22-0918 Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Ggulu N’Omugole Omukazi Ow’Oku Nsi

Obubaka: 64-0802 Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Ggulu N’Omugole Omukazi Ow’Oku Nsi

PDF

BranhamTabernacle.org

Mikwano Gya Nabbi Abaagalwa,

Omutima gwange guvulula olw’essanyu bwe ndowooza ku ffe okukuŋŋaana awamu ku Ssande eno okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe. Tewali ssanyu lisinga mu bulamu bwange okusinga okubeera mu maaso g’Omwoyo Omutukuvu ne mmuwulira ng’ayogera n’Omugole we, mumwa ku kutu.

Tewali kirala mu nsi eno ekindeetera essanyu n’emirembe, wabula Ekigambo kye. Bwe mpulira obuwulizi nti, “Amakya Amalungi Mikwano,” nneetuulira bwetuulizi ntende, ne nzikakkana, ne nnywa okuva mu Luzzi olwo olw’ensulo nga Lwogera nange Ebigambo by’Obulamu Obutaggwaawo. Okulowooza nti, Katonda yamututumira NZE NAAWE, era tuli MIKWANO gya nnabbi era omubaka wa Katonda.

Atwagala nnyo okutuusa nti yatuma nnabbi we okutubuulira byonna ebikwata ku Maka gaffe Agajja. Yali musanyufu nnyo okutubuulira byonna ebigakwatako, n’okuba mu bulambulukufu obungi n’okukira ku Yokaana byeyategeezebwa. Yatubikkulira nti, Si kibuga ekiri mu kikula kya sikweya, wabula kibuga kya piramidi, Omwana gw’endiga mw’anaabeereranga ku ntikko era nga ye Kitangaala ky’ensi.

Yatutegeeza nti enguudo zigenda kukolebwa mu zaabu ate n’amayumba mwe tusula gajja kuba ga zaabu omutangaavu. Kaakano Ateeka buli kantu akatono ddala mu ngeri ddala enaakatwegombesa, gyetwandikaagaddemu. Talina ky’Atakoze. Omwolesi w’endabika z’ebizimbe ow’obwakatonda agizimbidde FFE ffekka, Abaagalwa we.

Emiti egy’Obulamu gijja kubeerayo, era giribala ebibala eby’empooma ez’enjawulo kkumi na bbiri. Emiryango gy’ekibuga tegiriggalwawo ekiro, kubanga teriba kiro eyo, y’ajja okuba Omusana gwaffe.

Ani agenda okubeerayo?

Abo abaavaayo okuva mu nsi empya wamu ne Nuuwa nnabbi? Abo abaayingira naye mu lyato. Ekyo kituufu? Abo be bakitambulirako. Okiraba? Abo abayingira ne Nuuwa, olw’obubaka bwe, be baatambulira ku nsi empya oluvannyuma lw’okubatizibwa kwayo n’mazzi.

Ayogera ku ffe bannange! Tuli mu Lyato lyaffe olwaleero; Ekigambo kye, Obubaka buno, ne nnabbi Nuuwa waffe. Era eyo ku mutala guli mu Nsi eyo, Ekibuga ekyo Omwana gw’endiga gy’ali Omusana, ajja kuba atumanyi. Tuli bantu be, amayinja ge ag’omuwendo mu ngule. Tuvudde mu Buvanjuba ne Bugwanjuba, ne tujja eri Ekibuga ekyazimbibwa nga obugazi bwakyo n’obuwanvu ku ttaka byenkana. Ekibuga ekyo Ibulayimu kye yali anoonya.

Nga bwe ndaba Ekigambo nga kyekakasa, nkimanyi, awatali kisiikirize na kimu eky’okubuusabuusa, nti amayinja ag’omuwendo ag’engule yange gajja kwakayakana okukira buli kimu mu nsi, ku lunaku olwo.

Tusobola n’okutandika okuteebereza… Nnabbi wa Katonda yagamba nti, YAMANYA, awatali kisiikirize na kimu eky’okubuusabuusa, nti FFE mayinja ag’omuwendo ag’engule ye, era tujja kwakayakana tukire buli kimu mu nsi ku lunaku olwo. Aleluya… Ekitiibwa…Erinnya lya Mukama Lyebazibwe.

Mikwano, bwe tuba tulowooza nti kya kitalo kati, okutuula awamu okuva mu nsi yonna, nga tuwuliriza era nga tulya ku Ekigambo kye mu ntambi zino, kinaaba kitya nga tubeera mu Kibuga ekyo wamu naye!

Nnabbi wa Katonda ajja kuba muliraanwa waffe ow’oku muliraano. Tujja kulya naye ku miti egyo, era tujja kutambulira wamu mu nguudo ezo. Tujja kwambukira mu nguudo ezo eza zaabu paka ku nsulo, tunywe ku nsulo eyo, tutambule twesogge obulimiro bw’ebimuli bwa Katonda, nga Bamalayika beeyiye wonna ku nsi, nga bayimba ennyimba.

Oh, nga luliba Lunaku Lulungi! Lujaamu byonna. Ekkubo lirabika nga ery’akazeerezi n’ebinnya, oluusi bikuufa bizibu nnyo, naye, oh, bijja kundabikira nga buntu butono nnyo bwendimulaba, butono nnyo. Agannyannya agabi agakuyitibwa n’ebintu bye boogedde, ebyo byonna binaaba kiki nga mmulabye mu Kibuga ekyo ekirungi, ekirabika obulungi ekya Katonda?

Mikwano, kumpi sisobola kulinda kulaba, n’okubeera mu Kibuga ekyo. Nneegomba okubeerawo ne Mukama waffe era Omulokozi waffe, ne nnabbi we, era na buli omu ku mmwe.

Ŋŋenda mu Kibuga ekyo ekirungi
Mukama wange ky’ategekedde Ababe;
Eyo Abanunule ab’emirembe gyonna
Gyebayimbira “Ekitiibwa!” okwetooloola Nnamulondo Enjeru.
Oluusi mba awo ne nsubwa nnyo eggulu, .
N’ebitiibwa byalyo Nze byendilabira eyo;
Nga liriba ssanyu nga Omulokozi wange mukubyeko emmunye, .
Mu Kibuga ekyo ekirungi ekya zaabu!

Nnyaniriza ensi okujja okutwegattako, mikwano gya nnabbi, nga tukuŋŋaana okwetooloola Nnamulondo ye okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tumuwulira ng’atubuulira byonna ebikwata ku: Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’omu Ggulu N’omugole Omukazi Ow’okunsi 64-0802. Nsobola okukusuubiza, lujja kuba lunaku lwa Kijjulo Makeke mu bulamu bwo.

Owol. Joseph Branham

Omut. Matayo 19:28
Omut. Yokaana 14: 1-3
Abeefeso 1:10
2 Peetero 2:5-6 / Essuula ey’okusatu
Okubikkulirwa 2:7 / 6:14 / 21: 1-14
Eby’Abaleevi 23:36
Isaaya Essuula ey’okuna / 28:10 / 65:17-25
Malaki 3:6