22-0814 Omulimu Ogw’ekikugu

Obubaka: 64-0705 Omulimu Ogw’ekikugu

BranhamTabernacle.org

Omulimu Ogw’ekikugu Abaagalwa,

Nnyinza ntya okubawandiikira leero ne sibajjukiza omusumba waffe bye yayogera ku buli omu ku ffe ku Ssande ewedde?

Naye okumanya nti wonna we nnyinza okugenda…teriiyo—kibinja kyonna ku nsi, kye mmanyi, ekiyimirira wamu nange ng’ekibinja kino. Ka—Katonda Atukuume nga tetwawukanye olwo, okutuusa nti, ne mu Bwakabaka obujja, tubeere eyo ffenna wamu; kwe kusaba kwange okwo.

Tewali kibinja ku nsi ekiyimirira okumpi ne nnabbi wa Katonda, n’Obubaka Katonda bwe yayogera ku ntambi, nga ffe. Era olw’okuba tukola tutyo, tujja kuba tetuyinza kwawukanibwa mu Bwakabaka obwo obuggya nga tuli wamu naye ne Mukama waffe Yesu Kristo. Tekiyinza kulungiwa kukira awo!

Zino ze nnaku ezisinga obukulu mu bulamu bwaffe. Tuli bamativu ddala n’okubeera abasirusiru ba Kristo n’Obubaka bwe obw’ekiseera eky’enkomerero. Okuyitibwa abazoole kubanga tukkiriza buli Kigambo ku ntambi ezo ne tugamba nti, NYIGA ZANNYA.

Tuli ba kkanisa Emu yokka bw’eti. Tetwagyegattako, twagizaalibwamu. Buli wiiki tukuŋŋaana okuva mu nsi yonna ne tukola omukwano ne Kristo ne tugamba nti, “Oo, nga nkwagala nnyo ‘Yesu!’”

Twandiba abazoole eri ensi, naye Kitaffe atuwadde Okubikkulirwa kwe ku mulembe gwaffe, Katonda ng’aliko olususu, era okwo kutusise, ffe Omugole we, gy’ali.

Twagala bwagazi engeri gye kiri eky’angu, naye ate mu kiseera kye kimu, engeri obugeri gye kiri eky’obuziba. Naye olina okuba n’Okubikkulirwa okukiraba, era TUKULINA.

Yekweka mu kibikka ky’omuntu, mu Kkanisa ye, nga yeeyoleka olw’okukkiriza kwo n’okukkiriza kwange, awamu, nga kujja awamu, okukola obumu bwa Katonda. Siyinza kukola kintu kyonna awatali ggwe; tolina ky’oyinza kukola we ssiri; era ffembi tetulina kyetusobola kukola awatali Katonda. Kale, omugatte gwaffe gukola obumu, okuyungibwa. Katonda Yantuma olw’ekigendererwa; ggwe okikkiriza; era awo ne kibeerawo. Kiri bubeezi bwekityo, laba, nga kikakasiddwa butuukirivu ddala.

Tulinga abasajja abaali batambulira ku luguudo oluva e Emawo ku lunaku olwo. Tumuwuliriza ng’ayogera naffe okuyita mu lunaku. Olwo netumuyita mu maka gaffe tusobole okuggalwa munda naye yekka. Olwo n’Akola ekintu Ye yekka ky’Asobola okukola, Amenya Omugaati ogw’Obulamu obutaggwaawo. Tumutegeererawo mu kaseera ako. Olwo ne tugamba nti, emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda mu ffe nga Ayogera naffe mu kkubo.

Buli wiiki tukuŋŋaana n’okwesunga okw’amaanyi, nga twebuuza nti, “Kiki ky’agenda okutubuulira n’okutubikkulira wiiki eno”. Tujja kugabana okunokola buli omu ne munne era tukyogereko wiiki yonna. “Mwamuwulira bwe yagamba”:

“Kyali kintwalidde emyaka enkumi nnya okukola Omulimu gwange ogw’ekikugu; naye kati mmaze emyaka kumpi enkumi bbiri nga nkola omulimu ogw’ekikugu omulala, Ggwe, Omugole Wange. Nkikoze nga nkozesa enkola Ye nnantakyukakyuka, mu ngeri y’emu gye nnakolamu Omulimu gwange ogw’ekikugu ogwasooka, Ekigambo kyange. Eyo y’engeri gye nkolamu Emirimu Gyange Egy’ekikugu, kubanga engeri yokka gy’osobola okubeeramu Omulimu ogw’ekikugu ogutuukiridde ky’Ekigambo ekituukiridde.”

Muganda wange tolowooza bubi ku kino, naye lowoozaayo akadakiika. Bw’Aba nga Yamuggyamu, ekitonde nnakabala, okumukolera Omugole, takolangayo kitonde kirala. Yaggyamu kitundu kya kitonde nnakabala. Olwo, oba nga Ye Kigambo, Omugole ateekeddwa kubeera kiki? Kiteekeddwa kubeera Ekigambo nnakabala, Katonda omulamu mu Kigambo.

Yogera ku jubireewo y’okulya emmere kawoomera. Tuli kitundu ku kitonde nnakabala. Tuli kitundu kya Kigambo nnakabala. Katonda abeera mu ffe. Ffe mulimu gwe ogw’ekikugu. Ffe ekibiina ekiyimirira okumpi ennyo ne nnabbi we. Tetuyinza kwawukanyizibwa okuva ku nnabbi we ne Mukama waffe Yesu Kristo. Tuli OMU naye.

Naawe bw’oba oyagala omutima gwo okukutyemuka munda yo nga bwe kibeera mu gyaffe, jangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), ng’ekitundu ky’Omugole kikunŋŋaana ne kimuyita okujja mu maka gaffe, ne mu makanisa gaffe, nga bwe tuwulira Katonda ng’ayogera era n’atubikkulira Ebigambo by’Obulamu obutaggwaawo, nga bw’atuleetera Obubaka: Omulimu Ogw’ekikugu 64-0705.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma ng’olukunŋŋaana terunnatandika:

Isaaya 53:1-12
Malaki 3:6
Omut. Matayo 24:24
Omut. Makko 9:7
Omut. Yokaana 12:24 / 14:19