24-0225 Omuntu Atategeerekeka

Nsango: 64-0614M Omuntu Atategeerekeka

BranhamTabernacle.org

Mikwano abaagalwa,

Ziri ssaawa ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omu ttuntu e Jeffersonville, essaawa eri 1:00 (emu) ey’oku makya mu Afrika, ziri ssaawa 4:00 (nnya) ez’oku makya mu Arizona; Omugole akuŋŋaanyiziddwa okuva mu nsi yonna. Tulindiridde akaseera kano wiiki yonna. Tuli wansi w’okusuubira okunene, nga tulindirira Katonda okwogera naffe ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu w’oku nsi ng’Ayita mu mubaka we malayika ow’omusanvu ow’amaanyi. Tuli mu kusaba nti, “Mukama nteekateeka, onfukeko amafuta, era ompe Okubikkulirwa okusingawo okw’Ekigambo Kyo.”

Tuli bamativu, kubanga tukimanyi awatali kubuusabuusa, nti nnabbi, era nnabbi yekka, y’alina Ebigambo by’Obulamu eby’essaawa eno. Tuyinza obutasobola kubinnyonnyola byonna, naye tukimanyi nti tukkiriza buli Kigambo era tukiwummuliddeko.

Tukimanyi, nti ddala nga Mukama bwe yakola ne Musa, Katonda Ali mu kutegeka okugulumiza nnabbi we mu maaso gaffe. Ku mulundi ogwo, Yakankanya nsozi zokka. Ku mulundi guno, Agenda kukankana eby’omu bbanga mu bwengula era n’ensi.

Akaseera katuuse. Emitima gyaffe gyeyongeddemu okukuba  munda mu ffe. Tuwulira Oluyimba lwaffe olw’Eggwanga nga lutandika okuzannyibwa. Mu mwoyo gumu, Omugole okuva mu nsi yonna asituka ku bigere byabwe n’atandika okuyimba, KKIRIZA BUKKIRIZA , ebintu byonna biyinzika, Kkiriza Bukkiriza. Katonda Ategeka okwogera naffe .

Tuwulira: “Amakya amalungi mikwano.”

Emitima gyaffe gisanyuka okuwulira obuwuliza ebigambo bino 3 ebyangungu. Nabbi yaakampita mukwano gwe. Awo n’atugamba nti, .

Mbasubwa mwenna. Si—sifaayo gye ngenda, si—si…si ye, si yemmwe. Nnina emikwano, buli wamu okwetoloola ensi, naye si ye—si ye—si ye mmwe mwenna. Waliwo eky’enjawulo ku kabinja kano akatono kye si…simanyi. Mbalowoozako…Sirinaayo ki—kibinja ku nsi, kye mmanyi, eky’ekuumira ku lusegere lwange ennyo ng’ekibinja kino. Nsaba—nsaba Katonda Atuganye tubeere ba nnantasattululwa nnyo tutyo, okutuusa nga, mu Bwakabaka obugenda okujja, ka tubeere eyo wamu; y’essaala yange.

Kubikkulirwa ki okunene Katonda kw’anaatubikkulira leero? Kiki kye tugenda okuwulira? Twandiba nga tuKiwulidde mingi, emirundi mingi emabega, naye olwaleero lujja kuba lwa njawulo, obutafaanagana na lunaku lulala lwonna emabega.

Kye ki? Emmere y’Omukkiriza. Gwe Mugaati Ogw’okulaga oguva mu Ggulu gwe tugenda okugabulwa. Omugaati Ogw’okulaga nga gwa ffe ffekka, Omugole we. Ekitiibwa ky’Okwolesebwa okulabikako oba okunnyonnyokwa obusimu bw’omubiri okwa Katonda ekimaamidde Omugaati ogwo Ogw’okulaga  ky’ekiri mu kutukuuma nga tetuvunda.

Ab’ebweru batutunuulira ne batubuuza nti, “Bantu mmwe mukola ki? Muwuliriza buwuliriza ntambi zokka? Muli Bantu Abatategeerekeka aba ddala.”

Ekitiibwa!! Tuli basanyufu nnyo, era twebaza nnyo Mukama okubeera Abantu Abatategeerekeka; abasirusiru ku lulwe n’Ekigambo kye ekyakasibwa obutaleekaawo kabuuza. Tusanyuka okugamba ensi nti, “WEEWAAWO, NZIKIRIRIZA MU BUWEEREZA BW’OLUTAMBI. NZIKIRIRIZA MU KUNYIGA ZANNYA. NZIKIRIZA LYE DDOBOZI ERISINGA OBUKULU LY’OSOBOLA OKUWULIRA. WEEWAAWO, NZIKIRIRIZA MU KUZZA ENTAMBI KU BITUUTI.”

Nga olutimbe olubikkako olw’ebikkirizibwa ebitambuziddwanga okuyita mu mirembe lumaze okuggibwawo, osobola okulaba nti Katonda akyali Katonda w’Ekigambo kye. Akyakuuma Ekigambo kye. Ye — Ye Katonda, Omuwandiisi w’Ekigambo kye.

Si nsonga kiki omuntu omulala yenna ky’akola, oba ky’ayogera, tuKikkiriza, n’oluvannyuma ne tuKikolerako. Bwoba toKikoze, olwo oba tokikkiriza. Toli mabega wa lutimbe lubikkako. Ekibikkako ekyo kya muntu omu. Obubaka obwo buli kimu.

Nsuubira era nneesiga nti—nti mubadde n’okutegeera okw’omwoyo okw’ekyo Katonda ky’Abadde agezaako okutuusa eri Ekkanisa nga Takyogedde kaati. Olaba? Ekyo kweggamba, oluusi, tuba tulina okwogera ebintu mu ngeri nga kyandireetera abamu okukogga, kyandiviirako abamu okufuluma, abamu okulekulira, n’abandi oku—oku —okukifumiitirizaako nnyo okumala akabanga. Naye ekyo kikolebwa mu bugenderevu. Kiteekwa okukolebwa bwe kityo.

Ekigambo kyabikkulirwa eri nnabbi wa Katonda. Teriiyo kibinja, Bafalisaayo, oba Abasaddukaayo, oba ekiwayi oba ekika ekimu. Tulina NNABBI yekka! Katonda yafuna omusajja omu. Teyafuna birowoozo bibiri oba bisatu eby’enjawulo. Yafunayo omusajja omu. Y’alina Ekigambo, era ye yekka.

Awo kiyinza okuba ng’abamu bandigamba nti, “Ky’otegeeza Katonda asobola okukola ekintu ng’ekyo kagenderere?” Mazima ddala Yakikola. Akyakikola n’okutuusa kati.

Nga bwe baagamba emyaka bikumi na bikumi emabega, ne leero tuwulira ekintu kye kimu: “Naye waliwo abasajja abalala wano Katonda be yayita.” Ekyo kituufu. Era kasita bagoberera ne beekuumira ku mugendo, Amiina, naye omu bw’agezaako okusitukiramu atwale ekifo kya Katonda Katonda kye yawa nnabbi waffe, ekyo kye Yateekateekerawo era n’Amwawula eri omulimu ogwo, tulina okusigala n’Ekigambo ekyakakasibwa obutaleekaawo kabuuza, Eddoboozi lya Katonda kulw’olunaku lwaffe.

Weetegereze, okufa, okwekuumira wala okuva weKiri kati. Olina okuKiyingiramu ng’oyita mu lutimbe luno olubikkako, ekitali ekyo tolisobola. Nga Katonda yali Asobola okubasaasira, naye jjukira kye kyali, nti Katonda ali mu kwoleka ekyo ekyali emabega w’olutimbe olwo. Wekkaanye ekyali emabega w’olutimbe, Ekigambo! Kyali kibisse ku ki? Ekigambo! Kyali ki? Kiri mu ssanduuko. Kyali Kigambo, ekibikkako ekyo kye kyali kikweese. Okiraba? Era Yesu ye yali Ekigambo ekyo, era Ye Kigambo ekyo na kati, era ekibikkako ky’omubiri Gwe kyali kikibisseeko.

Eri ffe, ekintu ekyo kati kifuuse ekirabikako! Tekikyali kigambo bugambo, wabula ekintu eky’obuliwo! Amiina!

Tukimanyi nti mu maaso g’abalala tuli Bantu-ntu Abatategeerekeka, era tuyinza okuwulikika nga ba ssikirabanga abawunikiriza okutunulako eri ensi, naye kiri mu kuwalulira gy’ali bonna.

Jjangu obeere wamu naffe nga tusalibwamu enjola ezitunywereza ku Kigambo Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga tuwulira nnabbi ng’abuulira ensi engeri gye tuli Abantu Abatategeerekeka 64-0614E . Tukyenyumirizaamu nnyo era tweyanzeege okugamba nti bwetuli.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

I Abakkolinso 1:18-25
II Abakkolinso 12:11