22-0821 Embaga Ey’Amakondeere

Obubaka: 64-0719M Embaga Ey’Amakondeere

BranhamTabernacle.org

Omugole Anyiga Zannya Abaagalwa,

Buli Ssande tuba tukungaana ne tuwuliriza Obuweereza Obw’obuliwo obusinga okuba obw’ekitalo mu byafaayo by’ensi. Tubeera mu kiseera ekisinga okuba eky’ekitiibwa nga tusisinkana awamu okuwulira Eddoboozi lya Katonda! Ye Yesu, Omwana wa Katonda, nga Yeebikkula okuyita mu Byawandiikibwa, ng’afuula Ekyawandiikibwa ekyategekebwa edda olw’olunaku lwaleero, nga bwe kyali mu lunaku lwe, n’ennaku endala zonna, okubeera ekiramu. Era okukikkiriza ekyo, bwe bukakafu bw’Omwoyo Omutukuvu.

Obukakafu obw’annamaddala obw’okubeera n’Omwoyo Omutukuvu si kugenda mu kkanisa buli Ssande kyokka; Kwe kuba nga okkiriza nti “Nze Wuuyo,” Ekigambo ky’olunaku lwo. Ekigambo kya leero ki? Nabbi wa Katonda kye Kigambo kya leero era ye ow’okukomyawo abantu ku Kigambo, Omugole asobole okumanya Bba, amanye Balo, Ekigambo ekibikkuliddwa.

Obulamu bwe bwennyini, ebikolwa bye, bibikkula era ne bikakasa Ekigambo eky’olunaku luno.

Ye Mwoyo Omutukuvu nga akomyewo mu Kkanisa nate; Kristo, yennyini, nga abikkuliddwa mu mubiri gw’omuntu, mu kaseera ak’akawungeezi, ddala nga bwe yasuubiza nti Alikola. Nkimanyi nti ekyo kibalakira mu ngeri emu, katono, naye olina okusoma wakati w’ennyiriri n’olaba, ekyo kireetera ekifaananyi okuvaayo.

Yeffe Zzadde lya Ibulayimu eddangira, Omugole. Akabonero akasembayo Ibulayimu ke yalaba ng’omwana eyasuubizibwa tannajja, kyali ki? Katonda, mu kikula ky’omuntu, eyali asobola okwawula ebirowoozo by’abantu. Omusajja omu, si daziini, omusajja omu.

Nkimanyi nti abantu bangi ekyo bakyawukanako, naye mmanyi nti kyekino. Nze nkimanyi. Si lwakuba nti ngamba nti okyogera; kubanga, saakijje ku nze kennyini. Ebi -ebirowoozo byange —ebirowoozo byange si byange. Kyonna kyekiri ekyangambye, bwe kiba nga kikyamu, olwo kiba kikyamu. Naye sikibuulirira mu buyinza bwange nga nze, nkibuulira nga nkozesa Omuntu omulala by’agambye. Omuntu oyo omulala ye Katonda eyayogera naffe n’akola ebintu bino byonna by’akoze, n’atulabikira, olaba, kale nkimanyi nti kituufu.

Tuwuliriza ekirowoozo kyennyini ekya Katonda; si kirowoozo kya muntu, wabula ekya Katonda. Nabbi waffe y’ Atubikkulira Ekigambo ekyawandiikibwa.

Tukitegeera nti okuzannya entambi mu maka gammwe oba mu makanisa gammwe si kya buli muntu, naye kyaffe, Y’ENGERI YOKKA. Twagala nnyo okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera butereevu naffe. Tetwetaaga kuvvuunula oba kunnyonnyola kwonna; ye Katonda nga ayogera mimwa ku kutu gye tuli.

Ssande eno tugenda kuba tuwulira Katonda ng’ayogera era atubuulira engeri gye yatulagamu eri nnabbi we n’atulengera ku ludda luli. Engeri Omugole oyo gye yali amwekaliriza amaaso, ng’ayogera naye, era twali tuyimiridde wamu naye. Twali tutambula bulungi mu maaso ga Mukama.

Olwo Katonda n’ayogera ng’ayita mu nnabbi we n’alagula omulundi omulala n’agamba nti:

Wayinza okubaayo abamu ebweru okwetoloola amawanga, okwetoloola ensi yonna, okuba nti n’olutambi luno lwandibasisinkana mu maka gaabwe oba mu makanisa gaabwe. Tusaba, Mukama, nti ng’olukungaana lugenda mu maaso, ku—ku…oba ng’olutambi luli mu kuzannyibwa, oba kifo ki kye tunaabeeramu, oba —oba embeera, leka Katonda omukulu ow’Eggulu asseemu ekitiibwa obwesimbu bw’emitima gyaffe buno enkya ya leero, era Awonye abalina obwetaavu, Abawe bye beetaaga.

Bw’oba owuliriza Entambi, era ng’okkiririza nti ly’Eddoboozi lya Katonda ery’olunaku lwaffe, olwo kyonna ky’oyinza okuba nga weetaaga, Katonda ajja kuba ayogera ng’ayita mu mubaka we Agambe nti, “Bawe kyonna kye beetaaga.”

Engeri yokka ekyo okusobola okubaawo eri mu kuyita mu KUNYIGA ZANNYA mukwano gwange.

Bw’oba ng’​​oyagala okuwulira Katonda ng’ayogera era ng’Avvuunula Ekigambo kye Ye, nga Yeebikkula okuyita mu mubiri gw’omuntu, era ofune kyonna kyeweetaaga, jangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira Katonda ng’ayogera naffe nga tuwulira: Embaga Ey’Amakondeere 64-0719M.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma nga okuwulira Obubaka tekunnatandika:
Eby’Abaleevi 16
Eby’Abaleevi 23:23-27
Isaaya 18:1-3
Isaaya 27:12-13
Okubikkulirwa 10:1-7
Okubikkulirwa 9:13-14
Okubikkulirwa 17:8