24-0114 Oyo Ali Mu Ggwe

Obubaka: 63-1110E Oyo Ali Mu Ggwe

BranhamTabernacle.org

Abakkiriza Ab’Okukkiriza Okutuukiridde Abaagalwa,

Buli lunaku emitima gyaffe gikuba nnyo n’okusuubira okungi. Tulindiridde essaawa eyo okutuuka ey’Okujja kwe mangu ddala. Okutya kwonna kuweddewo. Tewakyali kwebuuza nti, “Tuli Mugole We”? Kisudde ennanga mu mitima gyaffe nga bwe kitabangawo, FFE MUGOLE WE.

Tukwatiddwa mu mbeera ey’omu Ggulu, nga tuwuliriza obuweereza bwa Yesu Kristo, eyayambala omubiri omulundi ogw’okubiri mu Kkanisa Ye. Obubaka buno bukakasiddwa bulungi nnyo Ekigambo kya Katonda, okutuusa nga tayinza kuba muntu, alina kuba Katonda ng’Ayogera kamwa ku kutu eri Omugole we.

Tukkiriza nti si muntu y’ayogera naffe ku ntambi zino, Katonda.

Kye ngezaako okwogera, “Togezanga n’ofiirwa obwesige bwo.” Toleka Sitaani kukubuulira bubi ku nze; ‘kubanga, waliwo bungi. Naye ggwe kuuma obwesige obwo; ‘kubanga, bw’otokikola, tekijja kubaawo. Totunuulira nze, ng’omuntu; Ndi muntu, nzijudde ensobi. Naye tunuulira bye njogera ku Ye. Ye Ye. Ye Oyo.

Olina okuba n’obwesige n’okukkiririza mu YE by’AYOGERA, EKITALI EKYO TEBIJJA KUBEERAWO. Tetutunuulira nnabbi wa Katonda ng’omuntu, nga bangi bwe balowooza nti bwetukola. Tuli emabega w’olutimbe lw’omubiri gw’omuntu, era kyokka kye tulaba n’okuwulira ye Katonda ng’ayogera ng’ayita mu mimwa gy’omuntu, ERA NE TUBA N’OBWESIGE NE TUKKIRIZA BULI KIGAMBO.

Okwo kwe kubikkulirwa kwa Yesu Kristo okwa leero. Okukkiriza nti Katonda, so si musajja, Y’ayogerera ku ntambi ezo. Ekyo bw’okisubwa munnange, obubaka bw’ekiseera oba obusubiddwa era tosobola kubeera Mugole.

Sitaani assa okutaputa kwe ku ekyo, era ebitundu 99% ajuliza Obubaka nga bwe yakola Kaawa, naye yalagirwa okusigala n’Ekigambo; Adamu kye yamugamba Katonda kye yayogera, so si omuntu omulala yenna kye yagamba nti kyekyali kitegeeza. Yalina okusigala n’Eddoboozi lya Katonda.

Luno lwe lunaku olusinga obukulu ensi lwe yali elabyeko. Obulamu bwa Yesu Kristo, obwabeeranga era ne bweyolesezanga mu bulamu bwa nnabbi We, kati bubeera mu mubiri mu FFE, Omugole We.

Tukola ekyo kyennyini kye Yatulagira okukola: okusigala n’Ekigambo nga tusigala n’Eddoboozi lya Katonda ku ntambi. Bwe buweereza n‘enteekateeka  ya Katonda ey’olutambi eya leero.

Bwoba okkiririza ddala nti William Marrion Branham yali mubaka wa Katonda ow’omusanvu omulonde, Katonda gwe yalonda okwogera n’okubikkula ebyama byonna ebikwekebbwa mu Kigambo, Eddoboozi lya Katonda eri omulembe guno, omusajja eyalina okukkiriza nga omuntu omulala yenna kw’ataalina, oyo malayika wa Mukama gwe yagamba nti “bw’oleetera abantu okukukkiriza GGWE, tewali kigenda kuyimirira mu maaso g’essaala zo ”, olwo Ssande eno lujja kuba lunaku lwa bbaluwa mmyufu nga olulala bwelutafaanananga.

TEWALI KINTU ekiyinza okutuggyako Okubikkulirwa kw’Obubaka Buno, MPAWO NA KIMU. TETUYINZA na kukibuusabuusa. Bw’aba yakyogera, tukikkiriza. Tuyinza obutabitegeera byonna, naye tubikkiriza ewatali kuddirizibwamu.

Yesu yennyini yatugamba nti: “Ali mu mmwe wa maanyi okusinga oyo ali mu nsi.” Ekyo leka kinnyikire mu mitima gyaffe. Omwoyo we abeera mu ffe. Ekyo tusobola okukitegeera? Kati, nga bw’osoma ebbaluwa eno, Omwoyo Omutukuvu, Katonda yennyini, Empagi y’omuliro, abeera era atuula mu ffe? Tumanya tutya nti ekyo kituufu? KATONDA BW’ATYO BWEYAYOGERA!!

Sitaani buli kiseera atugamba nti tuli ba kiremwwa abatageraageranyizika. Era mutuufu, bwe tuli. Atujjukiza, tetuli we twetaaga kubeera mu Kigambo. Era nate, ekyo kituufu. Tukola ebintu nga tumanyi ebibisingako obulungi byetwandikozeemu. Tusonyiwe Mukama, mutuufu.

Naye era nga tulina ensobi zaffe zonna, obunafu bwaffe bwonna, okulemererwa kwaffe kwonna, tekikyusa nsonga, FFE MUGOLE. TUKKIRIZA BULI KIGAMBO!

Tetwetunuulidde ffekka oba ekintu kyonna kye tusobola okukola, tuvuya buvuya. Tumanyi bumanya nti Yatulonda n’Atuwa Okubikkulirwa kw’Ekigambo kye era tewali kiyinza kutuggyako Kubikkulirwa okwo. Kuwangiddwa mu mutima ne mu mwoyo gwaffe.

Yatugamba nti tulina okuba n’OKUKIRIZA OKUTUUKIRIDDE. Tukulina Mukama, OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE mu Kigambo Kyo. Tulina okukkiriza mu ekyo nnabbi wo kye yagamba nti kiri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama. Si kigambo kye, wabula Kigambo Kyo gye tuli.

Nabbi wo yatugamba nti kyonna kye twetaaga, bwe tunaakkiriza bukkiriza, ne tuba n’okukkiriza mu Kigambo kyo, tusobola okufuna kyonna kye twetaaga. TUKKIRIZA.

Mukama, nnina obwetaavu. Nzija mu maaso go n’okukkiriza kwonna kwe nnina mu Kigambo Kyo, kubanga Tekiyinza kulemererwa. Naye leero, Mukama, sijja mu maaso go na kukkiriza kwange kwokka, wabula wamu n’okukkiriza kwe wawa omubaka wo malayika ow’omusanvu ow’amaanyi.

Ayi Mukama Katonda, nkusaba otusaasire. Era nsaba buli musajja n’omukazi agenda okubeerawo, alina ekika kyonna eky’obulwadde oba okubonaabona; era nga Musa bwe yeesuula mu lukonko wakati, kulw’abantu, ekiro kyaleero nnyanjala omutima gwange mu maaso go, Mukama. Era n’okukkiriza kwonna kwe nnina, kwe nKulinamu, kw’ompadde, nkubawa.

Era ŋŋamba nti: kye nnina, kye mpa abawuliriza bano! Mu Linnya lya Yesu Kristo ow’e Nazaaleesi, weegaane obulwadde bwo, ‘kubanga oyo ali mu ggwe wa maanyi okusinga sitaani agezaako okutwala obulamu bwo.’ Muli baana ba Katonda. Mmwe abanunule. 

Kiwedde. Ekigambo kye tekiyinza kulemererwa. Kyonna kyetwetaaga, tusobola okukifuna.

Jjangu twegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), okufuna omukisa guno omunene n’okufukibwako amafuta okuva eri Katonda ekitundu ku Mugole bwekinaaba nga kikuŋŋaana okuva mu nsi yonna nga kiwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga Liteeka OKUKIRIZA kwe wamu n’OKUKIRIZA kwaffe.

Owol. Joseph Branham

63-1110E Oyo Ali Mu Ggwe