24-0310 Embaga Ey’Amakondeere

Obubaka: 64-0719M Embaga Ey’Amakondeere

BranhamTabernacle.org

Abaana B’Ekitangaala Abaagalwa,

Nga tweyanzeege nnyo okubeera nga tutambulira mu Kitangaala kye. Okubeera ekitundu ku Kitangaala ekyo, okubeera nga tusunsulibwa mu kiti kye kimu n’Ekitangaala Kye. Okubeera nga tuyitidda era nga tulondeddwa Ye. Tuli Mugole wa Kristo, ebiwandiiko ebitwogeerako bye bimu. Ababiri bano kati bali Omu.

Sirina ngeri gyensobola kukiwandiika mirundi mingi okusukkirira. Tetulina ngeri gyetusobola kukyogera kimala. Obubaka buno butegeeza BULI KIMU gye tuli. Okumanya nti tulina Okubikkulirwa okw’amazima okw’Ekigambo kye kisukka ekintu kyonna kye tuyinza okuteeka mu bigambo.

Okubeera nga tuli mu lunaku luno n’okubeera ekitundu ku bigenda mu maaso, kye kitiibwa ekisinga obunene Katonda ky’Ayinza okutuwa. Nga gyekyakoma okubeera eky’ekitalo okutuulanga mu nkuŋŋaana mu Branham  Tabanako, nga olaba n’okuwulira malayika wa Katonda ng’aleeta Obubaka buno, n’okukirawo KIKIRAWO okubeera eky’ekitalo okubeera ku nsi mu lunaku luno, era mu kiseera kino, era okubeera okutuukirizibwa kw’Ekigambo ekyo.

Katonda, mu Pulogulaamu ye ey’ekitalo, akoze Ekkubo tusobole okuba nga tukuŋŋaanyizibwa okuva mu nsi yonna, nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ffenna mu kiseera kye kimu, okuba nga tutuukirizibwa Ekigambo kye. Okubeera nga tulindirira okuwulira akatikitiki konna omubaka waffe malayika ow’omusanvu ng’agamba nti;

“Laba Omwana gw’Endiga wa Katonda aggyawo ekibi ky’ensi!”

Tewabangawo kintu kyonna kiringa Ekyo okuva ku ntandikwa y’ebiseera. Okumaliriza kw’Enteekateeka ya Katonda ey’ekitalo kugenda mu maaso, KATI KATI, era tuli kitundu ku Yo. Olunaku lwa Mukama waffe olukulu lusembedde.

Ebyama byonna bibikkuliddwa eri Omugole okuyita mu mubaka malayika wa Katonda. Envumbo, Emirembe, Ebibwatuka, Okukkiriza Okw’Okukwakkulibwa, Okusika Okw’okusatu…BULI KIMU kyogeddwa era kiri ku ntambi n’olwekyo Omugole asobola okuziwulira emirundi n’emirundi, era KITUTUUKIRIZA.

Omwoyo Omutukuvu akomyewo mu Kkanisa nate; Kristo, yennyini, nga Abikkuliddwa mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi, mu kiseera eky’akawungeezi nga bwe yasuubiza.

Saayo omwoyo kati Omugole, Kino kifune.

Tuyitiddwayo Ekigambo; Kristo Yennyini yatuyita. Atuviiriddeyo bwanjulukufu; Abaebbulaniya 13:8, Lukka 17:30, Malaki 4, Abaebbulaniya 4:12, Ebyawandiikibwa bino byonna bye yasuubiza.

Ye Yesu, Omwana wa Katonda, Y’Atwebikkulidde nga ayita mu Byawandiikibwa bino ebyategekebwa olw’olunaku luno, NGA MULAMU NATE.

Era okukikkiriza, ke kamanyiso akalaga Omwoyo Omutukuvu.

Katonda yatuma nnabbi we okukoowoolayo Omugole we. Ekigambo kitugamba nti nnabbi ye Kigambo kya Katonda ekiramu, nga kyoleseddwa. Ke kabonero akasembayo ensi k’erifuna; Yakuwa ng’Ayogera nga Ali mu kikula ky’omuntu ow’oku nsi.

Omusajja munda mu mubiri oguva mu ttaka ery’oku nsi, nga Yeefaananyiriza nnabbi, kyokka ate nga Yali Elohim nga Ayawula ekirowoozo ekyali mu mutima gwa Saala, emabega We. Era Yesu n’Agamba nti, “Nga bwe kyali mu nnaku za Lutti, bwe kityo bwe kiriba ku kujja kw’enkomerero y’ensi, Omwana w’omuntu,” so si Omwana wa Katonda, “Omwana w’omuntu bw’Aliba Yeebikkula. ”

Omugole akimanyi nti okuggyako ng’oli mu Kigambo entakera, tojja kumanya y’Ani. Bamanyi obwetaavu nnanteewalibwa obw’okukuuma Eddoboozi eryo mu maaso gaabwe buli lunaku nga banyiga Zannya.

Kati Omugole alina okuva mu kkubo n’adda ebbali, n’agenda waggulu, kisobozese bannabbi ba Katonda ababiri abali mu kitabo ky’Okubikkulirwa okulabikako ku nsi okufuuwa Ekkondeere Ery’omusanvu. Bamanyise Kristo eri bali.

Jjangu obeere ekitundu ku bunnabbi obuli mu kutuukirizibwa Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga nnabbi wa Katonda aleeta Obubaka, Embaga Y’Amakondeere 64-0719M, n’ayogera eri Kitaffe n’agamba nti,

Wandibaayo abamu ebweru okwetoloola amawanga, okwetoloola ensi yonna, nga n’olutambi luno lwandibasisinkana mu maka gaabwe oba mu makanisa gaabwe. Twagala okusaba, Mukama waffe, nti ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso, ku —ku…oba nga olutambi luli mu kuzannyibwa, oba ekifo kyonna kye tuyinza okubeeramu, oba —oba embeera, leka Katonda ow’ekitalo ow’omu Ggulu asseemu ekitiibwa obwesimbu buno obw’emitima gyaffe enkya ya leero, era owonye abalina bwetaavu, obawe bye beetaaga .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka: Eby’Abaleevi 16
Eby’Abaleevi 23:23-27
Isaaya 18:1-3
Isaaya 27:12-13