23-0402 Okukwakkulibwa

Obubaka: 65-1204 Okukwakkulibwa

BranhamTabernacle.org

Ba Kigambo Waggulu Ku Kigambo Abaagalwa,

Amakanisa mangi gasobeddwa, gasoberwa, gatabuddwatabuddwa, gasoberwa olw’okufiirwa, gasobeddwa awatali kumanya kya kukola, gavuyizza era gazzeemu obuvuyo nga beewuunya kiki ekigenda mu maaso ne bano mbu “Abantu b’Entambi” okuva mu nsi yonna buli Ssande.

Kwe Kwegatta Kw’omugole Wa Kristo Okutalabika, nga Atudde mu maaso g’Omwana, nga Ayengera, nga Yeetegeka. Omugole waffe ow’omu Ggulu abadde atubuulira byonna ebikwata ku maka gaffe ag’omu maaso naye.

Wiiki ntono zokka emabega Yatugamba nti: “Ensi eno si Maka go, lusuku Adeni olwa Sitaani, era nja kugizikiriza n’omuliro. Ggwe swiitimutima Wange, gwe nnalonda nga ensi tennatondebwa okubeera Omugole wange. Kati, ku Ssande eno ng’enda kukubuulira byonna ebikwata ku Kukwakkulibwa kwange okubindabinda.”

Tuli wansi w’okusuubira okunene kutya. Tusobola okukuwulira mu bbanga. Ebintu biri mu kutuukawo mangu nnyo.

Ekyo kyennyini Baibuli kye yagamba nti kiribaawo mu lunaku luno, kigenda mu maaso, buli lunaku. Lwaki, kikuŋŋaanyiza ku bwangu obw’ekitalo ennyo ebweru eyo, mu ddungu eryo, n’ebintu ebigenda mu maaso, okutuusa nga sisobola na kwekuumira ku bwangu bwakyo. Tuli kumpi n’Okujja kwa Yesu, okwegatta n’Ekkanisa Ye, Ekigambo we kifuuka Ekigambo.   

Bino byonna bigenda mu maaso ku lwaffe, Omukyala We Omulonde, Omugole w’olunaku luno. Ffe ffekka abalaba ebintu bino nga byebikkula bwanjulukufu.

Atutegese okubeerawo ku mulembe guno era tewali mulala asobola kutwala kifo kyaffe. Kati tuli batabani na bawala Be abayoleseddwa tusobole okussa ekimu naye; ekyo ky’Ayagala.

FFE Kigambo Waggulu ku Kigambo, nsigo ya bulamu ku nsigo ya bulamu, Obulamu waggulu ku Bulamu, era ekigera ekijjuvu eky’Omugole wa Mukama waffe Yesu Kristo.

Bw’oba olina obwetaavu, Bwogere. Ggwe Kigambo waggulu ku Kigambo. Totunuulira buwolongofu butwetoolodde wonna mu nsi; obulwadde, endwadde, ettemu, okuggwaamu essuubi, okugwa eddalu okw’abantu abatamanyi oba basajja oba bakazi. FFE MUGOLE, omugole wa Mukama waffe Yesu Kristo eyategekebwa edda, eyaweebwa obutuukirivu, eyayolesebwa.

Tobaako KY’OTYA. Musanyuke era mujaguze. Ebiseera bisembedde. Twetegeka okuva mu nnyumba eno ey’ebiwuka, KITIIBWA!!!

Jjangu weetegekere Okuwakkulibwa, wamu naffe Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwe Jeffersonville. (Y’essaawa 1:00 (emu) ey’akawungeezi e Uganda). Toliddamu kuba kyekimu.

Owol. Joseph Branham

Zabbuli 27:1-5