23-0326 Okwegatta Kw’Omugole Wa Kristo Okutalabika

Obubaka: 65-1125 Okwegatta Kw’Omugole Wa Kristo Okutalabika

BranhamTabernacle.org

Omukyala Omulonde omwagalwa,

Kiki kye wandiwaddeyo Mukama waffe Yesu ayingire mu maka go ku Ssande eno, atuule mu ntebe yo, akutunuulire mu maaso ayogere naawe butereevu?
Tewandisobodde kwogera. Tewandiyagadde kwogera. Kye wandyagadde okukola kwe kumutunuulira n’okaaba. Wanditidde n’okwasamya akamwa ko. Kiki kyewandyogedde? Mu birowoozo byo wandibadde olowooza, Mukama, sisaanidde yadde n’akatono Ggwe okubeera wano mu maka gange. Nze asembayo wansi mu ba wansi. Nkulemeredde emirundi mingi nnyo Mukama, naye Mukama, nkwagala nnyo.

Olwo wanditegedde mu mutima gwo, Amanyi kennyini kye ndowooza, tewali kintu kyonna kikwekeddwa okuva gy’Ali. Amanyi ebyama byennyini eby’omutima gwange.

Nga bw’oMutunuulira mu Maaso Ge ag’omuwendo, wandirabye okwagala n’okusaasira okungi ennyo. Yandibadde ayogera naawe awatali na kwasamya kamwa ke. Wandibadde olowooza, Mu butuufu Ali wano, mu maka gange, nange.

Omutima gwo gwanditandise okukukuba n’okusingawo, nga bw’omulaba ng’anaatera okubaako ky’akugamba. Omulundi gumu, Eddoboozi erisinga obuwoomu lyewali owulidde lyandigambye nti, “ .
Swiitimutima wange omwagalwa, teweeraliikirira, erinnya lyo liri mu kitabo ky’Obulamu kyange Eky’Omwana Gw’Endiga. Si ekitabo ekikadde eky’okugattibwa kwo okw’obutonde, wabula Ekitabo kyange ekipya eky’Omugole. Y’ebbaluwa yo ey’obufumbo nange.

Asingira mu Baagalwa, tosonyiyibbwa bibi byo byonna n’okulemererwa kwo byokka, wabula ewange, TOLINA MUSANGO. Mu Maaso Gange, tokolangako kibi kyonna.

Ggwe mwana wange ow’omuwendo, ow’empisa ennungi, atalina kibi. Oyimirira nga oli mulongoofu; Omugole wange atagattiddwamu birala anaaziddwa n’Amazzi g’Omusaayi Gwange Nze Mwene.

Nga tewannabaawo wadde omwezi, emmunyeenye oba akatoofaali k’obutonde akasingayo obutono, wali mutabani Wange era muwala wange. Ggwe kwolesebwa okukwatikako mu mubiri okw’ebikula ebyali mu Nze ku lubereberye.

Ensengekera yo ey’omwoyo yali mu Nze kubanga oli kwolesebwa kwa mpisa zange, ebirowoozo byange. N’okuba wali mu Nze nga ensi tennatondebwawo.

Ggwe Mugole Wange ow’omwoyo abadde agalamidde mu Maaso g’Omwana, nga oyengera, ng’owuliriza Ekigambo kyange. Kati otandise okuba n’okudda obuggya, ng’okomawo n’otereera n’Ekigambo kyange. Oli Mugole Wange Omulonde.

Kati olina obumu obw’omwoyo nange. Omubiri gwo gufuuka Kigambo, n’Ekigambo kifuuka omubiri; ekyoleseddwa ne kikakasibwa. Kye nnakugamba kyennyini nti kijja kubaawo mu lunaku luno, kigenda mu maaso, buli lunaku. Ekigambo nga kifuuka Ekigambo.

Olina Okubikkulirwa okwa nnamaddala okw’olunaku luno olusembayo: okukuŋŋaana kw’Omugole Wange awamu olw’Obubaka Buno. Tewali mulembe mulala gwonna gwe nnakisuubiza. Nakikusuubiza, mu mulembe guno: Malaki 4, Lukka 17:30, Omutukuvu Yokaana 14:12, Yoweri 2:38.

Tugenda kuba n’ekijjulo ky’okwebaza Katonda ku Ssande eno lwe ŋŋenda okubabuulira ebisingawo. Nja kumala essaawa naawe, nga tussa ekimu n’okulya ekijjulo ky’Ekigambo kyange. Nja kubakakasa nate nti nga musigala n’Ekigambo kyange, nnabbi Wange, Eddoboozi lyange, nga Munyiga Zannya, muli mu Kwagala Kwange okutuukiridde.

Nabagamba mu Kigambo kyange, nnyimiridde ku mulyango, era nkonkona. Omuntu yenna bw’awulira EDDOBOOZI lyange, n’aggulawo oluggi, ndiyingira gy’ali, ne ndya wamu naye, naye naye wamu nange. Bangi tebajja kuwuliriza baggulewo oluggi lwabwe, naye olw’Okubikkulirwa, ogguddewo oluggi lwo n’onnyaniriza munda.

Tebakkiriziganya na kuzannya Ddoboozi lyange mu masinzizo gaabwe. Singa baleka bulesi Omwoyo Omutukuvu okukebera ebirowoozo byabwe n’Ekigambo, bandikkirizagannyiza nakyo. Leka Kristo, Ekigambo ekyafukibwako amafuta, akebere omuntu wo ow’omunda. Muleke ayingire mu ggwe, olabe oba nga Ekyo kituufu oba nedda. Nnakugamba nti tekijja kuba kibiina ekinaabagatta awamu, tebasobola na kukkiriziganya ku Kigambo kimu oba bibiri mu Baibuli. Nnakugambako nti kijja kuba kibinja kya basajja? Nedda! Nnakugamba nti Bubaka bwa Musajja OMU; era n’owuliriza n’ogonda.

Olw’okuba tebaagala kuwuliriza na kukkiriza nteekateeka yange nnakabala okuva ku lubereberye, nnabaweereza ababuulizi, abasomesa, abatume, abasumba ne bannabbi. Naye baasindikibwa okusonga abantu OKUDDA ku nteekateeka yange nnakabala era etuukiridde, Malayika wange ow’amaanyi. Kubanga lye Ddoboozi lya Katonda gye muli.

Bafukiddwako amafuta, naye nze nnina OMUBAKA NABBI OMU yekka OKUBAKULEMBERA. OMWOYO OMUTUKUVU YE NABBI. Sikugambye emirundi mingi, EKIGAMBO KYANGE EKYAYOGERWA OKUYITA MU YE TEKYETAAGISA KUVVUUNULWA, TOYOGERAKO OBA TOTOOLAKO KINTU KYONNA KU KYAYOGEDDE, YOGERA BWOGEZI KYEYAYOGERA KU NTAMBI EZO? Oyo ye nnabbi, Omwoyo Omutukuvu nga Abakulembera.

Y’oyo gwe nnatuma okukuyita obeere Omugole Wange. Y’oyo agenda okukwanjula gyeNdi. Y’oyo gwe nnayimirira naye nga mmulaga ekifaananyi nga bw’olifaanana, Omugole Wange. Nnakubuulira byonna ebimukwatako mu Kitabo ky’Okubikkulirwa bweNnagamba nti, Nze Yesu ntumye MALAYIKA WANGE okubategeeza ebintu bino MU MAKANISA MUNDA. Ye NZE, omubiri gwe n’eddoboozi lye nkozesa bikozese okwogera naawe.”

Nga lunaku lwa kitalo nnyo lwe tulimu awamu naye. Tetubangako basanyufu kusingawo oba abamativu okusingawo mu bulamu bwaffe. Kino kye KYO. Kino kye tubadde tulinze obulamu bwaffe bwonna.

Tewali kisiikirize kya kubuusabuusa mu mitima gyaffe oba mu birowoozo byaffe. Kubanga na buli Bubaka bwe tuwulira, Atugamba nti tuli mu Kwagala Kwe okutuukiridde. Waliwo Eddoboozi limu lyokka erijja okubagatta, okubatuukiriza, n’okubaleeta awamu…Nze, NZE NGA NJOGERA NGA MPITA MU NABBI WANGE. SSI BIGAMBO BYE, EBIGAMBO BYANGE. LY’EKKUBO LYANGE LYENTADDEWO.

Emmeeza etegekeddwa bwanjulukufu. Ejjudde emboga, enva endiirwa eza buli langi n’ekikula…KIGAMBO KU KIGAMBO, KU KIGAMBO. Tugenda kuba n’ekijjulo ky’okwebaza Katonda nga bwe kitabangawo. Wagenda kubaawo jubileewo okwetoloola ensi yonna ng’Omugole akuŋŋaana okwetooloola Emmeeza zaabwe okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga lyogera nabo. Amaka gaffe n’amakanisa gaffe gajja kujjula okubeerawo Kwe. Ebigambo bijja kutubula okuggyako zi Kitiibwa kya Mukama zaffe, zi Aleluuya, ne zi Erinnya Lya Mukama lyebazibwe.

Jjangu obeere ekitundu ku Lukungaana lw’Okwebaza Amaka g’Omugole, nga bw’atuliisa. Tolwawo, kuba tugenda kutandika okugabula ku Ssande, ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwe Jeffersonville. (Y’essaawa 1:00 (emu) ey’akawungeezi e Uganda). Ajja kubeerawo, kubanga yaŋŋambye nti ajja kubaawo.

NJIJA era nja kuba mbabuulira byonna ebikwata ku Okwegatta Kw’Omugole Wa Kristo Okutalabika 65-1125.

Tujja kulabagana wali ku Mmeeza.

Owol. Joseph Branham

(Oba Oyinza Okumuyita): Mukyala We Omulonde