24-0324 Okutegeera Olunaku Lwo N’Obubaka Bw’alwo

Obubaka: 64-0726M Okutegeera Olunaku Lwo N’Obubaka Bw’alwo

BranhamTabernacle.org

Ab’Omuwendo era Abaagalibwa Ennyo Abaagalwa,

Nga kya kitalo okumanya nti tuli Mugole We Ow’Omuwendo era Ayagalibwa ennyo. Tukolebwa okuva mu nsi yonna, nga twekuŋŋaanya okwetoloola Ekigambo kye, nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga liriisa emmeeme zaffe.

Tukikkirizza mu bujjuvu bwaKyo, era ne mu maanyi g’okukakasibwa kwaKyo n’Okubikkulirwa. Tufuuse ekitundu ku Kyo. Kintu ekiri mu ffe. Kisinga bulamu gye tuli.

Tutegedde: Omubaka we Malayika ow’Omusanvu.

Tutegedde: Obubaka bw’Ekitangaala eky’Akawungeezi.

Tutegedde: Kyetuli.

Katonda atutte Ekigambo kya nnabbi we n’atutemayo. Atutemyeyo nga Akozesa Malaki 4, nga bwe Yasuubiza nti Alikola. Tukkiriza buli Kigambo n’emitima gyaffe gyonna.

Waliwo okuzuukusibwa okw’ekitalo okugenda mu maaso mu bantu. Nabo bali mu kutegeera obukulu bw’okuwulira Eddoboozi eryo. Bali mu kwagala okukomawo bazannye entambi mu masinzizo gaabwe.

Kibategeezeddwa Omwoyo Omutukuvu, nti lino lye Kkubo Katonda lye Yateekaawo olw’olwaleero. Bakitegedde nti lino lye Ddoboozi lye beetaaga okuwulira. Ye Mmere ya Katonda eterekeddwa olw’okutuukiriza Omugole We.

Ekigambo kyakisuubiza. Entambi ziKilangirira. Bali mu kuKikkiriza.

Kyakola ki? Kyatawaanya bakabona, okulaba abantu abo nga bava mu masinzizo ne bagenda. Yagamba nti, “Omu ku mmwe bw’ajjumbira enkuŋŋaana ze, ajja kugobwa mu kkanisa. Tujja kukuggyira ddala mu kibiina ky’eddiini kino.”

Tekikkirizika naye leero kifuuse ekintu kye kimu. Bajja kukuggya mu masinzizo gaabwe singa ogamba nti, “Nkwegayiridde, muzannye entambi.” Twali tusobola okukilowoozaako nti kino kye kinaabeeranga ekyawula abantu? Okuzannya Eddoboozi lya Katonda mu makanisa gaffe?

Ekkanisa yeerabidde bannabbi baabwe. Bagamba nti “tebakyabeetaaga.” Naye Katonda akimanyi nti alina okuba nabo; Atemayo abantu be nga Akozesa Ekigambo kye. Naye eri ab’ennaku zino kibalabikira nga eky’edda ennyo. 

Tujja kusigala ne nnabbi waffe. Tukkiriza nti lye Ddoboozi eliri mu kuyitayo Omugole We. Eri ffe, okukyogera mu ngeri ennyangungu, tewali kintu kikulu okusinga OKUNYIGA ZANNYA.

Ayi endiga za Katonda, muwulire Eddoboozi lya Katonda! “Endiga zange ziwulira Eddoboozi lyange.”

Jjangu owulire era otegeere Eddoboozi eryo wamu naffe, Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwetuwulira, Okutegeera Olunaku Lwo N’obubaka Bwalwo 64 -0726M.

Owol. Joseph Branham