24-0121 Nnaakola Ntya Yesu Ayitibwa Kristo?

Obubaka: 63-1124M Nnaakola Ntya Ne Yesu Ono Ayitibwa Kristo

BranhamTabernacle.org

Abaagala Entambi Abaagalwa,

Obubaka buno tubwagala nnyo n’omutima gwaffe gwonna. Bwe buwoomi bw’ekikajjo kya Katonda. Kye Kigambo kya Katonda ekikakasibbwa mu bujjuvu ennyo kityo, era ne kikakasibwa, emirundi n’emirundi. Obubaka buno ky’eky’okuddamu eri Ekigambo kya Katonda. Ye Kristo y’omu eyafukibwako amafuta, Ekigambo ekyafukibwako amafuta eky’omulembe gwaffe.

Tulina Ekigambo kya Katonda ekikakasibbwa wano, nga kiraga obukakafu obulabikako, nga kikakasa nga kikozesa Omwoyo, nti atusembezza era atuwadde Okubatiza kw’Omwoyo Omutukuvu. Tubatizibbwa okuyingira mu Linnya lya Yesu Kristo. Enjiri y’emu, obubonero bwe bumu, ebyewuunyo bye bimu, obuweereza bwe bumu, n’okuba n’Empagi y’omuliro y’emu erabika mu maaso gaffe, ng’eraga obubonero n’ebyewuunyo. Tewali kya kwekwasa, wantu wonna.

Kye kiseera eky’okugatta ne Katonda n’Omugole we. Omugole wa Kristo ayitiddwa. Tuggaliddwa munda mu Bwakabaka bwa Katonda n’envumbo n’essibwako. Ebyuma ebitambuza ekidduka weebiri wano tulinze bulinzi Maanyi gabikoleramu aganaatuggya ku nsi eno gatuyingize mu Kitiibwa, mu Kukwakkulibwa.

Amaanyi ago kwe kujjuzibwa nate n’Omwoyo Omutukuvu. Ejjinja ery’oku ntikko lijja kukka lyegatte n’Omubiri. Olwo, Omutwe n’Omubiri bwe bineegatta awamu, amaanyi amajjuvu ag’Omwoyo Omutukuvu gajja kutusitula FFE era abafu mu Kristo bajja kuzuukirira mu bulungi bw’obutukuvu bwe, era tulinnye ennyonyi etutwala mu bbanga.

Essaawa eyo esemberera mu bwangu obw’ekitalo. Obudde butuuse ku nkomerero. Okusalawo okw’enkomeredde kulina okukolebwa. Onookola otya n’Ekigambo ekyafukibwako amafuta eky’olunaku lwaffe? Oyimiridde wa ku kikwatagana n’Obubaka bw’ekiseera?

Onoomala gagamba nti: “Nzikiriza Obubaka. Nzikiriza Katonda yatuma nnabbi.”

Tokoma bukomi wano, n’ogamba nti, “Nzikiriza Obubaka.” Gondera omubaka. 

Bw’oba nga oteekwa OKUGONDERA omubaka: WEETEGEREZE, yagamba gondera omubaka. Olwo nno nga kikulu okukkiriza n’okuwulira buli Kigambo omubaka kye yayogera?

Ogamba nti, “Kale, nzikiriza buli Kigambo ekyogerwa, Ow’oluganda Branham.” Ekyo kirungi, naye ekyo kwe —ekyo kwe kusobola okusoma kwokka.

Lwaki abantu entambi tezibamala? Buli muntu tayinza kuba nnabbi. Waliwo nnabbi omu yekka, era Ekigambo kyajja eri nnabbi oyo.

Ekkanisa yakola bulungi okutuusa lwe baatandika okuKibuuza ebibuuzo; oba lwe baayagala amaloboozi ag’enjawulo okubabuulira, n’okubataputira, ebyo nnabbi oyo bye yayogera. Baayagalayo Koola ne Dasani ab’omulembe guno.

Laba, kyatandika na kuvvuunula okukyamyemu-kko katono okw’Ekigambo, era, ekintu kye kimu, kiri mu kukomekkerera mu ngeri y’emu.

Bwe kiba nga kyatandika na, era kijja kukomekkerera na, kuvvuunula okukyamyemu-kko akatono okw’Ekigambo, mazima ddala otegeera engeri gy’OTEEKEDDWA okusigala n’entambi. Mazima olaba lwaki Katonda yafuba okulaba nga Obubaka buno bukwatibwa era ne buterekebwa kulw’Omugole.

Ebintu bino sibyogera kukkakkanya basumba bammwe, oba okugamba nti towuliriza musumba wo, NEDDA, wabula okukulaga obukulu bw’okunyiga zannya n’okuwulira Obubaka buno ku lutambi.

Nga Ekkanisa yandibadde ekikebera ng’ekiddiŋŋana, ng’ekiddiŋŋana, n’ekiddiŋŋana, n’ekiddiŋŋana! Tulindiridde Okujja Kwe. Tuli mu kugolokoka, tulindiridde okusimbula. Kirungi tukikebere n’Ekigambo, so si ekyo omuntu omu kye yayogera . Kakasa nti omanyi, ggwe kennyini, ng’obumanyirivu obwa ssekinnoomu ne Kristo. Kikebere okiddiŋŋane, okiddiŋŋane, okiddiŋŋane.

YAGAMBYE ki? Tulina okukikebera nga tukozesa Ekigambo tukiddiŋŋane, tukiddiŋŋane, tukiddiŋŋane. Okikebera otya nga okozesa Ekigambo? Ekigambo kya leero kye kiruwa? Kye kimu nga bwe kibaddenga okuva ku lubereberye, Bayibuli.

Katonda ani gw’Agamba nti ye muvvuunuzi w’Ekigambo kye? Nze? Omusumba wo? NEDDA, nnabbi wa Katonda eyakakasibwa obutaleekaawo lufunyiro ow’ekiseera ye muvvuunuzi yekka ow’Ekigambo. N’olw’ekyo, olina okuddiŋŋana, n’oddiŋŋana, n’oddiŋŋana okukebera buli Kigambo omuntu yenna ky’ayogera, nga okozesa ENTAMBI!

Bwe kiba nti ekigambo ekyo kituufu, era ng’okkiriza nti ekintu nnamunigina ekisinga obukulu omuntu yenna, oba omusumba yenna ky’ayinza okukola, kwe KUNYIGA ZANNYA, olwo lwaki ekyo kiba kikaluubiriza nnyo omuntu yenna agamba nti akkiriza Obubaka okukyogera? Kubanga, okukyogera mu ngeri ennyangungu, tebaKikkiriza.

Okusalawo KWO okw’enkomeredde kwe kuluwa? Nze n’ennyumba yange, tujja kusigala n’Obubaka buno n’omubaka wa Katonda, Entambi. Tukkiriza nti tewali kikulu okusinga okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.

  • • Waliwo Eddoboozi LIMU lyokka erya Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama.
  • • Waliwo Eddoboozi LIMU lyokka Empagi y’Omuliro Lye yakakasa.
  • • Waliwo omubaka malayika ow’omusanvu OMU yekka.
  • • Waliwo Eddoboozi LIMU lyokka Omugole yenna ly’asobola okukkiriziganyizaako.
  • • Waliwo Eddoboozi lya Katonda LIMU lyokka eri omulembe guno.

Bw’oba olina Okubikkulirwa okwo kwe kumu, jangu onneegatteko n’akabinja akatono ak’abakkiriza okwetoloola ensi yonna bwetukkiriza obumu, Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira era nga tukola okusalawo okusembayo ku: Nnaakola Ntya Ne Yesu Ayitibwa Kristo? 63-1124M.

Owol. Joseph Branham