24-0204 Waliwo Omusajja Wano Asobola Okuteekako Ekitangaala

Obubaka: 63-1229M Waliwo Omusajja Wano Asobola Okuteekako Ekitangaala

BranhamTabernacle.org

Ekifaananyi kya Yesu Kristo Abaagalwa,

Abantu balowooza nti tuli balalu, nga tutudde mu maka gaffe ne mu masinzizo gaffe, nga tuwuliriza entambi. Balowooza nti tufa enjala. Nebatakimanya-ko nnyo nti tutudde mu maaso g’Ekitangaala ky’Omwana Aweebwa Ekitiibwa Ekisukkulumu, nga twengera, era nga tuliisibwa Emmere Eterekeddwa ng’ennyana eziri mu kiraalo.

Yeffe Ŋŋaano ennoongoseemu okusinga ko ku ndala, nga etegekeddwa okutwalibwa. Bwe baba baagala okuwangaalira mu nnono zaabwe, bagende mu maaso. Si FFE, tuwangaalira mu Kitangaala ky’olunaku lwaffe.

Ekitangaala ky’olunaku lwaffe kye ki? Katonda yatuma mu nsi malayika we ow’amaanyi ow’omusanvu okukulembera Omugole we. Yali ki? Yali nnabbi. Bye yayogera byatuukirira. Yali Kigambo kya Katonda ekyoleseddwa. Yali kwolesebwa kw’Ekitangaala ky’Ekigambo kya Katonda. Yali Kitangaala kya Katonda kulw’olunaku lwaleero.

Musa yagenda bugenzi butereevu mu maaso, mu ngeri yonna, kubanga ye yali Obulamu, ye yali Ekitangaala ky’ekiseera ekyo. Kye yalina, kyali ki? Katonda ng’Ayolesa Ekigambo kye ekyasuubizibwa okuyita mu Musa, era Musa ye yali Ekitangaala.

Eriya ye yali Ekitangaala… Ekitangaala! Aleluuya! Ye yali Ekitangaala. Ekitangaala! Yali Kigambo kya Katonda ekyoleseddwa.

Yokaana, bwe yajja ku nsi… Yesu yagamba nti, “Yali Musana ogwakaayakana ogumulisa.” Aleluuya! Lwaki? Ye yali Ekigambo ekyoleseddwa.

Olwo okusinziira ku Kigambo, Ekitangaala ky’omulembe gwaffe ye nnabbi wa Katonda, William Marrion Branham. Oyo ayogerera waggulu mu ddungu ly’e Babulooni nti, “Mukifulumemu, abantu bange, muleme kugabana ku bibi byakyo.”

Ye yali okutuukirizibwa kwa Malaki 4:5, ne Okubikkulirwa 10:7. Yayogera bwogezi nti, “kijja kubaawo,” era ne kibaawo, awatali kintu kyonna mu kyo. Teyalinaawo ka kaamuje; tewaaliwo n’akamu awo. Yagamba bugambi nti, “Leka wabeerewo,” era ne wabaawo.

Ekigambo kya Katonda tekisobya, era Kirina okutuukirira. Tulabye Omusana; Ekigambo kye kye yasuubiza olw’olunaku luno. Kikakasibbwa era ne kiragibwa okusukka okuwakanyizibwa kwonna nti Ge Mazima. Kye Kitangaala ky’ekiseera.

Tewali kisobola kuwanyisibwa kudda mu kifo ky’okumanya nti kye tuli mu kuwuliriza kye Kigambo ekyolesebbwa eky’olwaleero. TEKIRIIMU MAGI GA NSIRI MU KYO… TEMULI YADDE . Abalala bwe baba bamativu n’ekintu ekirala, bagende mu maaso, naye si ffe.

Tekitegeeza nti tosobola kuwuliriza musumba wo, oba nti obuweereza tebusobola kubuulira; si bwekiri n’akatono, naye OTEEKWA okusengejja buli kigambo ky’owulira ng’okiyisa mu kasengejja ka Katonda ak’ekitalo, OBUBAKA BUNO KU LUTAMBI.

Bwebagamba nti ennaku z’Obubaka bw’omusajja omu zaggwaako, ago GE MAGI G’ENSIRI. Bwe bagamba nti Obubaka buno si ye Abusoluuti waabwe, ago GE MAGI G’ENSIRI. Bwe bagamba nti okuwuliriza entambi tekimala, ago GE MAGI G’ENSIRI.

Tewali kisinga ku Kunyiga obunyizi Zannya, ng’okimanyi nti osobola okugamba AMIINA eri buli kigambo. Tewali kifo kirala w’oyinza kukolera ekyo okuggyako ng’owuliriza Obubaka bw’ekiseera.

Kati ffe kifaananyi kya Yesu Kristo olwaleero. Ffe Kigambo kye ekyolesebbwa. Ffe be yalonda okufuna Okubikkulirwa kuno okw’ekitalo okw’ekiseera eky’enkomerero. Ffe MUGOLE WE.

Omugole we yekka y’ajja okuba n’Okubikkulirwa okwa nnamaddala okw’Ekitangaala kya leero. Bajja kumanya, Ekitangaala kino kijja kubatuukiriza. Ekitangaala kino ye Mwoyo Omutukuvu nga Ayogera okuyita mu mubaka we malayika.

Wandyagadde okutuula mu maaso g’Omusana gw’Ekiseera kino? Olwo nno nkwaniriza okujja okutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira Waliwo Omusajja Wano Asobola Okuteekako Ekitangaala  63-1229M.

Owol. Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuwuliriza lukuŋŋaana:

Olubereberye 1:3, Essuula 2
Zabbuli 22
Yoweri 2:28
Isaaya 7:14, 9:6, 28:10, 42:1-7
Omut. Matayo 4:12-17, Essuula 24 ne 28
Omut. Makko Essuula 16
Okubikkulirwa Essuula 3