, ng’Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’okunsi, atugamba nti FFE KIGAMBO. Tetulina yadde n’akatono kye tutya. Buli kye twetaaga kyaffe.

Buli wiiki tubeera wansi w’okusuubira okw’amaanyi Mukama okutukyalira. Tetulina kifo wano kutuuza buli muntu, era buli muntu tasobola kujja mu Jeffersonville, kale tuba tulina kubaweereza buweereza Kigambo nga tuyita mu yintaneeti.

Tuli mu maka gaffe, mu masinzizo gaffe, mu mmotoka zaffe, nga tukuŋŋaanidde ku buzindaalo bwaffe obutono okuva mu nsi yonna, nga tulindirira Okujja kwa Mukama.

Bakuŋŋaanye wamu naffe mu Afrika, nga balindirira Okujja kwa Mukama. Bakuŋŋaanye wamu naffe mu Mexico, nga balindirira Okujja kwa Mukama. Mu Bulaaya, Scandinavia, Australia, mu buvanjuba obw’amasekkati, South America, okuva ku nsonda ennya ez’ensi, nga balindirira Okujja kwa Mukama.

Era tukuŋŋaanidde wano mu kkanisa y’awaka, ku tabanako, nga tulindirira Okujja kwa Mukama. Twawukana essaawa nnyingi mu budde, naye tuli wamu nga EKITOLE KIMU, abakkiriza, nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda, nga tulindirira Okujja kwa Masiya.

FFE bantu ba Katonda abaayitibwa era abaalondebwa okuva mu mulembe guno omubi olw’Erinnya lye. Tugezesebwa era ne tukakasibwa eri Sitaani nti ffe Kigambo. Tuli kitundu ku Muti ogwo ogwo Nnakabala ogw’Omugole. Tulaba obulamu bwaffe nga bwolesebwa Ekigambo ekyo.

Kyangu buli muntu okukkiriza nti Yesu ye yali eky’okuddamu obutereevu eri buli bunnabbi obwali bugenda okutuukirira mu ye, kubanga batunula emabega okubulaba nga butuukirira. Naye mu mulembe guno omubi ogw’akaseera kano, bakola ekintu kye kimu kye baakola mu kiseera ekyo, nga baKitaputa mu ngeri endala, era baleetedde abantu okugenda mu kukyamya okukola, bakkirize eby’obulimba. Singa basobola okutegeera nti Kye Kigambo kye kimu eky’omulembe guno ekiri mu kwolesebwa.

Waliwo ekintu kimu kyokka ekiyinza okugatta Omugole, Obubaka buno. Waliwo ekintu kimu kyokka ffenna kye tuyinza okukkiriziganyaako, Obubaka buno. Waliwo Eddoboozi limu lyokka erikakasiddwa okuba Bw’ati Bw’agamba Mukama, Eddoboozi lya Katonda ku lutambi.

Kati, amakanisa ag’ekibuguumirize obubuguumirize, ag’enneeyisa ey’ekikungu, agannyogoga n’ebirala, ag’eby’eddiini ebikoleddwa abantu, ekyo tekyandibadde; Abalonde ekyo tebayinza kukiteekako mwoyo n’akatono. Naye kiri eyo waggulu kumpi nga kiringa kiri ekituufu. Okulekayo Ekigambo kimu kyokka ky’olina okukola. Kyasuubizibwa ku mulembe guno; ekiseera kikulu nnyo! Abakristaayo, buli wamu, mufeeyo ku ssaawa gye tulimu! Baako w’owandiika oba w’olamba, era osome, era owuliririze kumpi.

Katonda w’omulembe guno omubi akola kyonna ky’asobola okulimba abantu okuyita mu kukugira Eddoboozi Lya Katonda eryakakasibwa okubatuukako. Agezaako okubaleetera obutakkiriza Kigambo kimu kyokka, nga bwe yakola Kaawa mu lubereberye.

Naye Omugole-Kigambo owa Kristo ajja eri Omutwe. Tuli mu kugattibwa nate n’Omwagalwa waffe eyo gye twatandikira. Ekiseera ky’okuva kisembedde. Katonda ajja okucima Omugole we asigadde n’Ekigambo Kye.

Omwoyo Omutukuvu Ali wano nga Ayita Omugole ku lwa Kristo. Akikola okuyita mu kukakasa Ekigambo kye eky’ekisuubizo gy’ali, olw’omulembe guno, ng’alaga nti Ye Kristo.

Tewali kisinga bukulu ku kubeera obumu n’Omugole okwetoloola ensi yonna, ng’owuliriza Eddoboozi lya Katonda nga lyogera butereevu naawe. Mpaawo bya kusuubira, kwewuunya oba wadde okusaba nti oba by’owulira mazima. Kubanga LYE DDOBOOZI BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA LYOKKA, ERYAKAKASIBWA.

Jjangu twegatteko owulirize:

Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye.

ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira: Katonda W’Omulembe Guno Omubi 65-0801M.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Omut. Matayo essuula 24 yonna / 27:15-23
Omut. Lukka 17:30
Omut. Yokaana 1:1 / 14:12
Ebikolwa 10:47-48
1 Abakkolinso 4:1-5 / 14 yonna
2 Abakkolinso 4:1-6
Abaggalatiya 1:1-4
Abeefeso 2:1-2 / 4:30
2 Abasessaloniika 2:2-4 / 2:11
Abebbulaniya essuula ey’omusanvu
1 Yokaana Essuula 1 / 3:10 / 4:4-5
Okubikkulirwa 3:14 / 13:4 / Essuula 6-8 ne 11-12 / 18:1-5
Engero 3:5
Isaaya 14:12-14