22-0904 Okutegeera Olunaku Lwo N’Obubaka Bw’alwo

Obubaka: 64-0726M Okutegeera Olunaku Lwo N’Obubaka Bw’alwo

BranhamTabernacle.org

Abatemeddwayo Abaagalwa,

Njagala buli omu amanye lwaki tuli basanyufu nnyo!!

Tukkirizza Ekigambo kya Mukama. Ekigambo ekibikkule ekyayogerwa nnabbi wa Katonda owa Malaki 4. Ffe Mugole wa Yesu Kristo. Yeffe abasigadde abeesigwa eri Eddoboozi lye eryakakasibwa. Yeffe b’Awadde Luulu ey’omuwendo omunene, Okubikkulirwa okw’amazima okw’Obubaka bwe n’omubaka we.

Katonda atutte Ekigambo kya nnabbi we n’atemayo Omugole akkiriza buli nnukuta na buli katonnyeze. Atutemyeyo, nga bwe yasuubiza nti ajja kukola. Yeffe ndiga za Katonda, era tuwulira Eddoboozi lya Katonda lyokka! “Endiga zange ziwulira Eddoboozi lyange,” nga bwe tunyiga Zannya.

Tukuŋŋaanyiziddwa okuva mu bitundu by’eggwanga byonna; okuva e New York, okuva e Massachusetts, okutuuka e Boston, Maine, Tennessee, Georgia, Alabama, n’okwetooloola eggwanga. Okuva mu Afrika okutuuka e Mexico, Bulaaya okutuuka mu Australia, tukuŋŋaana wamu, wansi w’Obubaka Bumu, Eddoboozi limu, era Liri mu kugatta Omugole olw’Okukwakkulibwa.

Nabbi waffe, omubaka wa Katonda, Omwana w’Omuntu nga yeebikkula mu mubiri, aleekaanira waggulu nti, “Sitaani, vva mu kkubo lyange, nnina Obubaka bwa Kabaka. Nze Mubaka wa Kabaka. Nnina Ekigambo ekikakasibwa ekya leero. Nnategekebwa dda okukoowoolayo n’okukulembera Omugole We.”

“Nzigyayo abantu ba ssekinnoomu, nga mbatema okuva mu bintu bino. Okubaggyamu; okubalaga, mu Byawandiikibwa, nti Katonda ayimiridde wano; n’okukakasibwa kw’Empagi ey’Omuliro.”

Katonda yakitegeera nti ku nsi waliwo abantu be yali yayawula edda okubeera n’Obulamu. Yategeera nti kye kyali ekiseera okutuma omubaka we okuyitayo Omugole we, bwatyo n’akikola. Ffe tukitegedde. Ffe be yali amanyi nti tujja kukkiriza buli Kigambo.

Ibulayimu yakitegeera nti Katonda yali ayogera naye ng’ayita mu mubiri gw’omuntu. Yategeera akabonero ke n’amuyita M-U-K-A-M-A, Elohim, era n’aweebwa Mukama omukisa. Tukitegedde nti nga bwe kyali ku lunaku olwo, bwe kityo bwe kiriba Omwana w’Omuntu bw’aliyolesebwa, Elohim, ng’ayogera okuyita mu mubiri gw’omuntu.

Tuli kitundu kye, n’ Omwana we, era tujja kusigala naye emirembe gyonna. Si lwa kuyitibwa kwaffe oba okulonda kwaffe, wabula lwa kulonda kwe. Tetwalina kya kukola kyonna ku nsonga eyo. Y’oyo eyatulonda ng’ensi tennatondebwawo.

Ne bw’obuulira otya, kyonna ky’okola, tekiyinza kwengera, tekiyinza kwolesebwa, tekiyinza kukakasibwa; okujjako ku lw’oyo yekka Eyagamba nti, “Nze Musana gw’ensi,” Ekigambo. Kale wajja kujja a—a—Amaanyi, Omwoyo Omutukuvu yennyini, okwengeza, oba okukakasa, oba okulaga nti kituufu, oba okwolesa ekyo kye yalagula nti kiribaawo mu lunaku luno. Ekitangaala eky’akawungeezi kye kileetera ekyo okubaawo. Nga kiseera kikulu!

Yatulaba mu kwolesebwa nga tuyita mu maaso ge. Twali mu mbeera y’emu Omugole gye yalimu ku ntandikwa, Alfa ne Omega. Yali atunuulira abamu nga baddiriza ebigere oba nga bakyamya enta, era ng’agezaako okubakomyawo, naye ffe twali tukuba enduulu nti, “Tuwummulidde kw’ekyo.”

Weetegereze, “Nga Yane ne Yambere nabo bwe baaziyiza Musa,” ajja kujjirako, abamu ku bo. Si, kati, tayogera ku Methodist, Baptist, wano; bavudde mu kifaananyi. Olaba? “Naye nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa ne Alooni, bwe batyo bwe bajja okuziyiza; omuntu eyayonooneka amagezi ge ku bikwata ku Mazima,” akyamiziddwa mu bigunje n’enjigiriza z’ekkanisa, mu kifo kya Baibuli.

Tulina kubeera beegendereza kwenkana wa okusigala n’Ekigambo ekituufu, ekikakasibwa eky’olunaku lwaffe. Bulijjo tulina okujjukira n’okutegeera ani Ekigambo gwekijjira. Ani muvvuunuzi yekka ow’Ekigambo ow’obwakatonda? Kigambo eky’ennaku zaffe y’ani?

Omwoyo wa Katonda, nga kye Kigambo kya Katonda, “Ekigambo kyange gwe Mwoyo era Bulamu,” Ajja kuteeka Omugole mu kifo kye. Kubanga, Ajja kutegeera ekifo kye mu Kigambo, olwo Abeere mu Kristo, ajja kumuteeka mu kifo kye.

Oyitibwa okujja okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda lyokka erikakasibwa olw’olunaku lwaffe, era omanye ekifo kyo mu Kigambo era oteekebwe mu kifo kyo nga bwe tuwulira Elohim ng’ayogera okuyita mu nnabbi we era nga Atuleetera Obubaka: Okutegeera Olunaku Lwo N’Obubaka Bw’Alwo 64-0726M, ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda).

Ow’oluganda. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira Obubaka tekunnatandika:
Koseya: Essuula 6
Ezeekyeri: Essuula 37
Malaki: 3:1 / 4:5-6
II Timoseewo: 3:1-9
Okubikkulirwa: Essuula 11

Katonda, ntondamu okudda obuggya. Ka mbeere okudda obuggya okwo. Leka buli omu ku ffe abeere okudda obuggya okwo, okudda obuggya okwo mu nze. Ndeetera, Mukama, okulumwa enjala, ondeetere okuyontowala. Ntondamu, Mukama, ekyo ekyetaagisa mu nze. Leka nze, okuva ku ssaawa eno okugenda mu maaso, mbeere Wuwo; omuddu eyeewaddeyo n’okusingako, omuweereza omulungi, asingako okuweebwa omukisa okuva gy’oli; asobola okusingako, omuwoombeefu okusingako, ow’ekisa okusingako, omwetegefu okukola okusingako; atunuulira ebizzaamu amaanyi okusingako, ne yeerabira ebintu eby’emabega, n’ebimalamu amaanyi. Ka nnyige nga njolekera akabonero k’okuyitibwa kwa Kristo okwa waggulu. Amiina.

Owek. mu Katonda William Marrion Branham