23-0305 Edeni Ya Setaani

Obubaka: 65-0829 Edeni Ya Setaani

BranhamTabernacle.org

Abaana Bange Abaagalwa,

Muli kikula kyange, Nze Kitammwe ow’omu Ggulu. Mwali mu Nze okuva ku lubereberye. Temukijjukira kati, naye mwaliyo eyo nange. Kale nnayaayaananga okubamanya kuba nali njagala okubakwatako, Njogere nammwe, Mbaagale, era mbasikeko mu mikono.

Nga omwana wange, oli kitundu ku nze, ekyafuuka omubiri, nga nange bwe nnafuuka omubiri, bwe tutyo tusobole okuba n’okussa ekimu ekimu buli omu ne munne nga ab’enju ya Katonda ku nsi. Ekyo kye kyali ekigendererwa kyange era kye nnali njagala okuva ku lubereberye.

Nakukolera Olusuku Adeni tusobole okussa ekimu, naye omulabe Wange n’asensera n’obulimba, ne yeddiza ensi eno okuyita mu kukuvvuunulira obubi pulogulaamu Yange.

Ekiseera ky’olimu kiseera kya kuliirwamu olukwe, naye era kye kiseera ekisinga okuba eky’ekitiibwa mu mirembe gyonna, kubanga kati oyolekedde Emyaka Olukumi emikulu nate; ozzeemu okwolekera Adeni.

Omwoyo wange si kintu ekikusomesebwa okukuyingiramu. Kye kintu kye nnategekerawo okukuyingiramu olw’okumnya kwange okwasooka olw’Omukono gwange ogw’amaanyi. Kati okuyita kwange okusembayo kugenda mu maaso okukwata Omugole Wange; “Mubafulumemu, mweyawule”.

Leero tebagezaako kunyweza Kigambo kyange mu mitima gy’abantu, bagezaako kwenywezaayo. Amakanisa gagezaako kusimba njigiriza zaago mu mutima gw’omuntu. Buli omu mbu, “Nze nnakola kino. Nze, nze, ebyange, eddiini yange, nze, kino.” Be bali mu kwessaawo so si Kigambo kyange ekyayogerwa okuyita mu nnabbi wange.

Tekikwetaagisa kutegeera buli kye njogera, olina bubeezi kukikkiriza kubanga kyekyo kye nnayogera, era ekyo kimala eggobe mu kibya lubeerera.

Omwoyo wange Omutukuvu ali mu kukolera mu ggwe. Bulamu obuli mu ggwe, so si nneewulira; si kika kya bujulizi obw’omubiri obw’engeri emu, naye Ye Muntu, NZE, Yesu Kristo, Ekigambo kya Katonda, nga kinywezeddwa mu mutima gwo, era kireetera buli Kigambo eky’omulembe guno okuba ekiramu. Y’Omwoyo Wange Omutukuvu nga Akolera mu ggwe okusinziira ku Kigambo.

Omugole wange eyasooka yalemererwa olw’okuba yawuliriza okuteesa kwa Sitaani, naye nkwenunulidde nze Mwene, nga kye Kigambo ekyafuuka omubiri. TOJJA KUNJIWA. Ggwe Mugole Kigambo Wange embeerera atajja kuwuliriza kuteesa kwa Sitaani. Ojja kusigala n’Ekigambo kyange.

Emyaka Olukumi nga giweddeko, walibaawo Adeni nate; Obwakabaka bwange obunene bujja kuzzibwawo. Nalwanyisa Sitaani mu lusuku Gesusemane, ne mpangula ne nneddiza Adeni, olusuku lwange. Kati ŋŋenze okubateekerateekera Adeni yammwe Empya mu Ggulu. Nja kuba mbacima mu bbanga ttono nnyo, n’olwekyo emitima gyammwe tegyeraliikiriranga.

Nga tewakyali nnyanja; nga eggulu erisooka n’ensi eyasooka
biweddewo. Nja kugiddaabiriza n’okubatiza kw’Omuliro okujja okutta buli buwuka, buli bulwadde, buli ndwadde, obucaafu bwonna obwali bubadde ku nsi.

Eritutunukayo, eveeyo nga Nsi Mpya. Eggulu lino eryasooka, n’ensi eno eyasooka, bijja kuba bivuddewo. Wajja kubaawo Yerusaalemi Empya ekka okuva mu Nze okuva mu Ggulu. Omwo mwendibeera nammwe, enkula zange entuufu, Batabani bange ne bawala bange. Tulissiza kimu mu butukuvu, nga amaaso
gammwe gazibiddwa obutalaba kibi kyonna.

Nkomyewo nate gye muli nga bwe nnabasuubiza nti bwendikola. Nkuumye Ekigambo kyange gyemuli. Nsiimye Ekigambo kyange okukwatibwa ku ntambi za magineeti bwekityo waleme kubaawo butategeeragana, mpaawo kubuusabuusa, wabula Ekigambo kyange ekirongoofu kulwammwe; kubanga Kiri Bw’atyo Bw’Ayogera Mukama.

Mukuume emitima gyammwe nga mirongoofu. Mukuume emitima gyammwe nga gibikkiddwako. Amaaso gammwe mugakuume nga gabikkiddwako obutalaba bintu by’ensi okufuuka omuntu ow’ettutumu.

Temwerabira, nja kukyukira ebugwanjuba nziremu nkomewo, olumu ku nnaku zino. Okutuusa mu kaseera ako, Twalanga Erinnya lyange; Lijja kukuwa essanyu era likugumye, Litwalenga, wonna w’olaga, ng’onyiga zannya.

Tewekkiriranya na Kigambo kimu. Ekigambo kyange ku lutambi tekyetaaga kuvvuunula. Oli kitundu ku Nze, enkula Yange. Ensi eno lusuku Adeni olwa Sitaani, naye nkukoledde Adeni Empya mwe tunaamala obutaggwawo nga tuli wamu. Okutuusa mu kaseera ako, mwekuŋŋaanyize ku Kigambo kyange. Mwagalanenga.

Mujja mubeegatteko ku Branham Tabanako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda), era muMpulire nga njogera nga mpita mu nnabbi Wange omulonde era mbikkule Ekigambo kyange nga bwe muwulira; Olusuku Adeni olwa Sitaani 65-0829.

Ku lulwE,
Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma:
2 Timoseewo 3:1-9
Okubikkulirwa 3:14
2 Abasessaloniika 2:1-4
Isaaya 14:12-14
Matayo 24:24