22-0619 Ememe Eziri Mu Kkomera kati

Obubaka: 63-1110M Ememe Eziri Mu Kkomera kati

BranhamTabernacle.org

Kitaffe Omwagalwa, kiki kye nsobola okuwandiika leero osobole okunkozesa, mu ngeri emu entono, okuzzaamu Omugole Wo ow’omuwendo amaanyi?

Katonda yajja mu mulembe gwaffe era n’abeera mu mubiri gw’omuntu, mu musajja ayitibwa William Marrion Branham, asobole okubikkula n’okutuukiriza Ekigambo kye. Okwo kwe kubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu lunaku lwaffe.

Okuwuliriza Eddoboozi eryo n’okukkiriza buli Kigambo ly’ekkubo lyokka Katonda ly’Ataddewo olwaleero. Yatumira ensi abasajja bangi abaafukibwako amafuta n’Omwoyo we Omutukuvu, naye yatuma era n’ayogera ng’ayita mu muntu omu yekka okubikkula Ekigambo kye n’okukulembera Omugole we.

Takyusangako Pulogulaamu Ye oba Engeri Ye gy’akolamu ebintu. Engeri gye yakikola omulundi ogwasooka, akikola buli mulundi. Akulembera abantu be yennyini, ng’Akozesa Empagi y’Omuliro.

Ggwe Mugole wa Katonda omulonde gweYeeroboza era tewali sitaani ky’ayinza kukola oba kwogera ekiyinza okukikuggyako ekyo, TEWALI! Yabamanyirawo edda nga ensi tennatondebwawo. Yakumanya eyo, era wali naye mu kiseera ekyo. Yamanya erinnya lyo. Yamanya buli kimu ekikukwatako. Yamanya obuwonvu bwo n’obukko. Yamanya okulemererwa kwo, ensobi zo, era yasigala akyakwagala, kubanga wali kitundu ku Ye.

Emmeeme yo esobola kulya ku Kigambo kye kyokka. Tewali kiyinza kukumatiza okuggyako Ekigambo kye. Oyagala nnyo okusoma Ekigambo kye n’okumufumiitirizaako, ng’osaba okuva mu buziba bw’omutima gwo, naye bw’owulira Eddoboozi lye nga lyogera butereevu naawe, likusitula okusukka olutimbe lw’ebiseera. Kubanga omanya nti otudde naye mu bifo eby’omu Ggulu nga bw’Ayogera gy’oli mumwa ku kutu, ng’abikkula Ekigambo kye, ng’akujjukiza nti, GGWE MUGOLE WANGE.

Sitaani asobola okukusekula n’akusekula n’akusekula. Oluusi osobola okuggwaamu nnyo amaanyi n’owulira ng’oli kimerwa wenna; n’owulira ng’omuyiye nga bwekitakolebwanga muntu mulala yenna. Ggwe asingayo obubi mu basinga obubi, naye awantu awamu, wansi mu buziba bw’emmeeme yo, owulira Eddoboozi eryo ettonotono ery’eggwoowo ery’essingo nga likugamba nti: “Tewali kiyinza kukwawula ku Kigambo Kyange, GGWE KIGAMBO KANGE. Nateeka erinnya lyo ku Kitabo Kyange Eky’Obulamu Eky’Omwana Gw’endiga, Nze kennyini.”

Kiki kye nnyinza okwogera okukuzzaamu amaanyi leero? Munyige bunyizi Zannya buli lunaku muwulire Eddoboozi lya Katonda nga lyogera era nga likugamba nti: Bw’ati bw’ayogera Mukama.

Oyitibwa okwegatta ku Mugole ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tukuŋŋaana okuwuliriza Eddoboozi eryo ettonotono ery’eggwoowo ery’essingo: 63-1110M Emmeeme Eziri Mu Busibe Kati.

Owol. Yusufu Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma:

Olubereberye 15:16
Omut. Matayo 23: 27-34
Omut. Yokaana 4:23-24 / 6:49 / 14:12
1 Peetero 3:18-22
2 Peetero 2:4-5
Yuda 1:5-6