23-0226 Akasengejja K’omuntu Alowooza

Obubaka: 65-0822E Akasengejja K’omuntu Alowooza

BranhamTabernacle.org

Ekibiina ky’Ow’oluganda Branham Abaagalwa,

Nnandyagadde okwaniriza ensi okutwegattako ku mukutu Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda), nga ffe Empungu tukuŋŋaanira awamu mu emu ku kkanisa za nnabbi buli square mayiro ebikumi bibiri. Tujja kuwulira Katonda ng’Ayogera ng’Ayita mu mubaka malayika We ow’omusanvu era atubuulire nti:

Obubaka buno, n’Obubaka obulala bwonna bwe njogerako, busindikibwa eri ekibiina kyange. Si bwa kibiina kyo okuggyako nga baagala okubufuna. Naye busindikibwa eri abantu bano wano.

Ayogera naffe, EKITIIBWA, ekibiina kye. Si mmwe abagamba nti, “Ow’oluganda Branham ye nnabbi, naye si ye musumba wange. Omusumba waffe agamba nti okuzannya entambi mu kkanisa tekikwatagana na Kigambo kya leero.” “Omusumba waffe atugamba nti tulina kuwuliriza ye. Okusinziira ku Kigambo, atukulembera nga akozesa Omwoyo Omutukuvu kati.”

Nabbi yakugamba, ggwe n’omusumba wo.

Eri abaweereza bonna mu kifo kyonna, essaawa yonna, kino tekyogerwa obutassaamu kitiibwa njigiriza zammwe, kino n’okuba tekitunuuliziddwa eri ndiga zammwe.

Tetwagala kubateganya ab’oluganda ne bannyinaze. Tukitegeera, Tekitunuuliziddwa eri mmwe, wabula eri ffe, abakkiriza nti Omwoyo Omutukuvu ataddewo omubaka malayika we ow’omusanvu okubeera omusumba waffe n’okutukulembera, ffe ekkanisa Ye. Tukkiriza nti okuzannya entambi LY’EKKUBO LYOKKA ETTUUFU. Oli mutuufu mu kukola ekyo nnabbi wo yakugamba GGWE okukola:

Era bulijjo mbajuliza, bwe baba nga ba mmemba b’ekkanisa emu, nti “Laba omusumba wo.”

Olina okukola nga omusumba wo bw’agamba.

Olwo nnabbi n’agamba omusumba wo omulundi omulala, okukakasiza ddala nti akitegeera.

Kati, omusumba, njagala okimanye nti, nti, kino kiri eri kibiina kyange kyokka kye ŋŋamba ebintu bino. Era nnina eddembe okukola ekyo, kubanga nateekebwawo Omwoyo Omutukuvu okukuuma endiga zino.

Atumiddwa okutukuuma, endiga ze; abo Katonda b’Atadde mu BULABIRIZI BWE. Omwoyo Omutukuvu ye musumba waffe nga bw’Ayogera naffe era nga atukulembera buli lunaku n’Eddoboozi lye eryakakasibwa.

Kino Mukama ky’atukulembera okukola. Tetukuwakanya ggwe oba omusumba wo, oba engeri gy’owulira ng’okulembeddwamu Mukama okukola. Buli muntu alina okukola nga bw’awulira nti Mukama bw’Amukulembera okukola okusinziira ku Kigambo.

Tulina akasengejja kamu, OBUBAKA BUNO. Buli kye tuwulira kirina okuyita mu kasengejja ako. Eddoboozi lye tuwulira ku ntambi lye ddoboozi lyokka lye tulina obwesige kikumi ku kikumi okubeera Bwatyo Bw’Ayogera Mukama.

Okkiriza nti okufukibwako amafuta okwo okuli ku bantu abo kitegeeza nti kwe kufukibwako amafuta kw’Omwoyo Omutukuvu?” Yee, ssebo, Omwoyo Omutukuvu wa Katonda owa nnamaddala ku muntu, kyokka ate nga omuntu oyo wa bulimba.

Enkomekkerero yaffe ey’olubeerera esinziira ku bye YAYOGERA KU LUTAMBI, so si omusajja omulala yenna oba ekibinja ky’abasajja kye boogera. Bwe tutyo, tetusobola, era tetujja kuwulira mulala yenna. Omuntu yenna ayinza atya okukizannyiramu zzaala?

Mujje mwekuŋŋaanyize wamu naffe n’okusingawo ennyo nga bwe mulaba olunaku nga lusembera.

Abantu basobola okutuula ntende mu maka gaabwe oba mu…ne bakuŋŋaanira mu bifo byabwe, mu makanisa gaabwe, n’ebirala, ne bawulira ssaaviisi.

Ekyo, bannange, okusinziira ku nnabbi wa Katonda, si okusinziira ku kuvvuunula kwa muntu omu ku Baibuli by’eyogera, kwe kwekuŋŋaanyiza awamu ku Kigambo n’okusingawo ennyo nga bwe tulaba olunaku nga lusembera.

Essanduuko omutali Katonda eba egasa ki? Kiba kisanduuko busanduuko eky’embaawo, emmeeza bbiri ez’amayinja.

Jjangu okuŋŋaane naffe nga bwetuwuliriza akasengejja Katonda ke yatuwa, nga bw’Atuleetera Obubaka: Akasengejja K’Omuntu Alowooza 65-0822E.

Owol. Joseph Branham

Kebera ky’olwanirira. Kebera ekikubeezezza wano. Kebera ekikutwala mu kkanisa. Ekikufuula…Kirungi okugenda mu kkanisa, naye togenda bugenzi ku kkanisa kyokka; ekyo tekijja kukulokola.