22-1211 Kwe Kuvaayo Kw’Enjuba

Obubaka: 65-0418M Kwe Kuvaayo Kw’Enjuba

BranhamTabernacle.org

Yeekaalu Y’Amaanyi Agatambuza Ebyuma Abaagalwa,

Omuntu bulijjo yeegomba mu mutima gwe okubeera nga Ibulayimu bwe yali atudde mu maka ge akawungeezi akamu ku ssaawa nga 5:00 (ttaano). Yatunula waggulu n’alaba abasajja basatu nga bajja gy’ali nga engoye zaabwe zijjudde enfuufu. Yadduka mangu gye bali, n’agamba nti, “Mukama wange.” Eyali ayimiridde awo mu maaso ge, mu mubiri gw’omuntu ng’Ayogera, yali Merukizeddeeki Omukulu.

Ssande eno, okwegomba okwo mu mitima gyaffe kujja kubeerawo ku buli omu ku ffe. Ffenna tujja kukuŋŋaanyizibwa okuva mu nsi yonna, nga tuwuliriza Merukizeddeeki omukulu y’omu ng’ayogera NAFFE. Omuntu ataalina Kitaawe, newankubadde nnyina, ataalina ntandikwa ya nnaku za bulamu bwe, Katonda, en morphe, ng’Ayogera naffe okuyita mu mimwa gy’omuntu ow’okunsi, ddala nga bwe yakola ku lunaku olwo eri Ibulayimu.

Tewali ngeri ndala yonna gy’oyinza kuwuliramu Ddoboozi eryo okuggyako nga ONYIGA ZANNYA. Tewabangawo kiseera mu byafaayo Omugole weyali yegasse okuva mu nsi yonna okuwulira Eddoboozi lya Merukisedeki nga lyogera mu kiseera kye kimu ddala. Katonda agatta Omugole we n’Eddoboozi eryo.

Okumala emyaka mingi, tubadde n’Ekigambo kya Katonda. Kati twafuna Katonda w’Ekigambo, laba, era Ali wano wennyini ng’Akola nga Ekigambo kye bwe Kimwogerako. Kale kituufu, akamu ku bubonero obukulu obusembayo obwasuubizibwa Ekkanisa nga Mukama tannajja.

Ku Ssande eno, Omugole agenda kuba n’Obubaka bwa Paasika mu December; era nga Bubaka nnyo bwetugenda okuwulira.

Ebyuma ebikola. Amaanyi agabitambuza. Amaanyi Agawa Obulamu (Agazuukiza). Kristo eyazuukira. Abaana ba Katonda abooleseddwa. Omwoyo y’omu eyabeeranga mu Kristo abeera mu ffe. Obulamu bwe bumu bweyalina, amaanyi ge gamu, abaganyulwa be bamu, naffe tubirina. Ekyapa eky’obwannannyini. Ensigo eyasooka okukula okutuuka ku kwengera ewuubibwa mu maaso g’abantu. Kati tuli nnyama ya nnyama ye, eggumba ly’eggumba lye; Bulamu bwa Bulamu bwe, Maanyi g’Amaanyi ge! Tuli Ye!

Yesu Kristo eyazuukira; Merukizeddeeki yennyini, ajja kuleekaana Atugambe nti, “Nnasiima Eddoboozi lyange likwatibwe liteekebwe ku butambi bwa magineeti nsobole okubawalulira gye ndi, era nsobole okwogera nammwe nga bwe nnakola Ibulayimu. Njagala muwulire butereevu okuva gyendi.”

Ye mmwe Ekkanisa yange eyategekerwa edda, eyayawulibwa edda! Emibiri gyammwe ye yeekaalu y’Amaanyi Agatambuza Ebyuma, kubanga okuva ku lubereberye mwali kitundu ku Byuma Ebyo.

Okwo kwe kubikkulirwa okwo okw’Obwakatonda okw’Ekigambo efuuse omubiri. Bwe kiba nga kyali mubiri mu lunaku olwo nga kiyita mu Mwana, Omugole Omusajja, Kibeera mubiri leero nga kiyita mu Mugole omukazi. Okiraba?

Amaanyi ago Agazuukiza gabeera mu ffe. Tetwetaaga kutya KINTU KYONNA. Omwoyo oyo yennyini eyali mu Ye, kati ali mu ffe era Awa emibiri gyaffe egifa obulamu. Tetukisuubira, TUKIMANYI. Twamala dda okuwangula, Yatuwangulira.

Olwo, okufundikira akawungeezi, Merukisedeeki ajja kwogera omulundi omulala Agambe nti;

Abantu bano, banaffe abatuuze mu Bwakaba, banannyini Amaanyi Agazuukiza, gazuukize gye baali, Mukama, kaakano. Era leka Omwoyo agende okuva ku mpungu okutuuka ku mpungu, okuva ku buli Kigambo okutuuka ku Kigambo, okutuusa ng’okutuukirira kwa Yesu Kristo kulabisiddwa mu buli muntu, mu kye betaaga, nga ku lw’eby’omubiri, oby’omwoyo, obabuli kyetaago kye betaaga, nga tutadde buli omu ku munne emikono. Mu Linnya lya Yesu Kristo.

Mpungu ku mpungu, Ekigambo ku Kigambo, obujjuvu bwa Yesu Kristo bujja kwolesebwa mu mubiri gwa buli sekinnoomu kuffe. EKITIIBWA!!

Kino kiyinza okubaawo kuyita mu KUNYIGA ZANNYA teri engeri ndala, kale jangu otwegatteko era weetabe mu kijaguzo kya jubileewo y’okulya ebisanyusa olubuto, nga tulya emmere Eyaterekebwa edda, nga bwe tuwulira Eddoboozi Eryo, Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga lituleera Obubaka, Kwe Kuvaayo Kw’Enjuba 65-0418M.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa

Eby’Abaleevi 23:9-11
Matayo 27:51 / 28:18
Makko 16:1-2
Omut. Lukka 17:30 / 24:49
Omut. Yokaana 5:24 / 14:12
Ebikolwa 10:49 / 19:2
Abaruumi 8:11
1 Abasessaloniika 4:16
Abebbulaniya 13:8
Okubikkulirwa 1:17-18