22-0626 Oyo Ali Mu Ggwe

Obubaka: 63-1110E Oyo Ali Mu Ggwe

BranhamTabernacle.org

Omugole Ow’okukkiriza Okusinga Omwagalwa,

Nkimanyi nti eno bbaluwa enyoomebwa erimu ggulama omukyamu, naye njagala ensi emanye nti tukkiriza buli kigambo nnabbi waffe kye yayogera era tukikkiriza okuba Bw’atyo bw’Ayogera Mukama. Bwe tumuwulira ng’ayogera ekintu ku lutambi, tuKikkiriza, tukisembeza, olwo ne tukifuna nga bassekinnoomu nga Katonda yennyini Ayogera naffe butereevu.

Kibuuliddwa, era ne kikakasibwa mu bujjuvu Ekigambo kya Katonda, nti tekiyinza kuba muntu, kirina okuba Katonda.

Tukkiriza nti obubonero bwe bumu obulabikako obwalabika nga Yesu ali wano bulabise ku nsi leero. Empagi y’Omuliro y’emu Pawulo Omutukuvu gye yalaba n’Obutonde bwe bumu, ng’ekola ekintu kye kimu, yajja mu kiseera kyaffe. Katonda y’Ayogera naffe butereevu nti:

Akabonero ke kamu ak’omwoyo ke Yeeraga nako nti Ye Masiya, kamulaze leero. Akyali Masiya!

Osobola okufuna emikisa gino eminene SINGA okkiriza nti buli Kigambo kiri Bw’atyo Bw’Ayogera Mukama, ng’onyiga zannya. Bw’oba ​​oli muntu atakkiriza ekyo, era ng’olina okusalawo mu magezi go oba ng’omuntu akugamba nti: “Kino kye Kigambo kya Mukama, ate wano Ow’oluganda Branham yekka y’Ayogera,” olwo kino si kikyo.

Mu kiseera Musa kye yakulemberamu abaana ba Isirayiri, waaliwo omu, ye Musa. Abasigadde baagoberera bugoberezi Bubaka. Okiraba?

Naye leero, ku lwaffe ABAKIKIRIZA MU NGERI EYO, emitima gyaffe gijjudde nnyo essanyu era nga gifukumuka, kumpi tetusobola kukyebeera.

Mpulira nti Atununudde. Mpulira nti amannya gaffe gali ku Kitabo kye. Nzikiriza nti tununuliddwa Omusaayi gw’Omwana gw’Endiga.

Olw’okuba tukkiriza nti Obubaka buno Ddoboozi lya Katonda nga Lyogerera butereevu gye tuli, lino tulikkiriza nga Katonda yennyini Ayogera naffe kamwa ku kutu. TEWALI kubuusabuusa amannya gaffe gali ku Kitabo kye.

Ka nkiteekewo bwe kiti, obuweereza bwa Yesu Kristo okuddamu okulabikako mu Kkanisa ye mu lunaku luno olw’oluvannyuma. Ekyo bangi ku ffe kye tukkiriza. Nzikiririza wamu nammwe.

Bwetutyo ddala bwe tukkiriza, Yesu Kristo Yaddamu okulabikako, ng’ayogera n’Omugole we ku lutambi.

Buli lwe tunyiga zannya okukkiriza kwaffe kutuuka ku ddaala eppya. Ono si mubuulizi mulala-lala yenna ng’ayogera, ono Katonda Mwene y’Ayogera naffe. Twagala Ekigambo ekirongoofu 100% kyokka.

Ka nkubuuzeeyo ekibuuzo. William Marrion Branham ye musumba wo? Ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu eyakakasibwa? Okkiriza nti ebyo bye yasaba Katonda okukola, Katonda yabikola? Okkiriza nti ye yali Eddoboozi lya Katonda olw’olunaku luno? Okkiriza buli kigambo kye yayogera? Olwo ogenda okuddamu okufuna omukisa ogutoogerekeka ku Ssande.

Tewali ngeri ndala yonna gy’osobola kufunamu mukisa guno okujjako nga owuliriza entambi era nga okkiriza by’owulira okubeera Bw’atyo bw’Ayogera Mukama. Olina okukkiriza nti ky’ali mu kwogera Ye Katonda nga Ayogera naawe butereevu.

Nze nga omusumba wo, muganda wo, n’okukkiriza kwe nnina, nsabye Katonda okukikuteekako. Nzikiriza nti nja kufuna kye nsabye. Kaakano bw’onookikkiriza nange; n’okukkiriza kwe nnina, nkibawa olw’essaawa eno.

Eri ffe, ye musumba waffe. Tewali muntu yenna mu nsi alina Okukkiriza okusingako obungi, oba okusingako obunene, ku MUSUMBA WAFFE, nnabbi wa Katonda. Kati nnabbi wa Katonda asabye Katonda atuwe OKUKKIRIZA KWE OKW’EKITALO. Bw’okikkiriza n’omutima gwo gwonna, Kati KUKKIRIZA KWO….KITIIBWA, TUKULINA!!! Okukkiriza kwaffe kwandiba nga kubadde kunafu, naye nga tekukyali, kubanga kati tulina OKUKKIRIZA kwe.

Era kati, mu Linya lya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, weegaane okubonaabona kwo, obulwadde bwo, era obugambe nti, “Olina okugenda,” ‘kubanga olina okukkiriza kwo, nga kwogasse n’okukkiriza kwange, n’amaanyi ga Yesu Kristo, Okubeerawo kwe okubuna wonna nga bwe kuli wano okukikakasa mu kulabisibwa n’okukakasa nti Ali wano, Ajja kukuwonya mu kiseera kino.

Kiki kye nsobola okwogera ekyandikuleetedde okujja okutwegattako n’ofuna omukisa guno omunene? Kirowoozeeko, kyonna kyewewtaaga, osobola okukifuna singa on’ojja owulirize era omale gakikkiriza.

Jjangu owulirize Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), n’Omugole. Tujja kuba nga tukuŋŋaana era nga tuwuliriza okuva mu Buvanjuba, Obugwanjuba, Obukiikakkono n’Obukiikaddyo, wonna mu kaseera ke kamu, nga Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama bw’ayogera naffe era n’atubuulira byonna ebikwata ku: Oyo Ali Mu Ggwe 63-1110E.

Bw’oba ​​tosobola kuwuliriza naffe mu kiseera kye kimu ku Ssande, si nsonga, nyiga bunyizi zannya akaseera konna era owulirize era okkirize by’owulira okubeera Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera naawe.

Owol. Joseph Branham