22-1218 KATONDA WABAAWOKKO LW’AKYUSA ENDOWOOZA YE KU KIGAMBO KYE?

Obubaka: 65-0418E KATONDA WABAAWOKKO LW’AKYUSA ENDOWOOZA YE KU KIGAMBO KYE?

BranhamTabernacle.org

Ba Masiya Abatono Abaagalwa,

Ffe Abaafukibwako amafuta ba Katonda; nga twafukibwako amafuta g’Omwoyo We y’Omu, olw’emirimu gye gimu, n’Amaanyi ge gamu, n’obubonero bwe bumu. Kitambudde okuva ku mpungu okudda mu mpungu, okuva ku Kigambo okudda ku Kigambo, okutuusa obujjuvu bwa Yesu Kristo lwe bwoleseddwa mu mubiri gwa buli sekinnoomu muffe, okusisinkana obwetaavu obw’omubiri, obw’omwoyo, oba obw’obwetaavu bwonna bwe tulina. Amaanyi Agazuukiza gabeera era gatuula munda mu ffe. Ffe ba Masiya abatono aba Katonda.

Buli wiiki Okubikkulirwa kw’Obubaka buno; ki kye tuli, wa gye tuva, na wa gye tugenda, kweyongera obunene. Twebuuza n’okusuubira okunene, Kiyinza kitya okusukkawo mu kuba eky’ekitiibwa ? Kiyinza kwanguwa kusukkawo kitya? Naye na buli lutambi olupya lwe tuwulira, Katonda Ayogera naffe kamwa ku kutu era n’Atubikkulira ebisingawo ku Kigambo kye, era n’atukakasa, FFE B’ANI.

Okuyaayana okusinga okw’omutima gw’omukkiriza yenna kwe kubeera mu KWAGALA kwa Katonda OKUTUUKIRIDDE. Tetwagalangako kubeera mu kwagala kwe okw’ekyerekerezi. Emitima gyaffe gimenyeka era ne tunyigirizibwa singa tuwulira nga tukoze ekintu kyonna ekyandiMunyiizizza. Tukimanyi nti Katonda alina Okwagala kwe Okutuukiridde, era twagala kubeera mu NTEEKATEEKA Y’OKWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE.

Mu bulamu bwange, nkoze okusalawo okugumu kwennaayimirirangako bwe ŋŋambye nti nzikiriza nti ekintu ekisinga obukulu buli mmemba w’Omugole ky’ayinza okukola, ab’omukibiina n’abaweereza ng’obatwalidde wamu, kwe KUNYIGA ZANNYA. Nzikiriza nti Lye Ddoboozi Lya Katonda erikakasibbwa lyokka olw’olunaku lwaffe mw’olina okuwulira n’okugondera buli Kigambo.

Njogedde nti nzikiriza obuweereza bwetaaga okuzza Ow’oluganda Branham mu bituuti byabwe n’okuzannya entambi mu masinzizo gaabwe, nga bweLiri Eddoboozi nnamunigina erisinga obukulu abantu lye balina okuwulira.

Nfunye okunenya kuyitirivu mu bulamu bwange olw’okukola okusalawo kuno ku ekyo kye nzikiriza nti ye Pulogulaamu Ye era Okwagala Kwe Okutuukiridde. Kitegeereddwa bubi era ne kigambibwa nti sikkiririza mu buweereza obw’emirundi etaano obw’Abaefeso 4.

Nkitegeezezza emirundi mingi nnyo nti ekyo kya bulimba. Ekyo sikyogerangako, yadde okukkirizangako. Eriyo bangi abakyusizza ebigambo byange ne babuulira abantu ebintu bye soogerangako wadde okubikkiriza, naye ekyo kisuubirwa.

Wateekwa okubaawo amazima g’Ekigambo kya Baibuli. Bw’oba ogamba nti okkiriza Obubaka buno, olwo tulina okutwala Ekyo nnabbi Kye yayogera, nga bwekiri nti kwe Kuvvuunula kwennyini okw’Ekigambo kya Katonda. Kubanga ye muvvuunuzi w’Ekigambo ekyo YEKKA.

Singa mbuuzizza buli omu ku mmwe nti, “Ani ayagala okubeera mu kwagala kwa Katonda okutuukiridde?”
Buli omu ku mmwe yandigambye nti, “YEE, okwo kwe kuyaayana kw’omutima gwange.” Bwe tutyo tulina okutunuulira ekyo nnabbi kye yagamba nga Okwagala kwa Katonda okutuukiridde.

MANYA KINO: Singa Obubaka obuli ku lutambi si ye Abusooluuti wo, era nga tokkiriza buli Kigambo, LEKERAAWO OKUSOMA EBBALUWA ENO. Ku nze, toba mukkiriza, na bwe gutyo ebbaluwa eno teba yiyo. Kyensobola kyokka kwe kusigala obusigazi ne Katonda bye yayogera ku lutambi.

Twagala Ye bye yayogera; si ekkanisa bye yayogera, Dokita Jones bye yayogera, omuntu omulala bye yayogera. Twagala ekyo BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA ky’Ayogedde, ekyo Ekigambo kye yayogera.

Tulina okwewaayo eri Okwagala kwe n’Ekigambo kye. Tetulina kuba na kabuuza konna kukyo. Tulina kukikkiriza bukkiriza. Togezaako kunoonya ngeri ya kukyebalama. Kitwale butwazi nga bwekiri.

Kale bangi baagala okukyebalama ne bagenda mu kkubo eddala. Bw’okola bw’otyo, Katonda ajja kuba akuwa omukisa, naye ng’okolera mu Kwagala Kwe okw’ekyerekerezi, so si mu kwagala kwe okutuukiridde, okw’Obwakatonda. Katonda ajja kukukkiriza okukola ekintu ekimu, n’okukuwa omukisa akikuweeremu omukisa ng’okikola, naye kusigala si kwe kwagala Kwe Okutuukiridde.

Katonda yatuma omubaka malayika we ow’omusanvu ku nsi okukoowoolayo Omugole we. Tukkiriza nti Yali Mwana w’Omuntu nga Yeebikkulira mu mubiri gw’omuntu. Ddoboozi lya Katonda lyennyini ly’eryakwatibwa era ne literekebwa olw’Omugole we.

Katonda yennyini yagamba nnabbi we nti, bw’on’oleetera abantu okukukkiriza, tewali kijja kuyimirira mu kkubo lyo. Y’eyalondebwa Katonda okukulembera Omugole we. Tewali ayinza kutwala kifo kye. Ne bwe wayimukawo ba Kora bameka, oba ba Dasani bameka, William Marrion Branham y’oyo Katonda gwe yayita okukulembera Omugole we. Eno ye Pulogulaamu ya Katonda era OKWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE.

Abantu bwebaba nga tebatajja kutambulira mu kwagala kwe okutuukiridde, ddala Alina okwagala kwe okw’ekyerekerezi kw’Ajja okukuleka okutambuliramu.

Kati, Katonda ye Ka… omulungi. Atuma Ekigambo kye. Bw’oba tojja kukkiriza Kigambo kye, olwo ateeka mu Kkanisa woofiisi ttaano ez’enjawulo: Esooka, omutume, bannabbi, abasomesa, abasumba, ababuulizi b’enjiri. Babeerawo olw’okutuukirizibwa kw’Ekkanisa.

N’olw’ekyo, obuweereza bwayimusibwangawo kubanga abantu okuyita mu mirembe gyonna tebaayagalanga kukkirizza NTEEKATEEKA EY’OKWAGALA KWA KATONDA OKUTUUKIRIDDE kyokka; Ekigambo Kye ekyayogerwa nnabbi We. Mu ngeri ennyangungu, twetaagibwa kukkiriza bukkiriza Kigambo nnabbi wa Katonda kye yayogera. Tetwetaaga mulala yenna oba ekirala kyonna.

Olwo omulimu gw’obuweereza kwe kuzza abantu mu Nteekateeka Ey’Okwagala Kwe Okutuukiridde, eyo nga kwe: KUSIGALA N’ENTAMBI, KUBANGA KWE KWAGALA KWA KATONDA OKUTUUKIRIDDE. Olwo nno mukuume ENTEEKATEEKA EY’OKWAGALA KWE EYO mu maaso gaabwe buli kiseera nga: MUNYIGA ZANNYA.

Osaanye oddeyo otandikire we watandikira, oba we wakoma, era otwale buli Kigambo kya Katonda.

Kale kiki ky’olina okukola okubeera mu KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE: Nyiga Zannya.
Abasumba balina kukola ki okubeera mu KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE: Kunyiga Zannya.

Nabbi wa Katonda yakola ki bwe yagenda mu nkuŋŋaana? Kusabiranga busabizi balwadde, n’ebintu ng’ebyo? Yayogeranga ebintu mu ngeri eya twekisize endiga zisobole okukitegeeera, kubanga tumanya ky’aba ayogerako. Bwe kitaba ekyo, kyali nga kyakulya ku ddobo. Yabalaganga obubonero ng’okukwawula emyoyo, n’Amanya ebyama by’emitima gyabwe, okusiikuula abantu kyokka. Naye oluvannyuma n’agamba nti ekisinga obukulu kye kyali nti:

Ekintu ky’osooka okumanya, olutambi lugwa mu nnyumba yaabwe. Olwo luba lugirina, olwo. Bw’aba ndiga, ajja butereevu nalwo. Bw’aba mbuzi, olutambi alugoba kifuba ddembe.

Oli ndiga oba oli mbuzi? Akabinja ka Katonda akatono keesigamye ku Kigambo ekyo. Tuli mu Kwagala Kwe Okutuukiridde nga Tunyiga Zannya nga ekyo bwe kyali, era bwe kiri, enteekateeka Ye eyasooka.

Sigala butuufu n’Ekigambo Kye, kubanga ekyo kye kigenda okuvaayo ku nkomerero, Ekigambo, Ekigambo ku Kigambo. “Buli alikitoolako Ekigambo kimu, oba okukigattako ekigambo kimu!” Kirina okusigalawo, Ekigambo ekyo.

Nneebaza nnyo Mukama okumanya, olw’Okubikkulirwa okw’omwoyo, nti ndi mu Kwagala Kwe Okutuukiridde okusinziira ku Kigambo kye. Sigatta kuvvuunula kwange ku Kyo, oba okutegeera kwange ku Kyo, wabula mpulira n’amatu gange ekyo ekiri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA ERA Okwagala kwe Okutuukiridde.

Nkwaniriza tugende tunoonyereze wamu ebirungi ebiyaayanirwa Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira: Katonda Atera Okukyusa Endowooza Ye Ku Kigambo Kye? 65-0418E. Mulimu ebinnonnogo bingi nnyo mu Bubaka buno, ogenda kuba MUGAGGA mu Mwoyo We Omutukuvu we tunaamalira.

Owol. Joseph Branham

Okuva essuula 19 yonna
Okubala 22:31
Omut. Matayo 28:19
Lukka 17:30
Okubikkulirwa essuula 17 yonna