24-0303 Omulimu Ogw’ekikugu

Obubaka: 64-0705 Omulimu Ogw’ekikugu

BranhamTabernacle.org

Enju Omulimu Ogw’Ekikugu Abaagalwa,

Nga bubadde butuuukirivu-bwemalirire ddala Obubaka buno obugobereganye gyebuvuddeko eri Omugole wa Kristo. Katonda, nga yebikkulako olutimbe mu maaso gaffe, nga yeebikkulira mu bwanjulukufu. Ensi tesobola Kukiraba, naye eri ffe, Omugole we, Kye kyokka kye tusobola okulaba.

Tumenye ne tuwaguza okuyita mu lutimbe olwo era tuMulaba mu bwanjulukufu. Katonda, nga Ali emabega w’ensusu z’abantu. Ekigambo kifuuse omubiri, ddala nga bwe Yasuubiza mu Lukka 17 ne Malaki 4. Yeekwese mu lutimbe oluli mu kikula ky’omuntu ow’okunsi, mu nnabbi we ne mu Kkanisa ye.

Ffe bantu abasinga okuba abasanyufu mu nsi bwe tuwulira Katonda nga Ayogera ng’Ayita mu mubaka-malayika we era n’Atubuulira nti,

Mbeebaliza nnyo. Ndi musanyufu nnyo okuba nga ntwalibwa nga ali omu kummwe. Ndi musanyufu nnyo okubeera omu ku mmwe. Katonda abeere nammwe. Ajja kubeera nammwe. Talibaleka. Talibaabulira. Tajja kukulekawo. Omaze okumenya n’owanguza okuyita mu lutimbe olwo kati.

Tufuuse bantu abatategeerekeka eri buli omu, n’eri ab’omu ffe mwennyini, naye tukyenyumirizaamu nnyo, tweyanzeege nnyo, olw’Okubikkulirwa kw’Atuwadde ku Kigambo kye eky’olunaku luno. Okubeera abasirusiru ku lwa Kristo n’Ekigambo kye ekyoleseddwa.

Tuddidde okukkiriza kwaffe ne tukuteeka wamu n’okukkiriza kwa nnabbi we, era tugattiddwa wamu, nga tukola EKITOLE ekinene ekyo ekya Katonda. Taliiko ky’Asobola kukola wetutali; tetuliiko kye tusobola kukola nnabbi oyo w’awatali; yadde okubaako kye tusobola okukola kyonna Katonda w’Atali. Kale nga tuli wamu, TUKOLA EKITOLE KIMU, Ennyingo eyo; Katonda, nnabbi we, Omugole we. Tufuuse Omulimu gwe Ogw’ekikugu.

KyaMutwalira emyaka enkumi nnya okukola Omulimu gwe ogw’ekikugu ogwasooka. Kati, kiMutwalidde emyaka enkumi bbiri okukola Omulimu gwe ogw’ekikugu omulala, FFE, Omugole We, Enju ye ekoleddwa nga mulimu gwa kikugu, Adamu ow’Okubiri ne Kaawa ow’Okubiri. Kati tuli beetegefu okugenda mu lusuku olwo, Emyaka Olukumi egyo. Azzeemu okutubumba era kati tuli beetegefu.

Ffe Mugole-Kigambo We atuukiridde, nga tuli kitundu ku Bitonde bye EBYASOOKAWO. Ekikolo, enduli, n’ekisusunku, kati biri mu kukuŋŋaanira mu Nsigo, nga byetegekedde amazuukira, era nga byetegekedde amakungula. Alpha afuuse Omega. Ensigo eyakka munda, eyise mu mitendera n’eddamu n’efuuka Ensigo.

Ensigo, eyagwa mu lusuku Adeni, n’efiira eyo, nga ekomyewo. Okuva mu nsigo eri eyali tetuukiridde bulungi eyafiira eyo, okudda mu Nsigo eno etuukiridde, Adamu Ow’okubiri.

Kati tufuuse Adamu Ow’okubiri, Omugole ow’amazima, Ensigo eyo, nga ekomyewo n’Ekigambo ekyasooka nate. Tulina okuba n’Ekigambo kyonna okusobola okubeera Ensigo. Tetusobola kuba na kitundu kya Nsigo; tuba tetusobola kukula, tulina okubeera n’Ensigo nga nnamba.

Ekyasigaddeyo ekintu kimu kyokka, amakungula gatuuse. Twengedde nga mboona. Twetegekedde Okujja Kwe. Kiseera ky’amakungula. Ensigo ekomyewo mu mbeera yaayo eyasooka. Enju Omulimu Ogw’Ekikugu ezzeewo, Kristo n’Omugole we.

Okuzzaamu nnabbi we n’Omugole we amaanyi, Mukama yawa malayika we okwolesebwa okw’ekitalo. Yamulengeezaayo okulaba FFE nga bwetulifaanana, Omugole We. Nga tumuyitako, yagamba nti twali bakyala abatono abawoomera amaaso okutunuulira. Yagamba nti ffenna twali tumutunuulidde bulungi, nga bwe tuyitawo.

Ku nkomerero, abamu baali babalize okuva mu lunyiriri, era nga bafuba nga bwe basobola okudda mu lunyiriri. Olwo n’abaako kye yalaba ekikulu ennyo, baali batunudde awantu awalala awamu ebweru, nga tebali mu kumutunuulira. Baali batunuulidde bifa mu kkanisa eyo eyafuluma n’eba mu kavuyo.

Nga nneenyumiriza era nga nneeyanzeege nnyo okugamba nti, si FFE, abaali ab’omu maaso, tetwalegezaamu ku nkuba ya mugu newankubadde oba okumuggyako amaaso.

Kale, Omulimu ogw’ekikugu ogwo n’Omwana wa Katonda, Omulimu ogw’ekikugu ogwo n’Omugole, era guli Kitundu ku Ye, ate nga gulina okuba nga kwe kituukirizibwa kwe’Ekigambo. Ekigambo kituukiriziddwa, era twetegekedde okujja kwa Mukama waffe.

Nga tweyazeege nnyo okumanya nti, ffe Nju ye ey’Emirimu Egituukiridde, Omugole We owannamaddala. Ekigambo kituukiridde, era twetegekedde okujja kwa Mukama waffe.

Nkwaniriza okujja okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), okuwulira Ekigambo wamu naffe, era ofuuke ekitundu ku B’Enju ya Katonda ey’Emirimu Egituukiridde, nga bwe tuwulira nnabbi ng’atuleetera Obubaka: Omulimu Ogw’Ekikugu 64-0705 .
   

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwuliriza lukuŋŋaana:

Isaaya 53:1-12
Malaki 3:6
Omut. Matayo 24:24
Omut. Makko 9:7
Omut. Yokaana 12:24 / 14:19