24-0317 Okugenda Okusukka Olusiisira

Obubaka: 64-0719E Okugenda Okusukka Olusiisira

BranhamTabernacle.org

Abajaasi Abakristaayo abaagalwa,

Kirowoozeeko! Eno y’enkomerero y’ebiseera, Aleluuya! Tuli wano. Olunaku olukulu olw’okujja kwa Mukama waffe okucima Omugole we lusembedde. Tuli mu kwekuŋŋaanya okuva mu nsi yonna, nga tutuukirizibwa okuyita mu kuwuliriza Eddoboozi lya Katonda. Tutunula era tulindirira abaagalwa baffe okulabika…Kati kyandibaawo ku lunaku lwona lwonna.

Ekintu kyokka kye tulagiddwa okukola kwe “kusigala n’Ekigambo”. Kye tulaba kyokka ye Yesu, era ye Kigambo nga kifuuse omubiri. Ekyo kwe Kubikkulirwa okw’omulembe gwaffe. Luno lwe Lusiisira lwa Katonda eri Omugole we.   

Obubaka buno, Eddoboozi lino, entambi zino, ze byonna byetwetaaga olw’Okukwakkulibwa. Tetwetaaga kintu kirala kyonna. Tuyitiddwayo, twawukanyiziddwa okuva ku buli kimu okuggyako Eddoboozi eryo. Tuli bamativu nti Eddoboozi eryo lye Kkubo Katonda lye Yateekawo kulw’olwaleero.

Kirowoozeeko, Yatuwa nnabbi asinga obukulu mu mirembe gyonna. Oyo Empagi y’Omuliro gweyasiima ekifaananyi kyayo okukwatibwa wamu naye asobole okugamba ensi nti, “Ono ye malayika wange ow’amaanyi. Ye Ddoboozi Lyange gyemuli. By’ayogera ku nsi Nja kubiddamu mu ggulu. Tewali amufaanana”.

“Nze mmwesigisizza, era ye yekka, ebyama byange byonna bye nnakweka okuva ku ntandikwa y’ensi. Ye gwe nnategekerawo okubayita MMWE okuva mu nsi eno okuggya gyendi. Ye gwe nnalonda okubalembera, okubaluŋŋamya n’okubalagirira. Nnalangirira gyemuli nti Mumuwulire, kubanga ye si y’ayogera, NZE NJOGERA, NDI OW’AMAANYI!”

Njawudde era mpise abasajja ab’amaanyi okulangirira n’okubuulira ensi nti, “Leero, ebyawandiikibwa mu Malaki 4, Okubikkulirwa 10:7, ne Lukka 17:30 bituukiridde mu maaso gammwe. Malayika we ow’amaanyi atuuse, ng’Ebyawandiikibwa bwe byalangirira. Katonda ali wano mu ffe, nga Yeebikkula okuyita mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi nga bwe yagamba nti Alikola.”

Ye Yesu Kristo aba obumu jjo, leero n’emirembe gyonna. Tuyitiddwa okubasonga gy’Ali, oyo malayika wa Katonda. Y’oyo Omwoyo Omutukuvu gwe yalonda okukulembera n’okukoowoolayo Omugole we. Temukubaganya birowoozo, temwerariikirira biteetaagisa, temulwana yadde okujjamu obukuubagano obuva mu kwerariikirira ku ani agenda okubeera kabona omukulu; ani anaabeera kino, ekyo, oba kiri. MUSIGALE N’EDDOBOOZI ERYO. Kubanga waliwo EDDOBOZI LYA KATONDA eryakakasibwa obutaleekawo kubuusabuusa kwonna limu lyokka era erinnya lye ye William Marrion Branham.

Tulina okwegendereza ennyo okusigala n’Eddoboozi eryo, anti bangi nnyo abaagala okubakulembera okubakyamya okuLivaako. Obulombolombo bwabwe bukugira Eddoboozi eryo erya nnamaddala obutatuuka mu bantu. Afuuse mugenyi eri bangi nnyo ku bo. Eddoboozi lyabwe litutte ekifo ky’Eddoboozi eryo, okutuusa nga Katonda, mu ngeri y’entambi, bw’abakyalira, aba mugwira.

Okubeerawo kuli okw’ekitiibwa ekisukkulumu kuli naffe. Omusajja yenna awulira Omwoyo asobola okukiraba nti Eddoboozi eryo lye Ddoboozi lya Katonda. Lwe Lusiisira lwa Katonda olw’olwaleero.

Buli muntu eyeeyita Omugole wa Kristo alina okusalawo Lusiirira ki lw’alimu. Alina okwebuuza ekibuuzo kino eky’enjawulo: Ddobozi ki Omugole yenna ly’ayinza okuddamu nti “AMIINA”, nga Lyogedde?

Bw’oba nga ddala oli Mugole wa Kristo, ng’olina Okubikkulirwa kw’Ekigambo okwa nnamaddala okw’ennaku zino, waliwo eky’okuddamu kimu kyokka: Eddoboozi lya Katonda ku Ntambi. Kya lwatu nti Sitaani agezaako okukozesa ekyo okutuukiriza ebiruubirirwa bye mu ngeri nnyingi ez’enjawulo, naye tewali kya kuddamu kirala eri Omugole . Kyangu nnyo bwe kityo.

Ffenna tukimanyi nti Sitaani akozesa eky’okuddamu ekyo okutwawulamu. Naye Ekigambo kitugamba nti Omugole ateekwa okuba nga AGATTIDDWA WAMU… BWETULI, okuyita mu DDOBOZI LYOKKA ERITUGATTA.

Jjangu ogattibwe wamu naffe, kubanga essaawa ya kikeerezi nnyo.

“Njagala kugenda awatali lusiisira. Si nsonga kinfiiriza ki, nja kutwala omusaalaba gwange era ngugumire buli lunaku. Nja kugenda okusukka olusiisira. Si nsonga abantu banjogeddeko ki, njagala kuMugoberera wabweru w’olusiisira. Ndi mwetegefu okugenda.”

Bw’oba oyagala okubeera mu Lusiisira lwa Katonda olwa leero, OTEEKWA OKUKKIRIZA nti Eddoboozi lya Katonda eriri ku ntambi lye ddoboozi erisinga obukulu ly’olina okuwulira.

Jjangu weegatte ku kitundu ky’Omugole Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga tuwulira Eddoboozi Katonda lye yalonda okukulembera Omugole We, nga bw’atuleetera Obubaka, Okusukka Olusiisira 64-0719E.

Si “olusiisira lwonna lw’osanze”; wabula “OLUSIISIRA LULI.”

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga Olukuŋŋaana terunnatandika:

Abaebbulaniya 13:10-14
Matayo 17:4-8