23-0108 Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaayo

Obubaka: 65-0718e Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaayo

PDF

BranhamTabernacle.org

Abanoonya Eby’obugagga Eby’omuttaka Ebikusike Abaagalwa,

Waliwo oluzzi olw’ensulo olw’Okubikkulirwa oluvululira munda muffe nga bwekitabangawo. Tuwulidde Obubaka buno obulamu bwaffe bwonna, era bulijjo tukkirizzanga buli Kigambo, naye KATI kyoleseddwa mu ffe nga bwekitabangawo.

Kaakano ky’ekiseera, kaakano z’entuuko mwetulya ku bintu bya Katonda eby’ekyama ebikwekeddwa okuva eri ensi.  Ekintu abantu kyebasekerera ky’ekintu kyetusabirira. Ekintu abantu kyebayita “eky’obuzoole,” tukiyita “ekikulu ennyo!” Katonda Atubikkulidde nti waliwo ekkubo limu lyeYateekawo okubeera Omugole We, NYIGA ZANNYA.

Naye Katonda Yeebazibwe, tulina Emmere Eyakwekebwa, Emmere ey’omwoyo, nti tubeera mu bulungi n’ekisa eky’okubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu nnaku zino ez’oluvannyuma, nga Yeekakasa mu masekkati g’abantu Be.

Na buli Bubaka bwetuwulira, Atukakasa nti Kwe Kwagala kwe okutuukiridde. Si KYETULOWOOZA nti ky’Agamba, oba KYETULOWOOZA nti kyeKitegeeza, WABULA KYENNYINI ky’Ayogera era abalala tebasobola busobozi kuKiraba; bazibe b’amaaso.  Katonda AKikwese. BaKitunuulira, naye nebataKiraba. Eri ffe, KYETULABA KYOKKA.

Nga bwetukuŋŋaana buli sabbiiti, kumpi tetusobola kulinda kuwulira ky’Agenda okutugamba n’okutubikkulira. Ssande eno, Tagenda kutubajjulirako bubajjo ku ky’obugagga ekyomuttaka ekyo, Agenda kukitusimirayo kyonna AKYABIZE mu maaso gaffe nga bw’Addamu okukakasa nti tuKifuna.

  Bannabbi b’omu Ndagaano Enkadde, oba ebiseera ebirala byonna, baabeeranga mu Kubeerawo kwa Katonda okutuusa lwe baafuukanga Ekigambo, n’Obubaka bwabwe nga Kigambo kyennyini. Era, jjukira, yagamba nti, “BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA.”

  Tulaba nti omusajja bw’ajja, nga atumiddwa okuva eri Katonda, nga yayawulibwa Katonda, nga alina BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA yennyini, obubaka n’omubaka byombi biba ekintu kimu.

  Mu ngeri y’emu omuntu bw’ajja ne BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA, ye n’Obubaka baba bali kimu.

  Obwengula bukirangirira, Bayibuli ekirangirira, Obubaka bukirangirira, byonna ekintu kye kimu.

  Nnabbi, Ekigambo, Obubaka; omubaka, Obubaka, n’Obubaka, byali ekintu kye kimu.

  Omuntu yenna n’obubaka bwe baba bali omu.

Yogera ku kirombe kya Zaabu.

Bw’oba nga olina Obukikkulirwa waakiri okutonotono, ndowooza ekyo akilambika butangaavu ddala; Obubaka n’omubaka biri ekintu kye kimu. Owulira kyeyagamba…BYE BIMU!! Olwo nno tosobola kwawula mubaka ku Bubaka, abaweereza.

Olina okuteeka OMUBAKA mu kkanisa yo wamu n’OBUBAKA bweyaleeta ekitali ekyo oba tosembezza BUBAKA BWONNA. TOBA MUGOLE.

Ha! Nate, kifuula Obubaka n’omubaka okuba ekintu kimu. Emmere ey’Omwoyo ewedde okutegeka, era zino ze ntuuko Zaayo kati.

Kulwaffe, abakkiriza essaawa ya Katonda gyetulimu, Omubaka gweYatuma, buli Kigambo kyeyayogera; ebintu bino Mmere eyakwekebwa.

Nga twagala nnyo Obubaka, era ng’okyalowooza nti, “wayinza watya okubaayo ekisinga kino?” Akitikkira ejjinja ery’okuntikko nga Atugamba kyetuli kati.

Temulaba buyinza bwa Katonda omulamu mu Kkanisa ennamu, Omugole? Abalwadde bawonyezebwa, abafu bazuukizibwa, abalema batambula, bamuzibe balaba, Enjiri efulumira mu maanyi gaayo, kubanga Obubaka n’omubaka biri kye kimu. Ekigambo kiri mu Kkanisa, mu muntu.

Ekigambo Ekyo MU FFE. Ffe Bubaka. Tulina obuyinza. Obubaka naffe tuli kye kimu!! Yogera ku kuvulula nga bwetuddamu nga bwetuddamu nga bwetuddamu.

Omugole omukazi kitundu ku Bba, Ekkanisa eri kimu ne Kristo. “Emirimu gye nkola nammwe gye mulikola.”

Tuli kitundu ku Balo!!

FFE BAMU NE KRISTO!!

Mulowooza kiwulikika bulungi kati, era kiwa omutima gwo omukisa nga tusoma okunokola kuno, lindirira bulindirizi okutuusa ga owulidde Eddoboozi Lya Katonda nga libikugamba kamwa ku kutu Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda). nga tuwulira: 65-0718E Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaaayo.

Oyanirizibwa okujja okutweyungako. Bw’oba tosobola, NYIGA ZANNYA ekiseera kyonna kyonna, Obubaka bwonna, ekifo kyonna, era owulire Omubaka wa Katonda nga Akuleetera Obubaka bwa Katonda.

Owol. Joseph Branham.

Bwe kityo bwe kiri ne leero, ab’emikwano. Bwe kityo bwe kiri ne leero, nti Omugaati gw’Obulamu abaana gwe balyako, gwe gugoberera Obubaka bwa Katonda, okusobola okubabeezaawo mu kiseera eky’ekyeya.

Ebyawandiikibwa eby’okusoma

1 Bassekabaka 17:1-7 Amosi 3:7 Yoweeri 2:28 Malaki 4:4 Lukka 17:30 Omut. Yokaana 14:12