22-0911 Ttanka Z’omu Ttaka Eziwomoggose

Obubaka: 64-0726E Ttanka Z’omu Ttaka Eziwomoggose

PDF

BranhamTabernacle.org

Abanywi B’Amazzi G’Ensulo Abaagalwa,

Tetuli bakookereko, tuli kitundu ku Kigambo kiri nnakabala ekyasooka okufuluma. Omwoyo Omutukuvu yennyini, akyengezza, n’akikasa, ne yeeyoleka gye tuli. Tukikkirizza mu bujjuvu bwakyo, mu maanyi g’okulabisibwa kwakyo n’okubikkulirwa kw’ekyo kye kiri, era ne tufuuka ekitundu ku kyo. Kitusingira obulamu.

Omwoyo Omutukuvu yennyini yayogera ng’ayita mu kibya ekiwombeefu, ekitasaana n’agamba nti, “Guuguno omuggo gwange ogw’obwakabaka, Ekigambo kyange, Gutwale ogende, oleete Obubaka.” Yatwala Ekigambo kye n’atusalayo, okutufuula Omugole we.

Kitabudde ba kabona okulaba abantu nga bava mu masinzizo ne bagenda okuzannya entambi. Baagamba nti, “Singa omu ku mmwe agenda mu nkungaana, mujja kugobwa mu kibiina, tujja kubafulumya ekibiina kyaffe”.

Eky’okuddamu kyabwe kye baabaddamu: Oyinza okutusumulula, kasita tugenda mu buli ngeri yonna! Tuli mu lugendo ne Mukama waffe Yesu, Olwazi lwaffe olwakubibwa, nga tulya Emmere ya malayika, emmaanu eyaterekebwa eyagwa okuva waggulu, era nga tunywa ku Lwazi. Tetulina kweraliikirira kyetunywa, Si kirala wabula EKIGAMBO EKIRONGOOFU.

Bulijjo tubadde n’okudda obuggya okugenda mu maaso. Ensulo yaffe bulijjo evulula nga bw’eddiŋŋana emirundi n’emirundi, n’emirundi n’emirundi. Tekiriiko kkomo.
Tufuna ekyokunywa ekirungi eky’amazzi agannyogoga buli lwe tunyiga Zannya. Tukyesigamyeko era kye tubeerako. Ky’olina okukola kyokka kwe kutuukayo n’onywa.

Tuwangaalira ku luzzi olwo olwefukumula lwokka buli lunaku! Tetulina kusika, kusima, kupika oba ekintu kyonna; kugabana bugabanyi ku kubo lye eryaweebwa, eriweebwa obuwa, kyokka. Osobola okutwala enkola zo zonna ezaakolebwa omuntu z’oyagala, enzizi zo zonna enkadde ezaalegama; ku lwaffe, tutuuse ku Nsulo ye ennongoofu. Yo ly’Essanyu lyaffe. Kye Kitangaala kyaffe n’Amaanyi gaffe.

Ye Mazzi gange. Ye Bulamu bwange. Ye Muwonya wange. Ye Mulokozi wange. Ye Kabaka wange. Buli kimu kyonna kye nneetaaga kisangibwa mu 0Ye. Kiki ekiyinza okunjagaza okugenda eri ekintu ekirala kyonna?

Ku lwaffe tewali walala we tuyinza kulaga okuggyako butereevu ku Nsulo Katonda gyeyatuwa. Tekyitwetaagisa nako kweraliikirira kye tunaanywa. Tekyitwetaagisa na kussaako kaziina ka kawero okusengejjamu agantu aganene agakulukutiramu, naye ne kayitamu kazambi w’oluzzizzi luli. TUFUNA BUFUNYI MAZZI G’ENSULO AGALIMU EBIRUNGO N’EBIRIISA BYONNNA BYETWETAAGA.

Atugumizza: Abaana bange abato, temuddamu kweraliikirira, mulina obujulizi obwa nnamaddala obw’okubeera n’Omwoyo Omutukuvu. Munkakasizza nti mukkiriza buli Kigambo. Mukisembezza, MMWE BANGE. TULI OMU. MWAMI NA MUKYALA.

Mbajjira mu kaseera katono, mu kutemya kw’ekikkoowe. Mbategekera Amaka amaggya. Mujja kwagala nnyo ka finisingi kenjiyooyoose.
Nkimanyi nti kibazibuwalira nnyo kati, era mulina ebigezo bingi n’okugezesebwa era emigugu gyammwe mitizo. Naye temwerabira, temulina kya kweraliikirira kyonna, mbawadde Ekigambo kyange. Ggwe Kigambo kyange. Nnakukolera dda buli kimu. Yogera Ekigambo era tobuusabuusa. Beera n’Okukkiriza kwo, kw’okwo nga ne Nabbi Wange yakuwa Okukkiriza kwe.

Nnandyagadde mutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), okuwulira 64-0726E Ttanka Z’omu Ttaka Eziwomoggose, era tunywe ku Luzzi luno olw’Ensulo nga bwe luvulula Kigambo kyereere Ekirongoofu ekiteetaaga busengejja.

Owol. Joseph Branham

Zabbuli 36:9
Yeremiya 2:12-13
Omut. Yokaana 3:16
Okubikkulirwa Essuula 13