24-0211 Tunula Eri Yesu

Obubaka: 63-1229E Tunula Eri Yesu

BranhamTabernacle.org

Ensigo Emeruse Omwagalwa,

Oyinza okulowooza ku ngeri gye kyandibadde eky’ekitalo okutuula wansi n’owulira omubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu ng’akubuulira nga bw’ateekekanga kubabuulira Kuteesa kwa Katonda kwonna? Okugenda bulambulukufu nnyo ku Kusika Okw’okusatu, n’okukukakasa engeri gye kukakasiddwamu kati ?

Engeri Katonda gye Yayogeramu bu kaamuje ne butondebwawo; mu ngeri y’emu nga bwe Yayogera n’Atonderawo Ibulayimu endiga ennume. Engeri Eddoboozi eryo lye limu bwe lyamugamba okwogera eri mwannyinaffe omutono omuwombeefu ayitibwa Hattie, eyali yaakamala okwogera ekintu ekituufu, era amutegeeze nti Eddoboozi lye limu eryayogera ne Litondawo bu kaamuje Lyagamba nti ligenda kumuwa kyonna ky’ayagala era alabe oba tekiibeewo mu kiseera ekyo kyennyini.

Engeri olunaku lumu bwe yali ayigga mu ddungu ne mikwano gye, omuyaga ogw’amaanyi bwe gwajja ogwandimuwalirizza okuva we yali. Naye nga Katonda bwe yayogera naye, kamwa ku kutu, n’Agamba nti, “Nze Nnatonda eggulu n’ensi. Nnakkakkanya embuyaga ez’amaanyi ku mayanja.”

Engeri gye yabuuka n’aggyako enkoofiira ye ng’Eddoboozi eryo limugambye nti, “Yogera bwogezi eri omuyaga, nagwo gunaateeka. Kyonna ky’onooyogera, ekyo kye kijja okubaawo.”

Teyabuusabuusa Ddoboozi eryo, wabula yayogera n’agamba nti, “Omuyaga, teeka. Era, omusana, yaka mu ngeri eya bulijjo okumala ennaku nnya, okutuusa lwe tuva wano.”

Mbagirawo nga yaakakyogera, obukuba-kuba obulimu omuzira, omuzira ogutannasaanuuka na byonna byayimirira. Engeri mu kaseera buseera omusana bwe gwali gutandise okwakira ku mugongo gwe. Kikuŋŋuunta n’akyusa obuufu bwe n’ebire, ng’ekintu ekitategeerekeka, ne byeyongerayo waggulu mu bbanga, era omusana ne guba nga gwaka oluvannyuma lw’obudakiika butono.

Olwo n’akubuulira engeri emyaka 16 nga tekinnatuuka na kweyoleka, Katonda gye yamulaga nti waliwo ekizimba mu nda ya Mwannyinaffe Branham ku ludda olwa kkono, n’ensonga lwaki kyateekebwayo. Engeri gye baasaba ne basaba Katonda akiggyewo. Olwo, ne bakkiriza nti yali Katonda nga Agezesa bugezesa kukkiriza kwabwe.

Awo nga tekinnaba kuggyibwamu na kulongoosebwa, yali ayogera ne Katonda era ng’aMugamba nga bw’abadde omukyala ow’enjawulo gy’ali. Engeri gy’atamwemulugunyangako olw’obutatera kuba waka. Engeri gye yamutegekerangawo buli kimu bwe yayagalanga okugenda okuyigga, okuwummulamu n’okwogera ne Mukama.

Awo n’awulira ekintu mu kisenge. Nga bw’atunula waggulu, Eddoboozi eryo ne Ligamba nti, “Yimirira,” ne Limugamba nti, “Kati kyonna ky’onooyogera, bwe kityo bwe kinaaba.”

Yasooka n’alindamu-kko akadakiika, oluvannyuma n’agamba nti, “Omukono gw’omusawo nga tegunnamukwatako, Omukono gwa Katonda gujja kuggyawo ekizimba ekyo, n’okuzuulibwa tekijja kuzuulibwa.”

Nga wakyabulayo kitundu kya katikitiki omukono gw’omusawo okumukwatako, omukyala n’awona. Engeri omusawo gye yamugamba nti, “Njagala okukukakasa nate, Mukyala Branham, nti ekizimba ekyo tekiriiyo. Tolina kizimba kyonna.”

Nga Kituukirivu nnyo Ekigambo kya Mukama waffe!

Okumuwulira ng’akugamba nti tewakyali kubuusabuusa mu birowoozo bye, amanyi Okusika Okw’okusatu kye ki, era amanyi kye Kukola. Mu ndowooza ye, kijja kuba kintu ekigenda okutandikawo okukkiriza okw’Okukwakkulibwa, olw’okuva wano.

Nga ffe bwetulina okubeera obubeezi abakissaamu ekitiibwa, era tusirike, nga bwekiri nti essaawa enaatera okutuuka Katonda w’agenda okutukolera ebinene. Ekiseera ekyo bwe kinaatuuka, okunyigirizibwa bwe kunaakka, olwo tujja kulaba kye tubadde tulabira mu mbeera ey’akaseera obuseera, nga kyeyolekera mu bujjuvu bw’amaanyi gaakyo.

Tujja kufuna omukisa ogwo omunene Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda). Njagala okukwaniriza obeere ekitundu kuffe nga bwe tuwulira: Tunula Eri Yesu 63-1229E .

Tujja kuba tetukuŋŋaana kuwulira musajja; eriyo abasajja bangi ku luguudo, era bonna byeboogera bifaanagana. Tetujja kuba nga tulindirira oba nga tuwulira omuweereza obuweereza, oba omusumba, tujja kuba tulindirira era nga tuwulira Yesu.

Tujja kuba tugattibwa wamu okuva mu nsi yonna okuwulira Omusajja Oyo, Omusajja wa Katonda Oyo, Yesu oyo ow’e Nazaaleesi ey’omubiri, nga ye Katonda, ng’Ayogera n’Omugole We.

Oteekwa okwebuuza nti, otunuulidde ki leero? Bw’otunula olaba ki? Awantu w’osobola okuMulabira wokka wali nga oMutunuulira ng’oyita mu Kigambo.

Kye yali bwe yatambulanga mu Ggaliraaya, kye kintu kye kimu ky’ali ekiro kino mu Jeffersonville, ekintu kye kimu ekyo ky’ali ku Branham Tabernacle. Ogendera kulaba ki bw’otunula, omutandisi, omusajja w’ekibiina ky’eddiini? Ekyo Yesu tolikiMulabamu. Bw’otunula, oba ogenderedde kulaba muntu yeeyisa mu ngeri ya ki-kabona ennyo? Ekyo Yesu tolikiMulabamu. Nedda, Yesu omulaba otya? Omulabira mu Kigambo kya Katonda ekyoleseddwa, kubanga ye yali Ekigambo kya Katonda ekyayolesebwa. Kye yali mu kiseera ekyo, ky’Ali ekiro kya leero, era ky’Aliba lubeerera.

Tunuulira Yesu kati obe mulamu; Kiwandiikiddwa mu Kigambo, aleluuya!

Ky’ekyo kyokka nti “tutunula ne tuba balamu.”

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga weetegekera okuwulira oluku ŋŋaana:

Okubala 21:5-19
Isaaya 45:22
Zekkaliya 12:10
Omut. Yokaana 14:12