21-1017 ra Nga Takimanyi

Obubaka: 65-0815 Era Nga Takimanyi

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Empungu eziri okukuŋŋaana abaagalwa,

O, nga kaseera, nga budde! Tewali kilekeddwaayo ekitannakolebwa. Empungu za Katonda ziri mukukuŋŋaanira ku nnyama ensu. Obunnabbi butuukirira. Tekisubwangako wadde n’omulundi n’ogumu, era tekirikikola, kubanga ffe, abaayawulibwa edda okukiraba, tukiraba.

Taata kaatwalira nnabbi eka, Omugole We teyeegattirangako ku Kigambo Kye nga bwekiri leero. Yalonda engeri Ekigambo Kye gyekyajjangamu, era nga eyo kwali kuyita mu bannabbi Be, abaamanyibwa edda era nebaawulibwa. Era tuli bamativu, era nga tumatidde, nti ono ye Yesu Kristo nga Yeemanyisa, nga Yeeraga mu bunnabbi.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Nga bwekyali nti yakulembera abaana ba Isiraeri okuyita mu ddungu, mu lugendo lwabwe, nga akaafananyi k’omugole ayitiddwaayo leero. Kiikino wano, okuyita mu kunoonyereza kwa ssaayansi, n’okweraga Yeeragirawo nga ne ssaayansi tannakikola. Era okuyita mu bikolwa Bye byennyini n’okuyita mu bunnabbi Bwe bwennyini, ebintu ebyamuweebwako obunnabbi byanaakola mu lunaku luno, okumufuula omu jjo, leero, n’emirembe gyonna, bikakasibbwa mu ngeri etuukiridde. Ekyo tekimala okuleetera emitima gyaffe okubeera nga gitutyemuka munda yaffe?

Nga abo abatume b’olunaku olwo, twayawulibwa eri Obulamu. Ekintu kyokka kyetulina okukola kwekutegeeza Eddoboozi Lye Limanyibwe. Era Eddoboozi eryo by’ebirowoozo bya Katonda byennyini nga bilagibbwa. Tukikkiriza kyonna. Tekitweetaagisa kukakasa kintu kyonna ne ssaayansi, oba okubuuza Omufalisaayo oba Omusaddukaayo yenna, oba omuntu yeena omulala kukyo. Yakyogera era tukikkiriza. Endiga Ze ziwulira Eddoboozi Lye, nga Lyogerera mu nnabbi We.

Obubaka buno Ly’Eddoboozi lya Katonda ku ntambi. Kwekubikkulirwa kwonna okwa Yesu Kristo, Endagaano Enkadde n’Empya nga biteekeddwa wamu. Ebyama byonna bibikuddwa. Tetugatta newankubadde okwongera kukyo. Tukola bukozi ddala nga Bweyatulagira okukola, SIGALA N’EKIGAMBO.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Kyekyo. Ye muntu oyo owomunda. Ekyo ekyomunda ekijja okuddamu Ekigambo, kyekwatire ku Kigambo, ssi nsonga oba ki.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Yawa obunnabbi era n’atugamba kiki ekinaatukawo. Ensi yonna egyakuba nga yegattira wamu mu bugu bw’eddalu, era ejja kweyongera okubijja, era ebijje, era ebijje, okutuusa bwebalibeera kabondo ka bazzoligo.

Yagamba essaawa eri kumpi nnyo wetugenda okulabira ekintu ekimu nga kibeerawo, waliwo ekintu ekijja okutuukawo. Era Obubaka buno bwonna bubadde butegeka embeera era nga buzimba omusingi kulw’Obubaka obwamangu, obumpi obujja okunyeenya amawanga gonna. Tukkiriza nti kaakano tuli mukulaba ebintu bino nga bibaawo kaakano.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Era mmanyi nti, nga mmaze okugenda okuva munsi eno, entambi ezo n’obutabo obwo bujjakuba bukyeyongerayo okuwaangaala, era bangi kummwe abaana abato mulizuula, munnaku ezirijja, nti kino ge Mazima gennyini ddala, kubanga nkyogera mu Linnya lya Mukama.

Leka tuwulire era tusseeyo omwoyo kumpi ddala ku byalambululwa byonna eby’ebirooto nnabbi byeyatubuulirako. Nga bwebaamulaba ng’ayimiridde ku lwazi olwatuuka okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, nga luli mu nkula ensongovu nga piraamiidi. Nga bweyali ku mbalaasi gyebaali tebalabanga kigifaanana mu bulamu bwabwe; embalaasi ey’ekitalo, n’ekiviiri kyayo ekyokumutwe ekyeru nga kireebeeta.

Engeri ekire ekyeru bwekyakka nekimufuna nekimusitulawo. Olwo oluvannyuma lw’akabanga nekimutuuza waggulu ku mmeeza era yali mweeru ng’omuzira. Yali ayimiridde awo era yayogera n’obuyinza obw’ekitalo. Tekyaliko kuteebereza. Buli muntu yategeera kyeyayogera mu ngeri etuukiridde ddala.

“Nja kuvuga omukululo guno omulundi gumu nate!”

Nzikiriza tuli mukulaba ekyo nga kituukawo leero. Obubaka buno buli mukuvuga omukululo ogwo omulundi gumu nate. Katonda ali mukukoowoola Empungu Ze awamu okuva wonna mu nsi. Bali mukwegattira ku Kigambo Kye, Eddoboozi Lye, Obubaka Buno.

Ensi eri bukunya, esaasirwa, nnaku, nzibe yaamaaso, era tekimanyi. Naye Omugole ayambaziddwa Ekigambo, wakitiibwa mu Mwoyo, musanyufu olw’Ekisakye, era tusobola okulaba era netumanya kiki kyetuli: OMUGOLE WE.

Yatugamba okusinziira ku kyeyali amanyi, teyalaba kintu kiziyiza, mu budde bunno, okujja kwa Mukama Yesu, okujjako obwetegefu bw’Ekkanisa Ye.

Empungu, katwetegeke. Mbaniriza okukuŋŋaanira wamu naffe ku nnyamu ensu Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), okuwulira Eddoboozi lya Katonda kulw’olunaku lwaffe nga litutegeka olw’okuwakkulibwa okubinabinda okujja nga bwetuwulira:  65-0815 Era Nga Takimanyi.

Owol. Joseph Branham
    
Okubikkulirwa 3:14-19
Abakkolosaayi 1:9-20