23-0406 Ekijjulo

Obubaka: 57-0418 Ekijjulo

BranhamTabernacle.org

Omuti gw’omugole oguzziddwawo Abaagalwa,

Okuyita mu mwaka gwonna, nneesunga wiikendi lwe nsobola okusibira ddala ensi yonna wabweru, ne  njijako ebyuma byange byonna, ne  nsaba olunaku lwonna, ne  mpulira Eddoboozi lye nga lyogera n’omutima gwange, ne mba n’Okussa ekimu naye, era ne mpongayo obulamu bwange  mu bulamba bupya eri Obuweereza bwe. BULI LUNAKU lulina okuba lunaku lwa Paasika gye tuli, wabula wiikendi eno kikujjuko kya njawulo nnyo, ekitukuvu; ekiseera ekizziddwa ku bbali Omugole mw’ajjira awamu Okusinza. KINCAMUSIZZA NNYO bannange. Siyinza kulinda kweggalira munda ne Katonda mu kifo eky’ekyama, eyo mu Mwoyo, nga ndaba Obwenyi bwe; nga  neeggasse ku Omugole wa Kristo okwetoloola ensi yonna, nga tutudde mu bifo eby’omu Ggulu. Erinnya lya Mukama  waffe Lyebazibwe! Mazima ddala erina okubeera wiikendi esinga okwesungibwa era entukuvu mu bulamu bwaffe.

Oh, ka tukomeko wano nate, eddakiika endala emu yokka. “Mu bifo eby’omu Ggulu.” Kati, si kubeera bubeezi awantu wonna ebweru, wabula mu bifo eby’omu Ggulu. Tukuŋŋaanyiziddwa mu “by’omu Ggulu,” kitegeeza nti ekifo ky’omukkiriza. Nti, bwe mba nsabye ne necca, ggwe n’osaba ne wecca, oba ekkanisa n’saba ne yecca, era twetegekedde Obubaka, era nga tukuŋŋaanyidde wamu ng’abatukuvu, abaayitibwayo, ababatiziddwa n’Omwoyo Omutukuvu, nga tujjudde emikisa gya Katonda, nga twayitibwa, twalondebwa, nga tutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu kati, tuli bitonde  bya mu Ggulu mu myoyo gyaffe. Emyoyo gyaffe gituyingizza mu mbeera ey’omu Ggulu. Oh, ow’oluganda! Kikyo  awo, embeera ey’omu Ggulu! Oh, kiki ekiyinza okubaawo ekiro kya leero, kiki ekiyinza okubaawo ekiro kya leero singa tubeera tutudde wano mu mbeera ey’omu Ggulu, n’Omwoyo Omutukuvu ng’atambulira ku buli mutima oguzziddwa obuggya ne gufuulibwa ekitonde ekiggya mu Kristo Yesu? Ebibi byonna nga biri wansi w’Omusaayi, mu kusinza okutuukiridde, nga emikono gyaffe tugiwanise eri Katonda n’emitima gyaffe nga giyimusiddwa, nga tutudde mu bifo eby’omu Ggulu mu Kristo Yesu, nga tusinziza wamu mu bifo eby’omu Ggulu.

Wali otuddeko eyo? Oh, ntuddeko eyo okutuusa lwe nkaaba olw’essanyu ne ŋŋamba nti, “Katonda, tondeka kuva wano.” Ebifo eby’omu Ggulu mu Kristo Yesu, kyokka!

Nga Atuwa mikisa ki? Okuwonyezebwa okw’obwakatonda, okumanya ebintu nga tebinnatuukawo, okubikkulirwa, okwolesebwa, amaanyi, ennimi, okutaputa, amagezi, okumanya, emikisa gyonna egy’omu Ggulu, n’essanyu eritoogerekeka erijjudde Ekitiibwa, buli mutima nga gujjudde Omwoyo, nga tutambulira wamu, nga tutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu, mpaawo  kirowoozo na kimu eikibi mu ffe, mpaawo sigala n’omu akommonteddwa, mpaawo  lugoye lumu olumpi, mpaawo kino na kimu, kiri oba ekirala, mpaawo kirowoozo kimu ekibi, mpaawo alina nsonga ku munne, buli omu ng’ayogerera mu kwagala n’okukwatagana, buli muntu ng’alina endowooza emu mu kifo kimu , “olwo Amangu ago okuwuuma ne kuba mu ggulu ng’empewo ewuuma n’amaanyi.” Kikyo awo, “eyatuwa buli mukisa gwonna ogw’Omwoyo.”

Mukama waffe Yesu kkiriza okusinza kwaffe kwetunaakuwa ku wiikendi eno eya Paasika. Leka tuyingire mu bifo eby’omu Ggulu mu Kristo Yesu; tuwaguze tuyingire Awatukuvu w’Awatukuvu. Awatali kirowoozo kibi na kimu, awatali kituwugulaza na kimu, wabula mu ndowooza emu, mu Kifo kimu; olwo leka wabeerewo eddoboozi okuva mu Ggulu lijje ng’empewo ey’amaanyi efuuwa ng’eyingira mu buli maka gaffe. “Jjangu Mukama Yesu”, tuli beetegefu okukulaba maaso ku maaso.

Kubanga Omugole akomezeddwawo okuyita mu Bubaka bw’Ekitangaala eky’akawungeezi obw’omulembe gwaffe; okuyita mu Bubaka bwa Malaki 4. Tukwebaza Mukama olw’okwolesebwa kwa Kristo mu bujjuvu mu Kkanisa ye, si ekkanisa eyazimbibwa n’emikono, wabula okwolesebwa kwa Kristo mu bujjuvu nga kwolesebwa mu muntu, nnabbi wo, okuyita mu bubonero obunene n’ebyewuunyo, era azzeemu okubikkula Ekigambo kya Katonda kyonna. Era kati Kibeera mu Mugole Wo okwetoloola ensi yonna. Mwebale olw’okutuleka ne tuba abalamu okulaba Ekitangaala kino ekinene eky’akawungeezi, okusinziira ku bunnabbi.

Era Ekitangaala eky’ akawungeezi kiviirayo ki? Ekitangaala eky’akawungeezi kya ki? Kya kuzzaawo. Whew! Okifuna? [Ekibiina kigamba nti, “Amiina.”—Ed.] Ekitangaala eky’akawungeezi kirina ekigendererwa kye kimu nga Ekitangaala eky’oku makya kye kyalina, okuzzaawo ebyo ebyasalibwako Emirembe egy’Ekizikiza, okuyita mu Rooma. Katonda agenda kuzzaawo, ng’Ayasa Ekitangaala eky’akawungeezi (kiki?), okuzzaawo Ekigambo kya Katonda kyonna nate, okwolesebwa kwa Kristo mu bujjuvu mu Kkanisa ye. Buli kintu kye yakola, mu ngeri yennyini ddala bwe yakola, kiriba kityo nate mu Kitangaala eky’akawungeezi. Mulaba kye ntegeeza? Oh, ekyo si kya kitalo? [“Amiina.”] Era okumanya tubeera wano wennyini okukiraba kati, Ekitangaala eky’akawungeezi, ddala okusinziira ku bunnabbi.

Omugole omutuufu takoma ku Kujjibwako musango, newankubadde nga akimanyi nti ebibi bye biri nga by’atakolanga nako; Takoma ku Kutukuzibwa, newankubadde nga Alongooseddwa n’ateekebwa ku bbali okuweereza; Takoma ku Pentekooti, wadde nga Afunye okubatizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu; naye Agendera ddala okutuuka ku KIGAMBO KY’OLUNNAKU LWAFFE: Malaki 4, Ekigambo kyennyini nga kifuuse omubiri nate mu muntu. Ekyo, “Nja kuzzaawo bw’ayogera Mukama,” ekijja okuleetera Omugole Okukkiriza Okw’Okukwakkulibwa. Era Ekigambo ekyo ekyoleseddwa, engeri yokka gyekijjamu,  kisobola okujja nga tuwulira Entambi, Erinnya lye ery’ekitalo lyebazibwe.

Omu ku bo, Martin Luther, atandika okumulisa Ekitangaala. Waaliwo Ekitangaala ekitono, amaanyi matono nnyo gokka, ag’okujjibwako omusango.

Awo ne wajja Wesley, n’amaanyi agasingako, okutukuzibwa.

Oluvannyuma lwa Wesley, ne wajja amusinga amaanyi, Pentekooti, okubatizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu, mu nnabbi omulala omukulu. Mukiraba?

Naye mu nnaku ez’enkomerero, eza Malaki 4, Eriya wa kujja n’Ekigambo kyennyini. “Ekigambo kya Mukama kyajja eri nnabbi.” Mu Byaka eby’akawungeezi, wa kuvaayo, okuzzaawo n’okukomyawo. Kiki? “Okukyusa emitima gy’abaana eri Okukkiriza kwa Katonda.” Ekitangaala eky’okuna!

Mujje mukuŋŋaane okwetooloola Ekigambo, mu maka gammwe, mu wiikendi ya Paasika eno era leka tusinze Mukama. Mujjeeko amasimu gammwe okuggyako okukuba ebifaananyi, okuwulira Okunokola Kw’olunaku, n’okuzannya entambi okuva mu apu ya Table, apu ya Lifeline, oba omukutu gw’okuwanulayo olutambi.

Njagala ffenna twegatte kulw’enteekateeka eno wammanga:

OLUNAKU OLW’OKUNA

Lwali Lwakuna ekiro Mukama waffe Yesu n’alya ekyeggulo ekyasembayo n’abayigirizwa be, ng’ajjukira embaga ey’Okuyitako nga okuva kw’abaana ba Isirayiri tekunnatandika. Nga mukisa gwe tulina okussa ekimu ne Mukama mu maka gaffe, nga wiikendi yaffe entukuvu tennabaawo, era tumusabe atusonyiwe ebibi byaffe, era atuwe byonna bye twetaaga mu lugendo lwaffe.

Katonda, kebera emitima gyaffe kati. Omusaayi kweguli, Mukama? Bwe kiba nga si bwe kiri, tusaba ekyo — nti Ojja kuguteekako kati kati, nga okuggyawo ebibi byaffe n’obibikka, era bijja kwawukanyizibwa naffe, Mukama, ebibi by’ensi eno, tusobole okuba abatukuvu era abayanjulika eri Kitaffe kati nga bwe tujja okutwala — omubiri n’Omusaayi ogwayiika ogw’Omwana gw’endiga gwaffe, Omwana wa Katonda, Omulokozi waffe.

Ffenna tutandike ku ssaawa 12:00 (kkumi na bbiri) mu budde  bw’omu kitundu kyammwe, era tuwulire Okussa Ekimu 57-0418.

Ekinadda ku Bubaka, tujja kukuŋŋaana n’ab’enju zaffe mu maka gaffe tulye ekyeggulo kya Mukama.

Mu bbanga ttono tujja kuba n’akayungiro k’okuwanula olutambi n’olukuŋŋaana lw’Okussa Ekimu byombi, oba, bijja kubeera ku Voice Radio.

OLUNAKU OLW’OKUTAANO

Leka tugende mu kusaba n’amaka gaffe ku ssaawa 3:00 (ssatu) ez’oku makya, n’oluvannyuma nate ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omu ttuntu, nga tuyita Mukama abeere naffe era ajjuze amaka gaffe n’Omwoyo Omutukuvu nga bwe twewaayo gy’ali.

Leka ebirowoozo byaffe biddeyo ku lunaku olwo e Kalvario, emyaka egisukka mu 2000 egiyise, tulabe Omulokozi waffe ng’alengejjera ku musaalaba, era olwo tweweeyo naffe mu ngeri y’emu okukola bulijjo ekyo ekisanyusa Kitaffe:

Kati tukizuula nti kyamwoleka bulungi. Omubumbi kati yalina Ekigambo nga kyoyoleseddwa mu Mulimu gwe ogw’ekikugu nate, ogwayitibwa Omwana we, Katonda, Emmanuel. Lowooza bulowooza, nti Omuntu ne yeewaayo nnyo okutuusa Katonda lwe yeeragira munda mu ye, mu mubiri ogwo, n’afuuka, Ye ne Katonda ne bafuuka Omu. “Nze ne Kitange tuli Omu. Kitange abeera mu Nze. Nkola ekyo ekisanyusa Kitange bulijjo.”

Watya singa Omukristaayo leero asobola okuba n’obujulizi obw’engeri eyo? Wandibadde mulimu gwa kikugu wano wennyini mu Yuma, ku luguudo. Bw’oba oli mukyala mwozi wa ngoye ebweru eyo emabega  w’eyo gyebooleza engoye, osigala oli mulimu ogw’ekikugu eri Katonda, ng’ate osobola okugamba nti, “Nkola ekyo bulijjo ekisanyusa Katonda,” era ensi yonna esobola okulaba —omulimu gwa Yesu Kristo nga gwolesebwa mu ggwe.

Olwo ku ssaawa 6:30 (mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu, leka twegatte wamu mu maka gaffe okuwulira,  Okutuukirizibwa 57-0419.

Olwo tuddemu twegattire wamu mu kusaba ku ssaawa 9:00 (mwenda) ez’ekawungeezi nga tujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.

OLUNAKU OL’WOMUKAAGA

Tuddemu ffenna twegatte mu kusaba ku ssaawa 3:00 (ssatu) ez’oku makya, ne 6:00 (mukaaga) ez’omu ttuntu, era tutegeke emitima gyaffe olw’ebikulu by’anaatukolera wakati mu ffe,

Mbadde njogera akabanga katono akayise ku ngeri ebidiba ebinene gye biloopaamu emmunyeenye.

Olwo ku ssaawa 6:30 (mukaaga kitundu) ez’akawungeezi, ffenna tujja kukwatagana okuwulira EKIGAMBO: Okuziika 57-0420.

Nga luno lugenda kuba lunaku lwa bbaluwa Myufu eri Omugole We okwetoloola ensi yonna.

Olwo tuddemu twegattire wamu mu kusaba ku ssaawa 9:00 (mwenda) ez’akawungeezi nga tujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.

SANDE

Nga lunaku olutuukiridde olw’okuwuliriramu n’okulya ku Kuzzibwawo Kw’Omuti Gw’Omugole. Ka tusooke tuzuukuke nga bukyali nga Ow’oluganda Branham bwe yakola ku makya mukwano gwe omuto, kaamukuukulu bwe yamuzuukusa ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’oku makya. Ka twebaze Mukama olw’okuzuukiza Yesu mu bafu:

Ssaawa kkumi n’emu enkya ya leero, mukwano gwange omuto alina ekifuba emmyuufu yabuuse n’agwa waggulu ku ddirisa n’anzuukusa. Kyalabise ng’omutima gwe omutono ogwagala okwabika, nga gugamba nti, “Azuukidde.”

Ku ssaawa 3:00 (ssatu) ez’oku makya tuddemu okwegattira ku lujegere lwaffe olw’okusaba, nga tusabiragana n’okwetegekera okuwulira Eddoboozi lya Katonda.

Ku ssaawa 6:30 (mukaaga kitundu) ez’akawungeezi tujja kujja wamu okuwulira Obubaka bwaffe obwa Paasika: Okuddizibwawo kw’Omuti Gw’omugole 62-0422.

Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana luno, leka tuddemu okwegatta mu kusaba, nga tumwebaza olwa WIIKENDI EY’ENJAWULO GY’ATUWADDE OKUBEERA NAYE WAMU N’OMUGOLE WE MU NSI YONNA.

Eri baganda bange ne bannyinaze emitala w’amayanja, ng’omwaka oguwedde, nnandyagadde okubayita okwegatta naffe ku mikolo gino mu budde bw’e Jeffersonville, olw’ebiseera byonna eby’okusabiramu ku nnyanjulabudde eno n’olw’olutambi olw’okuzannyibwa ku Ssande ku makya. Wabula nkitegeera nti okuzannya Entambi ku Lwokuna, Olwokutaano, n’Olwomukaaga akawungeezi mu budde bw’e Jeffersonville kiyinza okubabeerera ekizibu nnyo abasinga obungi ku mmwe, kale nsaba mubeere ba ddembe okuzannya Obubaka obwo mu kiseera kyonna eky’olunaku ekibanyumira. Wabula, ate, nandyagadde ffenna twegattire wamu ku Ssande ku ssaawa 6:30 (mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville, okuwulira Obubaka bwaffe obwa Ssande nga tuli wamu.

Era njagala okubayita n’abaana bammwe okubeera ekitundu ku mpapula z’okukola eza Creations n’okusomesebwa, n’ebibuuzo bya YF, amaka go gonna bye gasobola okunyumirwa awamu. Tulowooza nti mujja kubyagala anti byonna byesigamiziddwa ku KIGAMBO kye tugenda okuwulira wiikendi eno.

Ku lw’ennyanjulabudde ya wiikendi, okutegeezebwa ku ngeri y’okutegekamu olukuŋŋaana lw’Okussa Ekimu, ebintu ebigenda okwetaagibwa mu pulojekiti za Creations, Ebibuuzo bya Paasika (Quizzes), n’amawulire amalala, laba emikutu wammanga.

Kiba kitiibwa nnyo gyendi okukuyita ggwe n’ab’omu maka go okujja awamu n’Omugole okwetoloola ensi yonna ku wiikendi ejjudde OKUSINZA, OKUTENDEREZA N’OKUWONYEZEBWA. Nzikiriza nti ddala enaaba wiikendi ejja okukyusa obulamu bwo emirembe gyonna.

Ow’oluganda Joseph Branham

Empeereza Audio

Wansi waliwo okubuulira kwa wiikendi ya Paasika. Empeereza y’Ekijjulo/Okwoza Ebigere ku Lwokuna y’emu ku nkola y’okuwanula.

LWAUNA– 6:00 PM (obudde bw’ekitundu)

(EKITUNDU KYA TAPE) + Ekijjulo 57-0418

LWAKUTAANO – 12:30 PM (obudde bw’ekitundu)

Obutuukirivu 57-0419

LWAMUKAA– 12:30 PM (essaawa y’omu kitundu)

Okuziika 57-0420

SSANDE– 12:30 PM (obudde bwa Jeffersonville)

Okuzzaawo Omuti Gw’omugole 62-0422