22-0807 Omuntu Atategeerekeka

Nsango: 64-0614M Omuntu Atategeerekeka

BranhamTabernacle.org

Omugole W’Okubeerawo Kwa Katonda Okuwulikika Abaagalwa,

Nga emitima gyaffe n’emyoyo gyaffe gyayimusiddwa okutuuka ku ddaala empya nga twabadde tukuŋŋaanye wamu okuva mu nsi yonna, nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga lyogera okuyita mu mubaka we era nga liddamu okutukakasa, kye tuli.

Yebikka leero, mu bibya eby’ebbumba, n’okubeerawo kwa Katonda okuwulikika. Kungulu balabika nga ekibinja ky’abatukuvu abeevulungula, ensusu z’eŋŋonge enkadde, naye munda mukwekweddwamu Ekitiibwa Kya Katonda ekiwulikika.

Ekitiibwa kya Katonda! Munda mu ffe mukwekeddwamu Ekitiibwa ky’okubeerawo kwa Katonda ekiwulikika. Tugenze emabega w’eggigi era tusobola okulaba Kristo nga Ayeruddwa bulungi.

Leero, Katonda takolera mu muntu, akola okuyita mu muntu. Yali akolera mu Musajja mu kiseera ekyo, Yesu. Kati, akola ng’ayita mu muntu gw’alonze olw’ekigendererwa kino. Katonda, mu kikula ky’omuntu; Yeekyusa okuva mu kikula kya Katonda, n’adda mu kikula ky’omuntu.

Katonda yennyini yalabikira mu kikula ky’omuntu, eri ezzadde lya Ibulayimu ery’omubiri, nga okuzikirizibwa tekunnabaawo, era Yesu n’Agamba nti kijja kuba ekintu kye kimu eri ensigo eno ery’obwakabaka nga Omwana eyasuubizibwa tannadda.

Katonda azzeemu okulabika mu kikula ky’omuntu, nga bwe yasuubiza nti ajja kukikola. Ye Katonda nga Yeekwese emabega w’eggigi ly’omubiri oguyitibwa William Marrion Branham. Okujjako nga ogenze emabega w’ekibikkako ekyo n’olaba Katonda, so si muntu, osubiddwa pulogulaamu ya Katonda yonna.

Abantu abamu bagamba nti, “Bantu mmwe, mufuula Ow’oluganda Branham katonda”. Umm, tulowooza nti ekyo kiringa ekitalina buzibu. Tukimanyi nti bagezaako bugeza kutusangamu nsobi. Tukimanyi nti ekyo tetwakikola. Naye era tukimanyi nti tebaakitegeera, kubanga bali ku ludda olulala olw’olususu, tebazze mabega wa kibikkako.

Tusobola okugamba bulungi nti, “Kale, ekyo tekiri wala nnyo okuva ku Kigambo kya Katonda, si kyo?” Twagala kubategeeza butegeeza nti tetubuze. Tumanyi wa we tuyimiridde. Tumanyi ekika ky’amaato kye tutaddewo, na empewo kika ki eri mu kutufuuwa. Tumanyi enjola ze tulina, ne ennatti yaffe ky’eri. Era tumanyi wa we tuyimiridde.

Katonda bwe yeeyoleka mu nsi, yali yeekwese emabega w’ekibikkako, emabega w’olususu lw’Omuntu ayitibwa Yesu. Yabikkibwako era nga Yeekwese emabega w’olususu lw’omuntu ayitibwa Musa, era baali bakatonda so si Ba Katonda; naye baali Katonda, Katonda omu, nga akyusa bukyusa akakookolo ke yali yeesibyeko, nga akola ekintu kye kimu mu buli mulundi, lwe yaleetanga Ekigambo kino.

Tusaliddwako enjola z’Ekigambo, Obubaka ne nnabbi w’ekiseera, era ziri mu kutusika nga zitutwala mu Maka gaffe ag’omu Ggulu. Tuli bantu abatategeerekeka eri ensi, naye Katonda yatutumira ennatti esika Omugole We okuva mu kavuyo kano, nga emuzza mu kubeerawo kwa Katonda. Tuli ennatti esaliddwako enjola z’Ekigambo.

Katonda, ng’aliko olususu! Kiyinza okuwulikika ng’obuzoole, eri ensi, naye nga nnatti eno eri mu kuwalulira bantu gy’ali bonna.

Obubaka buno ye maanu eva mu Ggulu, Emmere y’abakkiriza eya ffe ffekka, era buli mu kusika Omugole we gy’ali. Ekitiibwa ky’okubeerawo kwa Katonda okuwulikika, ekyabeeranga waggulu w’omugaati ogw’okulaga, kyagukuuma obutayonooneka.

Katonda ataddewo Ekkubo eri leero, Obubaka buno n’omubaka we; Katonda nga abikkiddwako olususu. Kati Katonda nga Yeekwese mu ffe, Omugole we, y’asobola okulya Eddoboozi lya Katonda erirongoofu lyokka erikakasiddwa Empagi y’Omuliro.

Tetuwakanya buweereza bwa mirundi etaano, kikafuuwe, Katonda abayise mu buweereza. Bagoberera era bakola nga Omwoyo Omutukuvu bw’abakulembera. Tukola bukozi nga Omwoyo Omutukuvu bw’atukulembera okukola era akulembera era n’okutulungamya okusigala na ntambi zokka.

Kale, kati, wuliriza buli Kigambo. Kikwate. Era —era bw’oba ​​okikwata ku ntambi, oba ekintu kyonna, olwo nno sigalira ddala n’okuyigiriza okwo okw’olutambi. Toyogera kintu kirala kyonna okuggyako olutambi olwo kye lugamba. Yogera bwogezi ekyo kyokka olutambi kye lugamba.

Eri ffe, ENGERI YOKKA EY’OKWULIRAMU: “BULI KIGAMBO,” “SI KIRALA KYONNA OKUJJAKO EKYO OLUTAMBI KYE LWOGERA,” “KYENNYINI ENTAMBI ZE KYOGERA,” KWE KUNYIGA ZANNYA NE TUWULIRA ENTAMBI.

Kale tukwaniriza ojje owulirize kyokka entambi ze kyogera ku Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), era ofuuke Omuntu Atategeerekeka wamu naffe nga bwe tuwulira Obubaka: Omuntu Atategeerekeka 64-0614E

Owol. Joseph Branham

I Abakkolinso 1:18-25
II Abakkolinso 12:11