23-0219 Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye.

Obubaka: 65-0822M Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye.

BranhamTabernacle.org

Ekisibo kyange Ekitono,

Mbalamusaako mmwe nammwe abali ku mukutu guno ogw’amasimu, omulungi ennyo ddala. Nneebaza nnyo Mukama nti musobola okutuula ntende mu maka gammwe, ne mukuŋŋaanira mu bifo byammwe, mu makanisa gammwe, ne muwulira ssaaviisi. Yonna eyo eddoboozi lyange gyeliri mu kubatuukako, akabinja ako akatono kaweebwe omukisa.

Leero, njagala okubawandiikira akabaluwa k’omukwano akatono okuva ku mutima gwange okubazzaamu amaanyi. Yemmwe Katonda be yalonda okubeera Omugole we nga ensi tennatandikibwawo; mmwe abali mu kuwuliriza entambi zino. Mbagambye emirundi mingi nnyo, entambi zino zammwe mwekka, mmwe kibiina kyange. Sivunaanyizibwa ku Katonda bye yawa abaweereza abalala okusumba; Nze nvunaanyizibwa ku Mmere kika ki gye mbaliisa, ekyo kyokka. Entambi zino zammwe, weema yange yokka, Katonda b’Ampadde okusumba. Ye Mmaanu eyakwekebwa, omulala tasobola KuGilya.

Kati, abantu abamu bwe baba baagala okutabika-tabika emmere n’ebintu ebweru eyo, okubikkulirwa bakufune kuva eri Katonda era bakole Katonda ky’abagamba okukola, balye ku mmere yonna gye baagala. Nja kukola ekintu kye kimu. Naye Obubaka buno bwammwe mwekka.

Nfuba nga bwe nsobola okusigala butuufu n’Ekigambo, ku lwammwe abateekeddwa mu mikono gyange okuva eri Katonda, ’kubanga endiga zaagala mmere ya ndiga. “Endiga zange ziwulira Eddoboozi lyange.” Era ekyo ky’ekitubeezawo, buli Kigambo ekifuluma. Si Kigambo kimu leero ne luli, wabula buli Kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda. Ekyo ky’ekibakuuma mmwe abatukuvu nga muli balamu.

Buli muntu alina okuba n’ekintu kyeyeenywerezaako. Ekintu ekimu kirina okuba nga ye nkondo, mu njogera endala, ekisukkulumu mu byonna. Era buli muntu alina okuba n’ekisukkulumu mu byonna oba abusoluuti. Eri nze, n’eri abo be nsuubira nti nkulembera eri Kristo, era ku bwa Kristo, Baibuli ky’ekisukkulumu kyaffe mu byonna.

Kati, tukizuula nti Katonda yatutumira bannabbi be. Eyo y’engeri gy’alina ey’okuleetamu Ekigambo kye eri abantu, ng’ayita mu mimwa gya nnabbi we. Kati mu nnaku zino ez’oluvannyuma, Asuubizza okweyolesa mu bujjuvu nate, obw’omubiri gwe, mu Mwoyo. Ye Katonda Mwene mu ngeri y’ennukuta, mu ngeri ya nnabbi, nga Ayoleseddwa mu mubiri.

Nteekwa okubeera ntakera mu Maaso g’Omuwandiisi nga ne bbayiro yange ngitegese ekiseera kyonna okukoloboza wansi kyonna ky’ayogera. Ebirowoozo byange biteze (ng’omuntu bw’atega leediyo), biteze birowoozo bye; si omuntu ky’alowooza, omulembe kye gulowooza, ekkanisa ky’elowooza, obwakabaka kye bulowooza. Birowoozo bya Katonda byokka! Kyenkola kyokka kwe kutegeeza ebirowoozo bya Katonda mu ngeri y’Ebigambo.

Katonda bw’Ambikkulira ebirowoozo Bye, mbibategeeza mu ngeri y’Ebigambo byempisa ku lutambi, nti “BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA!” Tekiri, “Bwenti bwe Njogera.” Kiri, “BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA!” Nsobola kuKivvuunula nga Omuwandiisi bw’Aba Aŋŋanyizza okuKibavvuunulira; kubanga Kye Kigambo kya Katonda eky’obwa nnantakola nsobi.

Waliwo n’abalala bangi abagezaako okwefuula nze, nga bakabona, n’abalala. Era bakola ki? Babivuya buvuyi, kye kyokka. Tewali ngeri gyebakisobolamu yadde. Katonda yantuma, nze nnabbi We, okukulembera Omugole We; si musajja mulala, oba si kibinja ky’abasajja.

Ebigambo bye njogera, n’engeri gye nneeyisaamu, bijja kuziba abalala amaaso, naye bizibule amaaso g’abalala. Yannyambaza ekyambalo kye nnali ow’okwambalanga, obutonde bwange, ekigendererwa kyange, buli kimu nga kiri nga ddala bwennina okuba. Yannonda butuukirivu ddala kulwammwe. Abalala baalinga baakuyimirira batunule bagambenga nti, “Kale, sisobola. Waliwo…nze—sisobola kulaba.” Baazibibwa amaaso.

Ajja kubikkulira oyo gw’anaakibikkulira. Yeewunda bw’ati, nti Asobola okwekweka mu Byawandiikibwa, okuva eri abaasomerera ebya Katonda abasinga obugezi betulina. Asobola okwekweka obwekwesi, n’atuula awo wennyini mu Kyawandiikibwa, era basobola okutunula olunaku lwonna ne batakiraba yadde; ne bakinoonyeza obulamu bwabwe bwonna, ne batakiraba yadde. Asobola okwekwekako ka bwekwesi, ng’Atudde awo.

Ensonga enkulu kati eri nti abo abafuna Obubaka mu mitima gyabwe, bateekwa okugalamira mu Maaso g’Omwana, okwengezebwa. Munyige Zannya olwo muleke Omwana Abamamirire omusana gubamalemu bu ka kiragala, abafuule Abakristaayo abengevu.

Bwe yajja omulundi ogwasooka, yali musajja. Bw’ajja omulundi ogw’okubiri; ng’alina omugabo ogw’emirundi ebiri, yali musajja. Bwe yajja mu ngeri ya Yokaana Omubatiza, yali musajja. Yasuubiza okujja mu lunaku luno Atambulirenga era Yeebikulirenga mu musajja omu omulundi omulala; Omwana w’omuntu oli nga abeera mu mubiri gw’omuntu ow’okunsi.

Kati tuli mu mulembe gw’Eriiso, ogw’obunnabbi, ogwa Malaki 4. Tewali kirala kikyasigaddeyo kyo okujja okuggyako Ye yennyini okukka n’Ayingira mu ekyo, ’kubanga ekyo kye kintu ekisembayo ekiriwo.

Muwulirize, obuliga bwange obuto, mmwe Katonda b’Ampadde okusumba. Essaawa ya kikeerezi. Ajja mangu ku lwammwe, Omugole we. Musigale n’entambi ezo, tekyetaaga kuvvuunula.

Mbaaniriza mmwe obuwungu obuto mujje munneegatteko nga twegatta n’ekintu kyokka ekigenda okugatta Omugole We Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 2:00 (bbiri) ez’ekiro e Uganda). Ojja kuwulira Bwatyo Bw’ayogera Mukama nga Katonda ayogera okuyita mu nze nga Abikkula: Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye 65-0822M.

Jjukira, SIGALA N’OBUWEEREZA BW’OLUTAMBI. NYIGA ZANNYA BULI LUNAKU.

Ow’oluganda Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Okuva 4:10-12
Isaaya 53:1-5
Yeremiya 1:4-9
Malaki 4:5
Omut. Lukka 17:30
Omut. Yokaana 1:1 / 1:14 / 7:1-3 / 14:12 / 15:24 / 16:13
Abaggalatiya 1:8
2 Timoseewo 3:16-17
Abebbulaniya 1:1-3 / 4:12 / 13:8
2 Peetero 1:20-21
Okubikkulirwa 1:1-3 / 10:1-7 / 22:18-19