24-0128 Ebika Ebisatu Eby’Abakkiriza

Obubaka: 63-1124E Ebika Ebisatu Eby’Abakkiriza

PDF

BranhamTabernacle.org

Omukkiriza omwagalwa,

Nga kya kitalo okugamba nti, NDI MUKKIRIZA. Si mu kikwate; wabula Ekigambo! Si mu kibiina ky’eddiini; wabula mu Kigambo! Si ekyo omuntu omulala ky’ayogera; naye Ekigambo kye kyogera!

Tetuteeka kabuuza ku kintu kyonna, tukikkiriza bukkiriza. Ka kibeere nti Kiwulikika kitya oba omuntu omulala yenna ky’alina okukyogerako, tuli mukkiriza wa nnamaddala. Tulina okubikkulirwa okw’omwoyo okw’Ekigambo.

Tulaba essaawa gyetubeeramu. Tulaba Obubaka bw’ekiseera. Tulaba omubaka w’ekiseera. Tulaba Katonda nga yebikkulira mu Kigambo Kye. Tulaba nga tewali kirala kyonna okuggyako Obubaka Buno, Omubaka Ono, Ekigambo Kino.

Omukkiriza owa nnamaddala tawulira kintu kirala okuggyako Ekigambo. Ky’ekyo kyokka. Atunuulira Ekigambo. Takinoonyako bituli bikirimu. Tanoonya miziziko gikyekweseemu. Akkiriza Katonda, era ekyo kikigonjoola, era yeegendera bwegendezi mu maaso. Olaba? Y’oyo omukkiriza.

Tetusobola kuwulira kirala kyonna okuggyako Ekigambo; Ekigambo ekyo ekijja eri nnabbi yekka. Tekiriimu bituli, si kuvvuunula kwa muntu omu, Ekigambo Ekirongoofu ekyayogerwa ne kiteekebwa ku ntambi ku lw’Omugole.

Omwoyo awadde Ekigambo ekyo obulamu mu ffe era Kifuuse kiramu. Olw’okukkiriza, tukiraba era tukikkiriza. Wajja kubaawo okuwuuma okuva mu Ggulu okunaaleeta okubatizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu mu Mugole mu ngeri ey’omuggundo ennyo bw’etyo, okutuusa nga kujja kutusitula okuva ku nsi, mu Kisa eky’Okukwakkulibwa. Katonda yakisuubiza.

Tuteekebwa mu kugezesebwa buli kiseera, buli lunaku. Sitaani agezaako okutugamba ebigezo byaffe n’okugezesebwa mbu aba Katonda nga Atubonereza. Naye KATONDA ATENDEREZEBWE, si bwekiri, Sitaani y’akikola nga Katonda akiganyizza okuba.

Katonda ali mu kututeekamu bwegendereza, era Atwola alabe bwetweyisa. Okugezesebwa kujja kutukankanya, okututeekera ddala wansi ennyo, Alabe we tunaayimirira. Naye tuwangula buli lutalo, kubanga tuli byakulabirako ebiramu; ekigambo kya Katonda kibeera mu ffe era nga kiyita mu ffe.

Tuli ba muwendo kwenkana wa mu maaso Ge?

Teri n’omu asobola kutwala kifo kyo, ne bw’oba mutono otya. Ogamba nti, “Ndi mukyala bukyala ow’awaka.” Tewali asobola kutwala kifo kyo. Katonda, mu mbalirira y’entambuza y’emirimu gye ey’ekitalo, bw’Atyo bw’Agutegese ennyo nnyini, Omubiri gwa Kristo, mu nsengeka ennungi, okutuusa nga tewali ayinza kutwala kifo kyo.

Ekyo nga kya kitalo? Buli omu ku ffe alina ekifo. Buli omu ku ffe yali wano Katonda bwe yayogera ekigambo ensi n’etondebwawo. Omubiri gwaffe yaguteeka wano mu kiseera ekyo kyennyini. Katonda yatuteeka ku nsi mu kiseera kino okutuukiriza Ekigambo Kye era Atuwe Obulamu Obutaggwaawo.

Buli muntu alina okukola okusalawo. Oyimiridde wa ku Kigambo kino, Obubaka buno, omubaka ono? Kikulu kwenkana wa okuwulira Ekigambo ekyogerwa ku ntambi?

Okubuna mu bitundu byonna eby’enjawulo eby’ensi, entambi zino zikuyezeeyo yonna, obuweereza obungi obw’entambi .

Bwe Buweereza obw’olutambi obututumiziddwa okuva eri Katonda eri Omugole we okwetoloola ensi yonna. Bukubuulira wa wennyini w’oli, kiki kyennyini ky’oli, era oba ddala oli mukkiriza mu Kigambo.

Oli mu kimu ku bibiina bino. Mu mbeera yo gy’olimu eya kati kati, embeera ebirowoozo byo mwebitambulira mu buliwo kati, eyo, ggwe ali wano mu kibiina ekindabako kati, naawe alibeera mu kibiina ekitandabeko eky’olutambi luno, embeera eyo ebirowoozo byo byeginaabeeramu oluvannyuma lw’okuwuliriza olutambi luno, ekukakasa kibiina ki mw’ogwa.

Oluvannyuma lw’okuwuliriza olutambi luno, lukakasa kibiina kya bantu nnabaki b’ogwamu. Abamu bakkiriza nti weetaaga ekisingawo ku Kigambo ekitagattidwamu kantu ekyayogerwa ku ntambi. Abamu bakkiriza nti ennaku z’Obubaka bw’omusajja omu zaggwaako; mbu olina okuwuliriza omusumba wo ekitali ekyo obuze.

Enjawukana esinga obunene mu Bubaka leero bwe bukulu obuteekeddwa ku kuwulira entambi. Abamu bayigiriza nti kikyamu okuzannya entambi mu kkanisa; mbu musumba yekka y’alina okuweereza. Abamu bagamba nti waliwo kasavu kanyama, naye tebalinaayo lunaku lwe bazannya ntambi, oba bwe baba nga bakikola tekitera nga bw’okiwukira okubaawo.

Nga tulina ebirowoozo bingi nnyo, ebirowoozo bingi nnyo, okuvvuunula kw’Ekigambo kungi nnyo, mutuufu y’ani? Ani gw’osaanidde okukkiriza? Ekyo kye kibuuzo buli omu ku ffe ky’alina okwebuuza.

Nabbi yatugamba tukikebere n’EKIGAMBO, so si muntu yenna ky’ayogera. Ekyo okikola otya? Waliwo ENGERI EMU yokka ey’okukola ekyo, NYIGA ZANNYA.

Wateekwa okubaawo eky’okuddamu ekituufu, engeri entuufu. Buli muntu alina okwesalirawo. Ssande eno y’egenda okusalawo ebiseera eby’omu maaso by’abo bonna abawulira Obubaka buno.

Waliwo ky’osaanidde okwebuuza: Omuntu yekka alina Bw’ati bw’ayogera Mukama, y’ani? Empagi y’Omuliro yakakasa ani? Anaatwanjulayo eri Yesu y’ani? Eyayogera Ekigambo eky’obwa nnantakolansobi y’ani? Ebigambo byali by’ani ebyayogerwa ku nsi ne biba bikulu nnyo, okutuusa nga byawaawaalira mu ggulu?

Bw’oba nga wandyagadde okuba n’eby’okuddamu ebituufu, nnandyagadde nkwanirize okujja okuwuliriza Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), Obubaka : 63-1124E — Ebika Bisatu Eby’Abakkiriza .

Owol. Joseph Branham

Omut. Yokaana 6:60-71