22-0925 Okukakasa Ekigambo Kye

Omunnyo Gw’ensi Abaagalwa,

Awo wennyini nga kirabika nga ekitayinza kusingawo bulungi, Atuwa omuzingo gw’olutambi ogujjuddemu Okubikkulirwa okungi. Tulina okukiikirirwa okuva mu kuteekerwateekerwa. Eyo y’ensonga lwaki tuva ebuvanjuba n’obugwanjuba, obukiikakkono n’obukiikaddyo, okuwulira Ekigambo ekiramu nga kyolesebwa.

Katonda bwe yatonda ensi, twali mu ndowooza ye. Omuloopi waffe bw’akanya okutusongako engalo n’agamba Kitaffe nti, “baakola kino, baakola kino, baakola kino,” Omusaayi gwa Mukama waffe Yesu gutubikka. Bwe tuba tusaba, Katonda tatulaba, awulira buwulizi ddoboozi lyaffe ng’ayita mu Musaayi gwa Yesu.

Sitaani tasobola kututeganya; oba, asobola okukema, naye tasobola kufuna Mukristaayo eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri. Kubanga, Katonda, okuva ensi lwe yatondebwa, yamulaba, n’atuma Yesu okumununula, era Omusaayi gwogera ku lulwe. Ayinza atya okwonoona nga tekisobola kulabibwa, n’okuba, Katonda okukiraba? N’okuba ta…Ekintu kyokka ky’awulira lye ddoboozi lyo. Alaba okukiikirirwa kwo. Amiina! Ekyo kituufu. Okiraba?

Nnabbi wa Katonda yatubuulira ebintu bino. Si ye yali ayogera; aba ategeeza butegeeza birowoozo bya Katonda, ebikula bye eby’ebintu ebirina okujja. Akozesa akamwa ke okubiraga. Era oluvannyuma lw’okubyogera, biba biteekwa okutuukirira. “Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye Ekigambo kyange tekijja kulemwa.”

Atukakasizza Ekigambo kye emirundi n’emirundi. Tatukakasizza nti ye: Omwana w’Omuntu nga afuuse omubiri mu masekkati gaffe? Tatukakasizza nti: Nnabbi waffe atuukiriza buli Kyawandiikibwa ekimwogerako? Tatukakasizza nti: Ffe Mugole We? Tatukakasizza nti: Tulina obukukakafu obw’amazima obw’Omwoyo Omutukuvu?

Olwo kiki kye tweraliikirira? Atukakasizza, bwe tunaayimirira naye, ajja kuyimirira naffe. Ekigambo kye tekiyinza kulemererwa.

Bonna abakkiriza Obubaka buno era omubaka w’omulembe guno bajja kulokolebwa. Bonna abatakkiriza Bubaka n’omubaka, bajja kuzikirira wamu n’ensi.

Wuliriza okumpi ekkanisa. Bangi nnyo bategeera bubi, oba tebalina Kubikkulirwa kwa Kigambo. Balowooza tussa bingi nnyo ku musajja. Bw’oba ​​okkiriza mu mazima nti Ow’oluganda Branham ye nnabbi wa Katonda, olwo ggulawo omutima gwo n’emmeeme yo owulirize Bw’atyo bw’ayogera Mukama ky’agamba.

Kiki ekinagatta Omugole? Kiki ekinagatta Omugole okufuuka Omu ne Katonda ?

“Ku lunaku olwo Omwana w’omuntu alibikkulirwa.” Kiki? Okugatta Ekkanisa ku Mutwe, okwegatta, obufumbo bw’Omugole. Okuyita kw’Omugole omusajja kujja kuyitira ddala mu kino, Omwana w’omuntu bw’alikka n’ajja mu mubiri gw’omuntu okugatta bombi wamu. Ekkanisa erina okuba Ekigambo, Ye kye Kigambo, era ebibiri byegatta wamu, era, okukola ekyo, kijja kwetaagisa okwolesebwa kw’okubikkulirwa kw’Omwana w’omuntu.

Kijja kwetagisa okwolesebwa kw’okubikkulirwa kw’Omwana w’omuntu. Si ndowooza yo, si kutegeera kwo, si birowoozo byo wadde okubuulira kwo. Omwana w’omuntu ajja kugatta Omugole omukazi n’Omugole omusajja, era Kigenda mu maaso KATI KATI.

Kati tuli ku Mukolo gw’Embaga n’Omugole omusajja era mu bbanga ttono tugenda kusitula okugenda ku Kyeggulo kyaffe eky’embaga ne Hanemmuunu yaffe.

Ekigambo n’Ekkanisa bifuuka kimu. Kyonna Omwana w’omuntu ky’akoze, Ye yali Kigambo, Ekkanisa ekola ekintu kye kimu.

Tusobola kubeera balamu ku buli Kigambo ekiva mu Kamwa ka Katonda kyokka! Katonda akakasizza nti nnabbi waffe ke Kamwa ka Katonda olwaleero. Tumanya tutya nti Kigambo kya Katonda? Yagamba bwatyo, olwo N’akikakasa n’Ekigambo kye.

Ffe Mugole-Kkanisa eyategekebwa mu nnaku ez’enkomerero. Abayitiddwayo okuva mu birala bonna; ekinyonyi ekyo eky’amabala ekitonnyezeddwako amabala ag’Omusaayi gwe.

Taata, emitima gyaffe gibuuka, era omutima gwange gukuba, bwe ndowooza ku ekyo ne mmanyi nti Ebigambo byo bituufu, tewali na kimu ku Byo kiyinza kulemererwa.

Lino lyokka Katonda ly’ataddewo olwaleero. Y’engeri YOKKA ey’obutakyusa Kigambo na kimu. Jjukira, Omwoyo Omutukuvu asobola okujja n’afuka ku muntu amafuta, era ne kiba nga kikyali wabweru wa Kwagala kwa Katonda. TULINA OKUSIGALA N’EKIGAMBO EKYO EKYAKAKASIBWA NNAKABALA.

Bw’oba ​​oyagala okusigala n’Ekigambo ekyo n’okuwulira Eddoboozi lya Katonda wamu naffe, nkuyita okutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira: Okukakasa Ekigambo Kye 64-0816.

Tekikwetaagisa kutwegattako wadde okuwulira olutambi lwelumu mu kiseera kye kimu naffe, naye nkulaajanidde, wulira nnabbi wa Katonda.

Ow’oluganda. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga olukungaana terunnatandika:

Omut. Matayo 24:24
Makko 5:21-43 / 16:15
Lukka 17:30 / 24:49
Yokaana 1:1 / 5:19 / 14:12
Abaruumi 4:20-22
I Abasessaloniika 5:21
Abebbulaniya 4:12-16 / 6:4-6 /13:8
I Bassekabaka 10:1-3
Yoweeri 2:28
Isaaya 9:6
Malaki 4