24-0218 Okubikkula Katonda

Obubaka: 64-0614M Okubikkula Katonda

BranhamTabernacle.org

Omugole Ali Emabega W’Olutimbe Omwagalwa,

Lwaki nsigala mbagamba emirundi n’emirundi nti, “OKUNYIGA ZANNYA kye kintu ekisinga obukulu ky’oyinza okukola”? Lwaki nsigala ŋŋamba abasumba nti, “Muzze Ow’oluganda Branham mu bituuti byammwe”?

Ensonga nnyangu nnyo bw’eti. Nga owuliriza Eddoboozi ly’omubaka malayika ow’omusanvu ku lutambi, kwe kuba ng’owuliriza EKIGAMBO EKIRAMU.

Mu maaso g’abantu, Katonda yaddamu ne Yeekweka emabega w’olutimbe n’Alaga obukakafu obw’enkomeredde ku Musa, nga Akokezesa olutimbe olwo, nga Yeebikkira emabega w’Omuliro gwe gumu, Empagi y’Omuliro y’emu yakka. Okuva —okuva kw’olwo…Okuva gyebali, bwebatyo basobole okuwulira Ekigambo kya Katonda kyokka . Mukifuna? Ekigambo kyokka, baawulira Eddoboozi lye. Kubanga, Musa, eri bo, ye yali Ekigambo ekiramu.

Yogera ku Muweereza ow’obuliwo! Eddoboozi lye tuli mu kuwuliriza ku lutambi lye Ddoboozi ly’Ekigambo Ekiramu eky’olunaku lwaffe. Mu ngeri ennyangu-ngu tekyeyongerako bukulu kusukka awo.

Mu kiseera kya Musa, abaana ba Isiraeri abaali mu lusiisira bokka be baali basobola okuwulira Eddoboozi lye. Naye leero, Katonda Yayagala ENSI YONNA ewulire Eddoboozi lye, BW’ATYO N’ASIIMA LIKWATIBWE KU LUTAMBI, Omugole we asobole okuwulira Eddoboozi ly’Ekigambo Ekiramu.

Katonda yali yeebisseeko olutimbe nga Ali munda mu nnabbi we, asobole okwogera Ebigambo bye gye bali. Ekyo kye yali akoze. Musa ye yali Kigambo ekyo ekiramu eri abantu, nga kibikkiddwako Empagi y’Omuliro .

Bw’oba nga tolina Kubikkulirwa kw’ekyo olw’omulembe gwaffe, tosobola kuba Mugole wa Yesu Kristo. Bw’okufuna, olwo GWE Mugole wa Yesu Kristo era ojja kuba olina okugamba nti, “tewali kintu kikulu okusinga okuwuliriza entambi, kubanga Lye Ddoboozi lya Katonda nga Lyogera naawe kamwa ku kutu.”

Bangi bagezaako okutiisa abantu ne bagamba nti tusukkulumya nnabbi; tuli mu kumusinza. Bannange, Ye ye yayogera ebintu bino, so si nze. Nze njuliza bujuliza Kigambo.

Nga bwe kyakolebwanga mu buli mulembe, Obwakatonda bwebikkiranga munda mu lutimbe lwa Mubiri gwa Muntu ow’okunsi. Weetegereze, Yakikola. Bannabbi baalinga Katonda, nga Abikkiddwako olutimbe. Be baali Ekigambo kya Katonda (ekyo kituufu?) nga kibikkiddwa mu lutimbe lw’omubiri gw’omuntu. Kale bwebatyo, era tebaategeera kubeerawo kwa Musa waffe, olaba, Yesu.

Tetuli mu kusinza muntu, wabula Katonda, oyo nga Yeebisseeko olutimbe, olwo nga ye nnabbi, era lw’Ali mu kwebikkuliramu. Ekyo okusobola okukitegeera n’okukikkiriza, oteekwa okukola kino.

Temukyali mabega wa lutimbe olwo, Abato, Katonda Abaviiriddeyo ne muMulabira mu bujjuvu.

Tetukyali mabega wa lutimbe olwo, tusobola okulaba nti Ye Katonda nga Yeebikkula okulabibwa bwanjulukufu. Kizuuse nti okuwuliriza Eddoboozi eryo ku ntambi ye Katonda nga Ayogera n’Omugole we. Tukkiriza nti Ly’Ekkubo Lye lye Yatuteerawo olwaleero.

Tuyinza okugamba AMIINA eri Eddoboozi eryo lyokka, teri ddala. Eddoboozi eryo lijja kubuulira, liyigirize era litubikkulire byonna bye twetaaga okumanya. Eddoboozi eryo lijja kutwanjulayo ewa Mukama waffe Yesu Kristo. Eddoboozi eryo lye byonna bwe twagala era bye twetaaga.

Tweyanzeege nnyo olw’obuweereza obw’emirundi etaano Katonda bw’Akozesa okusonga abantu ku Ddoboozi eryo; olw’abasumba abafunye okwolesebwa okwo era nga balina okubikkulirwa nti okuzannya entambi mu masinzizo gaabwe kye kintu ekisinga obukulu kye bayinza okukolera abantu baabwe.

Tukwaniriza okujja okuwuliriza Eddoboozi eryo ery’Ekigambo Ekiramu ery’amaanyi wamu naffe Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuLiwulira nga libikkula: Okumaamula Olutimbe ku Katonda Abaddenga Omubikkeko 64-0614M .

Owol. Joseph Branham